Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
Bayibuli ky’egamba
Obwakabaka bwa Katonda gavumenti eya ddala eyateekebwawo Yakuwa Katonda. “Obwakabaka bwa Katonda” Bayibuli era ebuyita “Obwakabaka obw’omu ggulu” kubanga bufugira mu ggulu. (Makko 1:14, 15; Matayo 4:17) Waliwo ebintu Obwakabaka bwa Katonda bye bufaanaganya ne gavumenti z’abantu, naye bwo busukkulumye ku gavumenti z’abantu mu buli ngeri.
Abafuzi. Katonda yalonda Yesu Kristo okuba Kabaka w’Obwakabaka obwo era yamuwa obuyinza bungi nnyo, omuntu yenna bw’atalina. (Matayo 28:18) Obuyinza Yesu bw’alina abukozesa bulungi, kubanga yakyoleka dda nti Mufuzi eyeesigika era musaasizi. (Matayo 4:23; Makko 1:40, 41; 6:31-34; Lukka 7:11-17) Ng’akolera ku bulagirizi Katonda bw’amuwa, Yesu alonze abantu okuva mu mawanga gonna abajja ‘okufugira awamu naye ensi nga bakabaka’ nga bali naye mu ggulu.—Okubikkulirwa 5:9, 10.
Ekiseera. Obutafaananako gavumenti z’abantu ezimalawo ekiseera kitono ne zivaawo, Obwakabaka bwa Katonda ‘tebulizikirizibwa.’—Danyeri 2:44.
Abafugibwa. Omuntu yenna akola Katonda by’ayagala asobola okuba omu ku abo abanaafugibwa Obwakabaka bwa Katonda, k’abe nga yazaalibwa wa oba ng’ava mu lunyiriri ki.—Ebikolwa 10:34, 35.
Amateeka. Amateeka (oba ebiragiro) g’Obwakabaka bwa Katonda tegagaana bugaanyi bantu kukola bintu bibi. Naye era gayamba abo abafugibwa Obwakabaka okuba n’empisa ennungi. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti: “‘Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ Lino lye tteeka erisinga obukulu mu gonna era lye lisooka. Ery’okubiri eririfaanana lye lino: ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.’” (Matayo 22:37-39) Okwagala Katonda ne bantu bannaabwe kikubiriza abo abafugibwa Obwakabaka obwo okufaayo ku balala.
Eby’enjigiriza. Ng’oggyeeko okuba nti Obwakabaka bwa Katonda buteerawo abo be bufuga emitindo egya waggulu, bubayigiriza engeri gye bayinza okukolera ku mitindo egyo.—Isaaya 48:17, 18.
Ekigendererwa. Obwakabaka bwa Katonda tebunyigiriza abo be bufuga okusobola okugaggawaza abo abali mu bifo ebya waggulu mu Bwakabaka obwo. Mu kifo ky’ekyo, bujja kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda, nga mw’otwalidde n’okuleeta ensi empya abaagala Katonda mwe bajja okubeera emirembe gyonna.—Isaaya 35:1, 5, 6; Matayo 6:10; Okubikkulirwa 21:1-4.