Ddala Katonda Alina Erinnya?
Bayibuli ky’egamba
Abantu bonna balina amannya. Olowooza Katonda naye alina erinnya? Abantu bwe baba ab’emikwano, buli omu atera okukozesa erinnya lya munne. N’olwekyo, bwe tuba twagala okuba mikwano gya Katonda, olowooza tatusuubira kumanya linnya lye era tulikozese?
Mu Bayibuli, Katonda agamba nti: “Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange.” (Isaaya 42:8) Wadde nga Katonda alina ebitiibwa bingi, gamba nga “Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna,” “Mukama Afuga Byonna,” ne “Omutonzi,” awadde abaweereza be enkizo ey’ekitalo ng’abakubiriza okukozesa erinnya lye nga boogera naye.—Olubereberye 17:1; Ebikolwa 4:24; 1 Peetero 4:19.
Enzivuunula za Bayibuli nnyingi zirimu erinnya lya Katonda mu Okuva 6:3. Olunyiriri olwo lugamba nti: “Nnalabikiranga Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo nga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, naye saabamanyisa makulu ga linnya lyange Yakuwa.”
Abeekenneenya ba Bayibuli bangi bagamba nti engeri esingayo obulungi ey’okuwandiikamu erinnya lya Katonda ye “Yahweh,” naye tewali n’omu ku bo ayinza kuwa bukakafu bulaga nti erinnya lya Katonda lyali lyatulwa bwe lityo. Ekitundu kya Bayibuli abamu kye bayita Endagaano Enkadde, mu kusooka kyawandiikibwa mu Lwebbulaniya, olulimi olusomebwa okuva ku ddyo okudda ku kkono. Mu lulimi olwo Olwebbulaniya, erinnya lya Katonda liwandiikibwa nga bakozesa ennukuta nnya ensirifu, יהוה. Ennukuta ezo ennya ez’Olwebbulaniya zisobola okuwandiikibwa nga YHWH.