Ebikolwa 11:1-30
11 Awo abatume n’ab’oluganda abaali mu Buyudaaya ne bawulira nti ab’amawanga nabo bakkirizza ekigambo kya Katonda.
2 Peetero bwe yajja e Yerusaalemi, abawagira okukomolebwa+ ne batandika okumuvumirira,*
3 nga bagamba nti: “Wagenda mu nnyumba y’abatali bakomole era n’olya nabo.”
4 Awo Peetero n’atandika okubannyonnyola byonna ebyali bibaddewo ng’agamba nti:
5 “Nnali mu kibuga Yopa nga nsaba ne nfuna okwolesebwa, ne ndaba ekintu ekiringa ekitambaala ekinene nga kikwatiddwa ku nsonda zaakyo ennya nga kissibwa wansi okuva mu ggulu, ne kijja we ndi.+
6 Bwe nnakitunulamu, ne ndaba ensolo ez’amagulu ana ez’oku nsi, ensolo ez’omu nsiko, ebyewalula, n’ebinyonyi eby’omu bbanga.
7 Ate era nnawulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Peetero, situka osale olye!’
8 Naye ne ŋŋamba nti, ‘Nedda, Mukama wange, kubanga siryangako kintu ekitali kirongoofu era ekitali kiyonjo.’
9 Eddoboozi okuva mu ggulu ne liŋŋamba omulundi ogw’okubiri nti: ‘Ebintu Katonda by’alongoosezza lekera awo okubiyita ebitali birongoofu.’
10 Ekyo ne kibaawo omulundi ogw’okusatu, era ebintu byonna ne bizzibwayo mu ggulu.
11 Ate era mu kiseera ekyo kyennyini, abasajja basatu baali bayimiridde ebweru w’ennyumba mwe twali tubeera, nga batumiddwa okuva e Kayisaliya okujja gye ndi.+
12 Awo omwoyo ne guŋŋamba ŋŋende nabo nga sibuusabuusa, era ab’oluganda bano omukaaga nabo baagenda nange, ne tuyingira mu nnyumba y’omusajja.
13 “Omusajja oyo yatubuulira nga bwe yali alabye malayika mu nnyumba ye n’amugamba nti, ‘Tuma abantu e Yopa bakuyitire Simooni ayitibwa Peetero,+
14 era ajja kukubuulira engeri gwe n’ab’omu nnyumba yo bonna gye muyinza okulokolebwa.’
15 Naye bwe nnatandika okwogera, omwoyo omutukuvu ne gubakkako nga naffe bwe gwatukkako ku lubereberye.+
16 Ekyo bwe kyabaawo, ne nzijukira ekyo Mukama waffe kye yagambanga nti: ‘Yokaana yabatiza na mazzi,+ naye mmwe mujja kubatizibwa na mwoyo mutukuvu.’+
17 N’olwekyo, bwe kiba nti Katonda yabawa ekirabo kye kimu nga naffe abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo kye yatuwa, nze ani eyandiziyizza Katonda?”*+
18 Bwe baawulira ebyo ne balekera awo okuwakana ne Peetero* era ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: “N’ab’amawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya basobole okufuna obulamu.”+
19 Abo abaasaasaana+ olw’okuyigganyizibwa okwajjawo oluvannyuma lw’okufa kwa Siteefano ne bagenda mu Foyiniikiya, mu Kupulo, ne mu Antiyokiya, naye nga babuulira Bayudaaya bokka ekigambo.+
20 Naye mu bo mwalimu abaava e Kupulo n’e Kuleene abajja mu Antiyokiya ne batandika okwogera n’abantu abaali boogera Oluyonaani, nga bababuulira amawulire amalungi aga Mukama waffe Yesu.
21 Yakuwa* yali nabo, era bangi abakkiriza ne badda eri Mukama waffe.+
22 Ab’omu kibiina ky’e Yerusaalemi bwe baawulira ebyo, ne batuma Balunabba+ mu Antiyokiya.
23 Bwe yatuuka n’alaba ekisa kya Katonda eky’ensusso, n’asanyuka nnyo era n’abakubiriza okunywerera ku Mukama waffe nga bamalirivu mu mitima gyabwe,+
24 kubanga yali musajja mulungi era ng’ajjudde omwoyo omutukuvu n’okukkiriza. Abantu bangi ne bakkiriza Mukama waffe.+
25 Awo n’agenda e Taluso okunoonya Sawulo.+
26 Bwe yamuzuula n’amuleeta mu Antiyokiya. Okumala omwaka mulamba baakuŋŋaananga wamu n’ekibiina era ne bayigirizanga abantu bangi, era mu Antiyokiya abayigirizwa gye baasookera okuyitibwa Abakristaayo, erinnya eryava eri Katonda.+
27 Mu nnaku ezo bannabbi+ baava e Yerusaalemi ne bajja mu Antiyokiya.
28 Omu ku bo eyali ayitibwa Agabo+ yalagula okuyitira mu mwoyo nti waali wanaatera okubaawo enjala ey’amaanyi mu nsi yonna,+ era enjala eyo n’ebaawo mu kiseera kya Kulawudiyo.
29 Abayigirizwa kyebaava basalawo nti buli omu ku bo okusinziira ku busobozi bwe,+ aweeyo obuyambi+ buweerezebwe eri ab’oluganda ab’omu Buyudaaya;
30 ne bakola bwe batyo, ne babuweereza abakadde nga babuyisa mu Balunabba ne Sawulo.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “okuwakana naye.”
^ Oba, “eyandyekiise mu kkubo lya Katonda?”
^ Obut., “ne basirika.”
^ Laba Ebyong. A5.