Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 79

Mubayigirize Basobole Okuba Abanywevu

Mubayigirize Basobole Okuba Abanywevu

(Matayo 28:19, 20)

  1. 1. Kya ssanyu okuyigiriza

    Endiga za Yakuwa.

    Laba bwe bakulaakulanye

    Ne banyweza ’mazima.

    (CHORUS)

    Yakuwa, tukusaba ffe

    Endiga zo ozikuume,

    Era tukwegayirira Obayambe

    Beeyongere okunywera.

  2. 2. Bwe twali tubayigiriza

    Twabasabiranga nnyo.

    Kirungi okubalaba nga

    Bakuze mu by’omwoyo.

    (CHORUS)

    Yakuwa, tukusaba ffe

    Endiga zo ozikuume,

    Era tukwegayirira Obayambe

    Beeyongere okunywera.

  3. 3. Ka babe bagumiikiriza

    Mu mbiro z’obulamu,

    Era beeyongerere ddala

    Okuba abanywevu.

    (CHORUS)

    Yakuwa, tukusaba ffe

    Endiga zo ozikuume,

    Era tukwegayirira Obayambe

    Beeyongere okunywera.