Abeefeso 5:1-33
5 N’olwekyo, mukoppe Katonda+ ng’abaana abaagalwa,
2 era mutambulirenga mu kwagala+ nga Kristo bwe yatwagala*+ ne yeewaayo ku lwaffe* okuba ekiweebwayo era okuba ssaddaaka, evvumbe eddungi eri Katonda.+
3 Ebikolwa eby’obugwenyufu* n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri n’omululu tebirina na kwogerwako mu mmwe,+ nga bwe kigwanira abantu abatukuvu;+
4 newakubadde ebikolwa ebikwasa ensonyi, oba okwogera eby’ekisirusiru, oba okusaaga okw’obuwemu,+—ebintu ebitasaana—wabula okwebazanga Katonda.+
5 Kubanga kino mukimanyi era mukitegeera nti tewali muntu akola eby’obugwenyufu*+ oba atali mulongoofu oba ow’omululu,+ ekitegeeza oyo asinza ebifaananyi, alisikira Obwakabaka bwa Kristo era obwa Katonda.+
6 Temukkiriza muntu yenna kubalimba ng’akozesa ebigambo ebitaliimu, kubanga olw’ebintu ng’ebyo obusungu bwa Katonda bujja kwolekezebwa abantu abajeemu.
7 N’olwekyo temussa kimu nabo;
8 kubanga mwaliko mu kizikiza, naye kati muli mu kitangaala+ olw’okuba muli ba Mukama waffe.+ Mweyongere okutambula ng’abaana b’ekitangaala,
9 kubanga ebibala by’ekitangaala bibaamu obulungi n’obutuukirivu n’amazima ebya buli kika.+
10 Mufubenga okumanya ebyo ebikkirizibwa+ Mukama waffe;
11 era mulekere awo okwenyigira mu bikolwa ebitagasa eby’ekizikiza;+ wabula mubivumirire.
12 Kubanga ebintu bye bakola mu kyama bikwasa ensonyi okwogerako.
13 Kaakano ebintu byonna ebyanikibwa mu lwatu, ekitangaala kye kibyoleka, kubanga buli kintu ekiba kyoleseddwa kiba kitangaala.
14 Kyekiva kigambibwa nti: “Zuukuka, Ggwe eyeebase, yimuka ove mu bafu,+ era Kristo ajja kukwakira.”+
15 Kale mwegendereze nnyo engeri gye mutambulamu; temutambula ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi,
16 nga mukozesa bulungi ebiseera byammwe,*+ kubanga ennaku zino mbi.
17 N’olw’ensonga eyo, mulekere awo okubeera abasirusiru, naye mutegeerenga Yakuwa* ky’ayagala.+
18 Era temutamiiranga mwenge+ kubanga muvaamu ebikolwa ebibi ennyo, naye mujjuzibwenga omwoyo.
19 Buli omu ayogerenga ne munne ng’akozesa zabbuli, ennyimba ezitendereza Katonda, n’ennyimba ez’eby’omwoyo, nga mukooloobya+ era nga muyimbira Yakuwa*+ mu mitima gyammwe,+
20 nga bulijjo mwebaza+ Katonda era Kitaffe olw’ebintu byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.+
21 Buli omu agonderenga munne+ olw’okutya Kristo.
22 Abakyala bagonderenga abaami baabwe+ nga bwe bagondera Mukama waffe,
23 kubanga omwami gwe mutwe gwa mukyala we+ era nga Kristo bw’ali omutwe gw’ekibiina,+ era nga ye mulokozi w’omubiri guno.
24 Mu butuufu, ng’ekibiina bwe kigondera Kristo n’abakyala bwe batyo bagonderenga abaami baabwe mu buli kintu.
25 Abaami mweyongere okwagala bakyala bammwe+ nga Kristo bwe yayagala ekibiina ne yeewaayo ku lwakyo,+
26 asobole okukitukuza ng’akinaaza n’amazzi okuyitira mu kigambo,+
27 alyoke akireete gy’ali mu kitiibwa kyakyo, nga tekiriiko bbala oba olufunyiro oba ekintu kyonna ekiringa ebyo,+ naye nga kitukuvu era nga tekiriiko kamogo.+
28 N’abaami bwe batyo kibagwanidde okwagalanga bakyala baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe. Omusajja ayagala mukyala we aba yeeyagala kennyini,
29 kubanga tewali muntu yali akyaye mubiri gwe, naye aguliisa era agulabirira, nga Kristo bw’akola eri ekibiina,
30 kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.+
31 “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera ku* mukazi we, era ababiri abo banaabanga omubiri gumu.”+
32 Ekyama kino ekitukuvu kikulu nnyo.+ Kaakano njogera ku Kristo n’ekibiina.+
33 Wadde kiri kityo, buli omu ku mmwe agwanidde okwagalanga mukyala we+ nga bwe yeeyagala kennyini; n’omukyala asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “yabaagala.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “ku lwammwe.”
^ Obut., “nga mwegulira ebiseera.”
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Oba, “n’asigala ne.”