Ntuuse Eka
Wanula:
1. Ebizibu by’ens’ eno
Nga binnemye okwetikka.
Oluusi nneebuuza:
‘Ebiruungi bye nninda birijja?’
Naye nkimanyi nti Yakuwa
Anjagala; tayinza kundeka.
(CHORUS)
Ampanirira; Ye musumba wange.
Ansitulira mu kifuba kye.
Era ndaze kkubo eridda mu bantu be.
Siri ku lwange. Ntuuse ’ka.
2. Ng’embuyag’e kunta
Wano we nj’o kwekweka.
Ndi wamu n’abantu be
Abanjagala era abannyamba.
Kale, bw’ob’o ’vudde mu kkubo,
Ayagal’o ’dde ery’a bantu be.
(CHORUS)
Anaakulaga kwagala kw’o ’kungi,
Akujjukize nti ’bulijjo aba naawe.
Manya nti talikuleka, kale tolyejjusa
Kukomawo gy’ali bambi nno.
(BRIDGE)
Tukulindiridde
Twesunga nnyo, okukulaba,
Ng’otuuse eka!
Onooba musanyufu nnyo,
Ng’ozze ‘ka!
Ng’ozze ‘ka!.
(CHORUS)
Yakunoonya, okukuzza gy’ali.
Yakuwanirira n’omukono gwe.
Manya nti talikuleka.
Musab’a ’kuwulira.
Awulira.