Mu Nsi Empya Ejja
Wanula:
1. Kuba ’kafaananyi weerabe
Nga buly’e kikwetolodde kirungi
Era kisanyusa
Nga tewakyali kintu kitiisa.
Abantu abaagala Yakuwa
Nga balabirira bulungi ensi.
Era ng’emirembe mingi
Nga Katonda bwe yatusuubiza.
Tulyeyagala
Nga Omwana we afuga
Mu nsi empya ejja.
(CHORUS)
Essuubi lye tulina.
Liri ng’ennanga y’obulamu.
Liri ng’enjuba emulisa
Ne tweraba eyo
Mu nsi empya ejja.
2. Kuba akafaananyi nga obeera
Mu kifo eky’ensozi er’e kigazi.
Kifo kirungi nnyo.
Owulira nate essanyu,
Bw’olaba omuntu wo
Eyali afudd’a zuukidde
Kiseera kya ssanyu.
Muzzeemu okusanyukira awamu.
Katonda ajja
Kuggyaw’o ’kufa
Mu nsi empya ejja.
(CHORUS)
Essuubi lye tulina
Liri ng’ennanga y’obulamu.
Liri ng’enjuba emulisa
Ne tweraba eyo
Mu nsi empya ejja.
(BRIDGE)
Buli kye yasuubiza
Mazima kijja ’ttuukirira.
Ebiramu byonna ku nsi
Yakuwa ajja bbiwa bye byagala.
(CHORUS)
Essuubi lye tulina.
Liri ng’ennanga y’obulamu.
Liri ng’enjuba emulisa
Ne tweraba eyo
Mu nsi empya ejja,
Mu nsi empya ejja,
Mu nsi empya ejja,
Mu nsi empya ejja.