Lwaki Tusaanidde Okusaba mu Linnya lya Yesu?
Bayibuli ky’egamba
Tulina okusaba Katonda mu linnya lya Yesu kubanga Yesu lye kkubo lyokka Katonda lye yateekawo mwe tusobola okuyita okumutuukirira. Yesu yagamba nti: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.” (Yokaana 14:6) Yesu era yagamba abatume be abeesigwa nti: “Mazima ddala mbagamba nti bwe musaba Kitange ekintu kyonna, ajja kukibawa mu linnya lyange.”—Yokaana 16:23.
Ensonga endala lwaki tusaanidde okusaba mu linnya lya Yesu
Kiraga nti tussa ekitiibwa mu Yesu ne Kitaawe, Yakuwa Katonda.—Abafiripi 2:9-11.
Kiraga nti tusiima ekyo Katonda kye yakola bwe yawaayo Omwana we okutufiirira tusobole okulokolebwa.—Matayo 20:28; Ebikolwa 4:12.
Kiraga nti tussa ekitiibwa mu kifo Yesu ky’alina ng’Omutabaganya w’abantu ne Katonda.—Abebbulaniya 7:25.
Kiraga nti tussa ekitiibwa mu kifo Yesu ky’alina nga Kabona Asinga Obukulu atusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.—Abebbulaniya 4:14-16.