Engero 16:1-33
16 Omuntu ateekateeka ebirowoozo by’omutima gwe,*Naye by’addamu* biva eri Yakuwa.+
2 Amakubo g’omuntu gonna galabika ng’amatuufu* gy’ali,+Naye Yakuwa yeekenneenya ebiruubirirwa.+
3 Buli ky’okola kikwase Yakuwa,+Olwo nno by’oteekateeka bijja kugenda bulungi.
4 Buli kimu Yakuwa alina bw’akikoze okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye,N’ababi abaleetera okuzikirizibwa ku lunaku olw’akatyabaga.+
5 Yakuwa akyayira ddala omuntu ow’omutima ogw’amalala,+Era ba mukakafu nti ajja kubonerezebwa.
6 Obwesigwa n’okwagala okutajjulukuka bisobozesa ekibi okusonyiyibwa,+N’okutya Yakuwa kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.+
7 Yakuwa bw’asanyukira omuntu by’akola,Aleetera n’abalabe b’omuntu oyo okutabagana naye.+
8 Okuba n’ebitono ng’oli mutuukirivu+Kisinga okuba n’ebingi nga toli mwenkanya.+
9 Omuntu ayinza okuteekateeka mu mutima gwe ky’anaakola,Naye Yakuwa y’aluŋŋamya ebigere bye.+
10 Katonda ky’aba asazeewo kye kisaanidde okuba ku mimwa gya kabaka;+Era tateekeddwa kusala misango mu ngeri etali ya bwenkanya.+
11 Ebipima ebituufu ne minzaani entuufu biva eri Yakuwa;Amayinja gonna ag’okupimisa agali mu nsawo ye yagakola.+
12 Bakabaka bakyayira ddala ebikolwa ebibi,+Kubanga obutuukirivu bwe bunyweza entebe y’obwakabaka.+
13 Bakabaka basanyukira abo aboogera eby’obutuukirivu.
Baagala omuntu ayogera amazima.+
14 Obusungu bwa kabaka bulinga omubaka aleeta okufa,+Naye omuntu ow’amagezi abukkakkanya.*+
15 Kabaka bw’alaga omuntu ekisa, omuntu oyo aba n’obulamu obweyagaza;Ekisa kya kabaka kiba ng’ekire ky’enkuba ey’omu ttoggo.+
16 Okufuna amagezi nga kisingira wala okufuna zzaabu!+
N’okufuna okutegeera kisinga okufuna ffeeza.+
17 Abagolokofu beewala ekkubo ebbi.
Era omuntu eyeegendereza mu kkubo lye awonya obulamu bwe.+
18 Amalala gaviirako omuntu okugwa,Era okwegulumiza kuviirako omuntu okwesittala.+
19 Okuba omwetoowaze* ng’oli wamu n’abawoombeefu+Kisinga okugabana ku munyago gw’ab’amalala.
20 Omuntu ayoleka amagezi mu by’akola ajja kutuuka ku buwanguzi,*Era alina essanyu oyo eyeesiga Yakuwa.
21 Ow’omutima ogw’amagezi ajja kuyitibwa mutegeevu,+Era oyo ayogeza ekisa* abantu gwe bawuliriza.+
22 Okutegeera nsulo ya bulamu eri abo abakulina,Naye abasirusiru bakangavvulwa obusirusiru bwabwe.
23 Omutima gw’omuntu ow’amagezi guwa akamwa ke okutegeera,+Era gumusobozesa okwogera ebigambo ebisikiriza.
24 Ebigambo ebirungi biringa ebisenge by’omubisi gw’enjuki,Biwoomera omuntu era biwonya amagumba.+
25 Waliwo ekkubo omuntu ly’alaba ng’ettuufu,Naye nga ku nkomerero litwala mu kufa.+
26 Okwagala okulya kuleetera omukozi okukola ennyo,Kubanga okulumwa enjala kumuwaliriza* okukola.+
27 Omuntu atalina mugaso alowooza kukola bibi;+Ebigambo bye biringa omuliro ogubabula.+
28 Omuntu ow’effujjo* aleeta enjawukana,+N’oyo awaayiriza ayawukanya ab’omukwano.+
29 Omuntu akola ebikolwa eby’obukambwe asendasenda munne,N’amutwala mu kkubo ekkyamu.
30 Atta ku liiso ng’ateekateeka okukola akabi.
Aluma emimwa ng’akola ebibi.
31 Envi ngule erabika obulungi*+Bwe zisangibwa mu kkubo ery’obutuukirivu.+
32 Omuntu alwawo okusunguwala+ asinga omusajja ow’amaanyi,N’oyo afuga obusungu bwe* asinga awamba ekibuga.+
33 Akalulu kakubibwa nga kasuulibwa mu kikondoolo,+Naye kyonna ekiva mu kalulu, Yakuwa y’aba akisazeewo.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “by’addamu ebituufu.” Obut., “olulimi kye luddamu.”
^ Obut., “Ensengeka y’ebiri mu mutima eba ya muntu.”
^ Obut., “ng’amalongoofu.”
^ Oba, “abwewala.”
^ Obut., “n’omwoyo omwetoowaze.”
^ Obut., “ku birungi.”
^ Oba, “Era ayogera mu ngeri esikiriza.” Obut., “Era ow’emimwa emiwoomerevu.”
^ Obut., “omumwa gumuwaliriza.”
^ Oba, “ow’enkwe.”
^ Oba, “ya kitiibwa.”
^ Obut., “afuga omwoyo gwe.”