Engero 11:1-31
11 Yakuwa akyayira ddala minzaani ezitali ntuufu,*Naye ekipimo ekituufu kimusanyusa.*+
2 Okwetulinkiriza kuvaamu okuswala,+Naye abeetoowaze baba ba magezi.+
3 Obugolokofu bw’abatuukirivu bwe bubaluŋŋamya,+Naye obutali bwesigwa bw’ab’enkwe bujja kubaviirako okuzikirira.+
4 Obugagga tebujja* kuba na mugaso ku lunaku olw’obusungu,+Naye obutuukirivu bwe bujja okuwonya omuntu okufa.+
5 Obutuukirivu bw’omuntu ataliiko kya kunenyezebwa butereeza ekkubo lye,Naye omubi ajja kugwa olw’ebintu ebibi by’akola.+
6 Obutuukirivu bw’abagolokofu bujja kubawonya,+Naye ab’enkwe okwegomba kwabwe kujja kubakwasa.+
7 Omubi bw’afa, by’abadde asuubira biggwaawo;N’amaanyi agabadde gamweyinuza gaggwaawo.+
8 Omutuukirivu bamuwonya ennaku,Ennaku n’eddira omubi.+
9 Kyewaggula* azikiriza munne ng’akozesa akamwa ke,Naye abatuukirivu okumanya kubawonya.+
10 Empisa ennungi ez’abatuukirivu zisanyusa ekibuga,Naye omubi bw’afa, abantu bajaguza.+
11 Ekibuga kigulumizibwa olw’omukisa gw’abatuukirivu,+Naye akamwa k’ababi kakimenyaamenya.+
12 Buli atalina magezi anyooma munne,Naye omuntu omutegeevu asirika.+
13 Awaayiriza abalala agenda ayasanguza ebyama,+Naye omwesigwa* akuuma ebyama.*
14 Awatali bulagirizi bulungi* abantu babonaabona,Naye awali abawi b’amagezi* abangi ebintu bitambula bulungi.*+
15 Eyeeyimirira omuntu gw’atamanyi agwa mu mitawaana,+Naye oyo atayanguyiriza kukola ndagaano* yeewala ebizibu.
16 Omukazi ow’ekisa* yeefunira ekitiibwa,+Naye abasajja abakambwe banyaga eby’obugagga.
17 Omuntu bw’abeera ow’ekisa* kimuganyula,+Naye omuntu omukambwe yeereetera emitawaana.*+
18 Omuntu omubi afuna empeera eterina ky’egasa,+Naye oyo asiga obutuukirivu afuna empeera eya nnamaddala.+
19 Anywerera ku butuukirivu aliba mulamu,+Naye oyo akola ebibi ajja kufa.
20 Yakuwa akyawa ab’omutima omukyamu,+Naye abo abataliiko kya kunenyezebwa bamusanyusa.+
21 Ba mukakafu ku kino:* Omubi talirema kubonerezebwa,+Naye abaana b’omutuukirivu tebalituukibwako kabi.
22 Omukazi alabika obulungi naye nga talina mageziAlinga empeta eya zzaabu eri mu nnyindo y’embizzi.
23 Omutuukirivu bye yeegomba bimutuusa ku birungi,+Naye omubi by’asuubira bisunguwaza Katonda.
24 Omuntu omugabi* afuna bingi;+Naye omukodo ayavuwala.+
25 Omugabi ajja kugaggawala,*+Na buli azzaamu abalala amaanyi* ajja kuzzibwamu amaanyi.+
26 Oyo atatunda mmere ye ey’empeke abantu bamukolimira,Naye oyo agitunda abantu bamusabira emikisa.
27 Oyo afuba okukola ebirungi aba ayagala okusiimibwa,+Naye oyo ayagala okukola ebibi, ebibi birimutuukako.+
28 Eyeesiga obugagga bwe ajja kugwa,+Naye abatuukirivu bajja kutinta ng’ebikoola by’emiti.+
29 Oyo aleetera ab’omu maka ge emitawaana* ajja kusikira mpewo,+Era omusirusiru ajja kuba muweereza w’oyo alina omutima ogw’amagezi.
30 Ebibala by’omutuukirivu muti gwa bulamu,+Era oyo akubiriza abalala okukola ebirungi aba wa magezi.+
31 Bwe kiba nti abatuukirivu abali ku nsi baweebwa empeera ebagwanira,Kati olwo ababi n’aboonoonyi nabo tebaliweebwa mpeera ebagwanira?+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “ejjinja eripima ettuufu limusanyusa.”
^ Oba, “enzibi.”
^ Oba, “Ebintu eby’omuwendo tebijja.”
^ Oba, “Atakkiririza mu Katonda.”
^ Obut., “omwesigwa mu mwoyo.”
^ Obut., “abikka ku nsonga.”
^ Oba, “bulagirizi bwa magezi.”
^ Oba, “abawabuzi.”
^ Oba, “wabaawo obulokozi.”
^ Oba, “kusika mu mukono nga yeeyimirira abalala.”
^ Oba, “ow’engeri ezisikiriza.”
^ Oba, “Omuntu bw’aba n’okwagala okutajjulukuka.”
^ Oba, “okuswala.”
^ Obut., “Mukono ku mukono.”
^ Obut., “asaasaanya.”
^ Obut., “ajja kugejja.”
^ Obut., “afukirira abalala.”
^ Oba, “okuswala.”