Eby’Abaleevi 17:1-16
17 Yakuwa era n’agamba Musa nti:
2 “Yogera ne Alooni ne batabani be n’Abayisirayiri bonna obagambe nti, ‘Kino Yakuwa ky’alagidde:
3 “‘“Omuntu yenna ow’omu nnyumba ya Isirayiri bw’anattiranga ente ennume oba endiga ento ennume oba embuzi mu lusiisira oba ebweru w’olusiisira,
4 mu kifo ky’okugireeta ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu okugiwaayo eri Yakuwa ng’ekiweebwayo mu maaso ga weema ya Yakuwa entukuvu, anaabangako omusango gw’okuyiwa omusaayi. Omuntu oyo anaabanga ayiye omusaayi, era anattibwanga.
5 Kinaabanga kityo Abayisirayiri baleme kuddamu kusalira bisolo byabwe ku ttale, wabula babireetenga eri Yakuwa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu eri kabona. Banaabiwangayo nga ssaddaaka ez’emirembe eri Yakuwa.+
6 Kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Yakuwa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu era n’ayokya amasavu okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa.+
7 Kale tebaddamu okuwaayo ssaddaaka zaabwe eri dayimooni*+ ze benda nazo.+ Lino tteeka lya lubeerera gye muli, mu mirembe gyammwe gyonna.”’
8 “Mubagambe nti ‘Omuntu yenna ow’omu nnyumba ya Isirayiri oba omugwira abeera mu mmwe anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka,
9 n’atagireeta ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu okugiwaayo eri Yakuwa, anattibwanga.+
10 “‘Omuntu yenna ow’omu nnyumba ya Isirayiri oba omugwira yenna abeera mu mmwe bw’anaalyanga ku musaayi ogw’engeri yonna,+ nja kumwesamba era nja kumutta.
11 Kubanga obulamu buli mu musaayi,+ era ngubawadde okutangirira obulamu bwammwe ku kyoto,+ kubanga omusaayi gwe gutangirira ebibi+ olw’obulamu obugulimu.
12 Eyo ye nsonga lwaki ŋŋambye Abayisirayiri nti: “Tewabanga n’omu ku mmwe alya ku musaayi era n’omugwira abeera mu mmwe+ talyanga omusaayi.”+
13 “‘Omuyisirayiri yenna oba omugwira abeera mu mmwe anaayigganga n’akwata ensolo oba ekinyonyi ekiriibwa, anaayiwanga omusaayi gwakyo+ n’agubikkako ettaka.
14 Obulamu obwa buli kiramu gwe musaayi, kubanga obulamu buli mu musaayi. Kyennava ŋŋamba Abayisirayiri nti: “Temulyanga musaayi gwa kiramu kyonna, kubanga obulamu bwa buli kiramu buli mu musaayi gwakyo. Buli anaagulyanga anattibwanga.”+
15 Omuntu yenna, k’abe Omuyisirayiri oba omugwira, anaalyanga ennyama y’ensolo esangiddwa ng’efudde oba etaaguddwataaguddwa ensolo ey’omu nsiko,+ anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba amazzi, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi;+ oluvannyuma anaabanga mulongoofu.
16 Naye bw’ataayozenga byambalo bye era n’atanaaba, anaabonerezebwanga.’”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
^ Oba, “dayimooni ezifaanana ng’embuzi.”