Buuka ogende ku bubaka obulimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Nnazuula eby’Obugagga ebya Nnamaddala

Nnazuula eby’Obugagga ebya Nnamaddala
  • Yazaalibwa: 1968

  • Ensi: Amerika

  • Ebyafaayo: Yali munnabizineesi eyasaba Katonda abeere mugagga

OBULAMU BWANGE BWE BWALI

 Nnakuzibwa mu ddiini y’Ekikatuliki mu Rochester, eky’omu New York. Bazadde bange baayawukana nga ndi wa myaka munaana. N’olwekyo, mu nnaku eza wakati mu wiiki, nnabeeranga ne maama eyabeeranga mu bizimbe ebya beerangamu abantu abaavu, ate ku wiikendi nnabeeranga ne taata eyabeeranga mu kitundu eky’abagagga. Bwe nnalaba engeri maama gye yakaluubirirwangamu okulabirira abaana omukaaga, nnalowooza ku ky’okuba omugagga nsobole okuyamba amaka gaffe.

 Taata yali ayagala mbeere bulungi mu bulamu, n’olwekyo, yankolera enteekateeka okugenda okulambula essomero eryali lisinga obulungi mu kutendeka abakola mu wooteeri. Nnalyagala nnyo era ne nneewandiisa, nga ndowooza nti Katonda yali azzeemu essaala yange ey’okuba omugagga era omusanyufu. Nnasomerera eby’okulabirira wooteeri n’ebya bizineesi, okumala emyaka ettaano nga bwe nkola mu wooteeri emu eyali mu Las Vegas, mu Nevada.

Omulimu gwange gwali guzingiramu okulabirira abagagga abaakubanga zzaala

 Ku myaka 22, nnafuuka omuyambi w’omumyuka wa pulezidenti wa wooteeri. Nnali ntwalibwa ng’omuntu omugagga era ali obulungi, ng’ebiseera ebisinga ndya emmere esingayo obulungi era nga nnywa omwenge ogw’ebbeeyi. Mikwano gyange baŋŋambanga nti, “Teweerabiranga nti ssente kye kintu ekisinga obukulu mu nsi.” Mu kulaba kwabwe, ssente ze zaali ensibuko y’essanyu erya nnamaddala.

 Omulimu gwange gwali guzingiramu okukola ku byetaago bya bagagga n’ebyo bye baali baagala, abajjanga mu Las Vegas okukuba zzaala. Wadde nga baali bagagga, tebaali basanyufu. Nange nnatandika obutaba musanyufu. Mu butuufu, gye nnakoma okukola ssente, gye nnakoma okweraliikirira era n’obuteebaka kiro. Nnatandika okulowooza ku ky’okukomya obulamu bwange. Nga nneetamiddwa obulamu bwange, nnatuukirira Katonda mu kusaba ne mubuuza nti, “Wa we nnyinza okufuna essanyu erya nnamaddala?”

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE

 Mu kiseera ekyo, bannyinaze babiri abaali bafuuse Abajulirwa ba Yakuwa baasengukira mu Las Vegas. Wadde nga nnagaana ebitabo byabwe, nnakkiriza okusoma Bayibuli yange nga ndi wamu nabo. Mu Bayibuli yange, ebigambo bya Yesu byali biwandiikiddwa mu langi emmyufu. Olw’okuba nnali nzikiriza buli kimu Yesu kye yayogera, bannyinaze bassanga essira ku bigambo bya Yesu. Ate era, nnasomanga Bayibuli nga ndi nzekka.

 Ebintu bingi bye nnasoma byanneewuunyisa nnyo. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba nti: “Naye bwe mubanga musaba, temuddiŋŋananga mu bigambo ng’ab’amawanga bwe bakola, kubanga balowooza nti bajja kuwulirwa olw’okwogera ebigambo ebingi.” (Matayo 6:7) Kyokka, omukulu w’eddiini yali yampa ekifaananyi kya Yesu era nga yaŋŋamba nti singa nsaba ekifaananyi ekyo, nga nziramu essaala ya Kitaffe emirundi kkumi ne ya Mirembe Maaliya emirundi kkumi, Katonda ajja kumpa ssente zonna ze njagala. Naye nnakiraba nti okusaba essaala ezo, mba njogera ebigambo bye bimu ebitalina makulu gye ndi. Ate era nnasoma ebigambo bya Yesu ebigamba nti: “Temuyitanga muntu n’omu kitammwe ku nsi, kubanga Kitammwe ali omu, Oyo ali mu ggulu.” (Matayo 23:9) N’olwekyo nneebuuza nti, ‘Lwaki nze ne Bakatoliki bannange tuyita abakulembeze be ddiini yaffe ‘Bakitaffe’?’

 Bwe nnasoma ekitabo kya Bayibuli ekya Yakobo, nnatandika okulowooza ku ngeri gye nnali ntambuzaamu obulamu bwange. Mu ssuula 4, Yakobo yawandiika nti: “Temumanyi nti okubeera mukwano gw’ensi bwe bulabe eri Katonda? N’olwekyo, buli ayagala okubeera mukwano gw’ensi yeefuula mulabe wa Katonda.” (Yakobo 4:4) Okusingira ddala olunyiriri 17 lwankwatako nnyo, lugamba nti: “Omuntu bw’amanya ekituufu kye yandikoze naye n’atakikola aba akoze ekibi.” Oluvannyuma nnayita bannyinaze ne mbagamba nti, ŋŋenda kulekera awo okukola mu wooteeri, kubanga omulimu ogwo gwali gundeetera okwenyigira mu bintu ebyali bitakkirizibwa mu maaso ga Katonda, gamba ng’okukuba zzaala n’omululu.

“Bwe nnasoma ekitabo kya Bayibuli ekya Yakobo, nnatandika okulowooza ku ngeri gye nnali ntambuzaamu obulamu bwange”

 Nnali njagala okutereeza enkolagana yange ne Katonda era n’enkolagana yange ne bazadde bange ne bannyinaze. N’olwekyo, nnasalawo okweggyako ebintu ebisinga obungi nsobole okufuna obudde okukola ekyo. Naye tekyali kyangu kukola nkyukakyuka. Ng’ekyokulabirako, nnafuna okugezesebwa bwe baansuubiza okunkuza ku mulimu enkyandindeetedde okufuna omusaala ogwali gukubisaamu emirundi ebbiri oba esatu ogwo gwe nnali nfuna. Naye oluvannyuma lw’okusaba ku nsonga eyo, nnasalawo okuleka obulamu obwo. Nnaleka omulimu ogwo, ne nsengukira mu galagi ya maama era ne ntandikawo ka bizineesi akatonotono ak’okussa obuveera ku menu za wooteeri.

 Wadde nga Bayibuli yali ennyambye okumanya ebintu ebisinga obukulu mu bulamu, nnali sinnaba kutandika kugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Bannyinaze bambuuza oba nga waliwo ensonga endeetera obutayagala Bajulirwa ba Yakuwa. Nnabaddamu nti: “Kubanga katonda wammwe Yakuwa, asattulula amaka. Ebiseera bya Ssekukkulu n’eby’amazaalibwa, bye biseera byokka by’enfuna okubeerako awamu n’ab’eŋŋanda zange, kyokka mwe temukuza nnaku ezo.” Omu ku bannyinaze yatandika okukaaba era n’ambuuza nti: “Obeera wa ku nnaku endala ez’omwaka? Twagala okubeera naawe ekiseera kyonna. Naye oyagala kubeera naffe ku nnaku enkulu zokka—olw’okuba oba owulira nti oteekeddwa kujja mu kiseera ekyo.” Ebigambo bye byankwatako nnyo, era ne ntandika okukaabira awamu naye.

 Bwe nnategeera engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye baagalamu ab’omu maka gaabwe—nnakiraba nti nnali mukyamu—bw’entyo ne nsalawo okugenda mu lumu ku nkuŋŋaana zaabwe ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Eyo gye nnasanga Kevin, eyalina obumanyirivu mu kuyigiriza n’atandika okuyiga nange Bayibuli.

 Kevin ne mukyala we tebaalina bintu bingi, olw’okuba baali baagala okufuna obudde obuwerako okuyamba abalala okutegeera ebyo ebiri mu Bayibuli. Omulimu gwabwe gwabasobozesa okufuna ssente ze baali beetaaga okugenda mu Afirika ne mu Amerika ow’omu Masekkati, ne basobola okuyambako mu kuzimba ofiisi z’amatabi ez’Abajulirwa ba Yakuwa. Baali basanyufu nnyo, era baali baagalana. Nneegamba nti, ‘Obwo bwe bulamu bwe njagala okubaamu.’

 Kevin yandaga vidiyo ekwata ku ssanyu eriva mu kuweereza ng’omuminsani, era ne nsalawo nti ŋŋenda kuweereza ng’omuminsani. Mu 1995, oluvannyuma lw’okumala emyezi mukaaga nga njiga Bayibuli, nnabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Mu kifo ky’okusaba Katonda ampe obugagga, nnatandika kumusaba nti: “Tompa bwavu wadde obugagga.”—Engero 30:8.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU

 Kati ndi muggagga—si lwa kuba nti nnina ssente, naye olw’okuba nti nnina enkolagana ennungi ne Katonda era n’essanyu. Mukyala wange okwagalwa, Nuria, nnamusisinkana mu Honduras, era twaweerereza wamu ng’abaminsani mu Panama ne mu Mexico. Ebigambo bya Bayibuli bino bituufu: “Omukisa gwa Yakuwa gwe gugaggawaza, era tagugattako bulumi”!—Engero 10:22.