1 Bassekabaka 3:1-28
3 Awo Sulemaani n’afuuka mukodomi wa Falaawo kabaka wa Misiri. Sulemaani yawasa* muwala wa Falaawo+ n’amutwala mu Kibuga kya Dawudi+ n’abeera omwo okutuusa Sulemaani lwe yamaliriza okuzimba ennyumba ye,+ n’ennyumba ya Yakuwa,+ ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi.+
2 Naye abantu baali bakyaweerayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu,+ kubanga n’okutuusa mu kiseera ekyo ennyumba ey’erinnya lya Yakuwa yali tennazimbibwa.+
3 Sulemaani yeeyongera okwagala Yakuwa ng’atambulira mu mateeka ga kitaawe Dawudi, okuggyako nti yaweerangayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu era n’anyookererezangayo omukka gw’ebiweebwayo.+
4 Awo kabaka n’agenda e Gibiyoni okuwaayo ssaddaaka, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekigulumivu ekisinga obukulu.+ Sulemaani yawaayo ssaddaaka ezookebwa 1000 ku kyoto ekyali mu kifo ekyo.+
5 Sulemaani bwe yali e Gibiyoni, Yakuwa yamulabikira ekiro mu kirooto, n’amugamba nti: “Saba ky’oyagala nkuwe.”+
6 Sulemaani n’agamba nti: “Walaga kitange Dawudi omuweereza wo okwagala okutajjulukuka kungi, olw’okuba yatambuliranga mu maaso go mu bwesigwa ne mu butuukirivu era n’omutima omugolokofu; era oyongedde okumulaga okwagala kuno okungi ennyo okutajjulukuka n’okutuusa leero n’omuwa omwana atuule ku ntebe ye ey’obwakabaka.+
7 Era kaakano Yakuwa Katonda wange, omuweereza wo omufudde kabaka mu kifo kya kitange Dawudi wadde nga nkyali muvubuka,* era nga sirina bumanyirivu.*+
8 Omuweereza wo ali wakati mu bantu bo be walonda,+ abantu abangi ennyo abatabalika.
9 Omuweereza wo muwe omutima omuwulize asobole okulamula abantu bo+ era n’okwawulanga ekirungi n’ekibi,+ kubanga ani ayinza okulamula abantu bo bano abangi ennyo?”*
10 Yakuwa yasanyuka nnyo olw’ekyo Sulemaani kye yasaba.+
11 Awo Katonda n’amugamba nti: “Olw’okuba osabye ekyo, n’oteesabira buwangaazi,* oba bugagga, wadde obulamu bw’abalabe bo, naye n’osaba amagezi okusobola okusala* emisango,+
12 nja kukola ekyo ky’osabye.+ Nja kukuwa omutima ogw’amagezi era omutegeevu,+ kibe nti nga bwe watabangawo muntu alinga ggwe, era tewaliddamu kubaawo muntu alinga ggwe.+
13 Ate era nja kukuwa n’ebyo by’otosabye.+ Nja kukuwa obugagga n’ekitiibwa,+ waleme kubaawo kabaka mulala yenna alinga ggwe mu kiseera ky’obulamu bwo bwonna.*+
14 Ate era bw’onootambuliranga mu makubo gange n’okwata amateeka gange n’ebiragiro byange nga kitaawo Dawudi bwe yakolanga,+ era nja kukuwangaaza.”*+
15 Sulemaani bwe yazuukuka, n’ategeera nti kyali kirooto. Awo n’agenda e Yerusaalemi n’ayimirira mu maaso g’essanduuko y’endagaano ya Yakuwa n’awaayo ssaddaaka ezookebwa n’ebiweebwayo eby’emirembe,+ era n’akolera abaweereza be bonna embaga.
16 Awo abakazi babiri bamalaaya ne bajja eri kabaka ne bayimirira mu maaso ge.
17 Omukazi asooka n’agamba nti: “Mukama wange, nze n’omukazi ono tubeera mu nnyumba emu. Nnazaala omwana nga ndi naye mu nnyumba.
18 Oluvannyuma lw’ennaku ssatu nga mmaze okuzaala, omukazi ono naye yazaala. Mu nnyumba twalimu babiri ffekka, temwalimu muntu mulala.
19 Awo omwana w’omukazi ono n’afa ekiro, olw’okuba yamwebakira.
20 Omukazi ono yazuukuka mu ttumbi, n’aggya omwana wange we nnali, nga nze omuzaana wo nneebase, n’amuteeka mu mikono gye,* n’addira omwana we eyali afudde n’amuteeka mu kifuba kyange.
21 Bwe nnazuukuka ku makya okuyonsa omwana wange, ne ndaba ng’afudde. Ne mmwetegereza bulungi naye ne ndaba nga si ye mwana wange gwe nnazaala.”
22 Naye omukazi oli omulala n’agamba nti: “Nedda, omwana omulamu ye wange, omufu ye wuwo!” Omukazi asooka n’agamba nti: “Nedda, omufu ye wuwo, omulamu ye wange.” Bwe batyo bwe baali bakaayanira mu maaso ga kabaka.
23 Awo kabaka n’agamba nti: “Ono agamba nti, ‘Omwana omulamu ye wange, omufu ye wuwo!’ ate oli agamba nti, ‘Nedda, omwana omufu ye wuwo, omulamu ye wange!’”
24 Awo kabaka n’agamba nti: “Mundeetere ekitala.” Ne baleetera kabaka ekitala.
25 Kabaka n’agamba nti: “Omwana omulamu mumusalemu ebitundu bibiri, ekitundu ekimu mukiwe omukazi omu ate ekirala mukiwe omulala.”
26 Awo nnyina w’omwana omulamu ne yeegayirira kabaka, olw’okuba omutima gwali gumulumira omwana we, n’agamba kabaka nti: “Mukama wange, omwana temumutta, mumumuwe!” Naye omukazi oli omulala n’agamba nti: “Tagenda kuba wange oba wuwo! Ka bamusalemu ebitundu bibiri!”
27 Awo kabaka n’agamba nti: “Omwana temumutta, mumuwe omukazi asooka, kubanga ye nnyina w’omwana.”
28 Abayisirayiri bonna bwe baawulira engeri kabaka gye yali asazeemu omusango ogwo, ne beewuunya ekyo kabaka kye yali akoze,*+ kubanga baakiraba nti Katonda yali amuwadde amagezi okusala emisango mu bwenkanya.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “yatwala.”
^ Oba, “mwana muto.”
^ Obut., “simanyi kufuluma wadde okuyingira.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “abazibu.” Obut., “abazito.”
^ Obut., “nnaku nnyingi.”
^ Obut., “okuwulira.”
^ Obut., “mu nnaku zo zonna.”
^ Obut., “kwongera ku nnaku zo.”
^ Obut., “mu kifuba kye.”
^ Obut., “ne batya kabaka.”