OLUYIMBA 100
Basembeze
-
1. Yakuwa afaayo ku bantu bonna.
Teri muntu yenna ye gw’asosola.
Teri n’omu gw’amma
musana na nkuba;
Atuwa emmere n’essanyu.
Buli lwe tulaga bannaffe ’kisa,
Katonda waffe gwe tuba tukoppa.
Kitaffe Yakuwa
ajja kusasula
’Birungi ebyo bye tukola.
-
2. Kirungi nnyo ddala okuyambanga
’Bali mu bwetaavu ffe be tusanga.
Ne bwe kibeera nti
ffe tetubamanyi,
Tekitugaana kubayamba.
Tubasembeze nga Lidiya ’w’edda
Eyayita ’waka ab’oluganda.
Kitaffe alaba
bonna abakoppa
Ebikolwa bye eby’ekisa.
(Laba ne Bik. 16:14, 15; Bar. 12:13; 1 Tim. 3:2; Beb. 13:2; 1 Peet. 4:9.)