Nsaanidde Okusaba Abatuukirivu??
Bayibuli ky’egamba
Nedda. Bayibuli egamba nti tulina kusaba Katonda yekka, mu linnya lya Yesu. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Musabenga bwe muti: ‘Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.’” (Matayo 6:9) Yesu tagambangako bayigirizwa be kusaba batuukirivu, bamalayika, oba omuntu omulala yenna okuggyako Katonda.
Yesu era yagamba abagoberezi be nti: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.” (Yokaana 14:6) Yesu ye yekka Katonda gwe yateekawo okuba omutabaganya wakati waffe ne Katonda.—Abebbulaniya 7:25.
Watya singa nsaba Katonda ate era nga nsaba n’abatuukirivu?
Mu limu ku Mateeka ekkumi, Katonda yagamba nti: “Nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya.” (Okuva 20:5, Bayibuli y’Oluganda eya 1968) Mu ngeri ki Katonda gy’ali ‘ow’obuggya’? Katonda wa buggya mu ngeri nti ayagala abantu okumwemalirako. Katonda ayagala ebikolwa byonna ebizingirwa mu kusinza, gamba ng’okusaba, bikolerwe ye yekka.—Isaaya 48:11.
Singa tusaba omuntu oba ekintu ekirala kyonna, nga mw’otwalidde abatuukirivu ne bamalayika, kinyiiza Katonda. Omutume Yokaana bwe yagezaako okusinza malayika, malayika yamugaana n’amugamba nti: “Ekyo tokikola! Nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo abalina omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Yesu. Sinza Katonda.”—Okubikkulirwa 19:10.