Ekyamateeka 18:1-22
18 “Bakabona Abaleevi n’ekika kyonna ekya Leevi, tebaabenga na mugabo oba obusika mu Isirayiri. Banaalyanga ebiweebwayo eri Yakuwa ebyokebwa n’omuliro, banaalyanga omugabo gwe.+
2 Tebalifuna busika mu baganda baabwe. Yakuwa bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba.
3 “Guno gwe gunaabanga omugabo gwa bakabona okuva mu bantu: Buli anaawangayo ssaddaaka, k’ebe ya nte oba ya ndiga, anaawanga kabona omukono, emba zombi, n’ebyenda.
4 Onoomuwanga+ ebibereberye eby’emmere yo ey’empeke, n’eby’omwenge gwo omusu, n’eby’amafuta go, n’ebyoya ebinaasookanga okusalibwa ku ndiga zo.
5 Yakuwa Katonda wo amulonze ye ne batabani be mu bika byo byonna okuweereza bulijjo mu linnya lya Yakuwa.+
6 “Omuleevi bw’anaavanga mu kimu ku bibuga byo mu Isirayiri mw’abadde abeera,+ n’ayagala okugenda mu kifo Yakuwa ky’aneeroboza,*+
7 naye anaaweererezanga eyo mu linnya lya Yakuwa Katonda we nga baganda be bonna Abaleevi abali eyo mu maaso ga Yakuwa bwe bakola.+
8 Anaafunanga omugabo gw’emmere gwe gumu ng’ogwa banne,+ okugatta ku ssente z’anaabanga afunye mu kutunda ebintu bye yafuna ku bajjajjaabe.
9 “Bw’onootuuka mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, toyiganga okukola eby’omuzizo amawanga ago bye gakola.+
10 Tewalabikanga mu ggwe omuntu yenna ayokya* mutabani we oba muwala we mu muliro,+ oba akola eby’obulaguzi,+ oba akola eby’obufumu,+ oba anoonya obubonero okulagulwa,+ oba omusamize,+
11 oba omulogo, oba eyeebuuza ku mulubaale,+ oba alagula ebiribaawo mu maaso,+ oba eyeebuuza ku bafu.+
12 Kubanga buli akola ebintu ebyo Yakuwa amukyayira ddala, era olw’eby’omuzizo ebyo Yakuwa Katonda wo kyava agoba amawanga ago mu maaso go.
13 Tobangako kya kunenyezebwa mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.+
14 “Amawanga ago ge mugenda okuwangula gaawulirizanga abakola eby’obufumu+ n’abalaguzi,+ naye ggwe Yakuwa Katonda wo takukkirizza kukola bintu ng’ebyo.
15 Yakuwa Katonda wo alikuwa nnabbi okuva mu baganda bo alinga nze. Omuwulirizanga.+
16 Ekyo kiriba kityo olw’ebyo bye wasaba Yakuwa Katonda wo e Kolebu ku lunaku ekibiina lwe kyakuŋŋaana,+ bwe wagamba nti, ‘Ka nneme kuwulira nate ddoboozi lya Yakuwa Katonda wange, era ka nneme okulaba nate omuliro guno omungi, nneme okufa.’+
17 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti, ‘Kye bagambye kirungi.
18 Ndibawa nnabbi okuva mu baganda baabwe alinga ggwe,+ nditeeka ebigambo byange mu kamwa ke,+ era alibategeeza byonna bye ndimulagira.+
19 Omuntu ataliwuliriza bigambo byange by’alyogera mu linnya lyange, ndimuvunaana.+
20 “‘Nnabbi yenna bw’aneetulinkirizanga n’ayogera mu linnya lyange ekigambo kye simulagidde, oba n’ayogera mu linnya lya bakatonda abalala, nnabbi oyo attibwanga.+
21 Naye oyinza okwebuuza mu mutima gwo nti: “Tunaamanyanga tutya nti ekigambo ekyo Yakuwa si y’akyogedde?”
22 Nnabbi bw’ayogeranga mu linnya lya Yakuwa ekigambo ne kitabaawo oba ne kitatuukirira, ekigambo ekyo Yakuwa si y’aba yakyogera. Nnabbi oyo aba yeetulinkiriza okukyogera. Tomutyanga.’
Obugambo Obuli Wansi
^ Kwe kugamba, ekifo Yakuwa ky’anaalonda okuba aw’okumusinzizanga.
^ Obut., “ayisa.”