Isaaya 11:1-16
11 Ettabi+ lirimera ku kikolo kya Yese,+N’ensibuka+ eriva mu mirandira gye eribala ebibala.
2 Era omwoyo gwa Yakuwa gulimubeerako,+Omwoyo gw’amagezi+ era ogw’okutegeera,Omwoyo gw’okubuulirira era ogw’amaanyi,+Omwoyo gw’okumanya era ogw’okutya Yakuwa.
3 Alifuna essanyu mu kutya Yakuwa.+
Talisala musango ng’asinziira ku ebyo amaaso ge bye galaba,So talinenya ng’asinziira ku ebyo amatu ge bye gawulira.+
4 Aliramula abanaku mu bwenkanya,*Era alinenya abantu abalala mu bugolokofu ku lw’abawombeefu ab’omu nsi.
Alikuba ensi n’omuggo gw’akamwa ke+Era ababi alibattisa omukka oguva mu kamwa ke.*+
5 Obutuukirivu bwe buliba omusipi gwe yeesiba mu kiwato,N’obwesigwa bwe buliba omusipi ogw’omu kiwato kye.+
6 Omusege gulibeera* wamu n’omwana gw’endiga,+N’engo erigalamira n’omwana gw’embuzi,Ennyana n’empologoma n’ensolo eya ssava biribeera wamu;*+Era omwana omuto alizirunda.
7 Ente n’eddubu biririira wamu,Era abaana baazo baligalamira wamu.
Empologoma erirya omuddo ng’ente.+
8 Omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,N’omwana eyaakava ku mabeere aliteeka omukono gwe ku kinnya ky’omusota ogw’obusagwa.
9 Tebiriba bya bulabe+Wadde okukola akabi konna ku lusozi lwange lwonna olutukuvu,+Kubanga ensi erijjula okumanya YakuwaNg’ennyanja bw’ejjula amazzi.+
10 Ku lunaku olwo ekikolo kya Yese+ kiriyimirira ne kiba ng’akabonero* eri amawanga.+
Amawanga galijja gy’ali okufuna obulagirizi,*+N’ekifo kye eky’okuwummuliramu kiriba kya kitiibwa.
11 Ku lunaku olwo Yakuwa aligolola omukono gwe omulundi ogw’okubiri, okukomyawo abantu be abaliba basigaddewo n’abaggya mu Bwasuli,+ mu Misiri,+ mu Pasuloosi,+ mu Kkuusi,+ mu Eramu,+ mu Sinaali,* mu Kamasi, ne ku bizinga ebiri mu nnyanja.+
12 Aliwanikira amawanga akabonero* n’akuŋŋaanya abantu ba Isirayiri abaasaasaana,+ era alikuŋŋaanya wamu abantu ba Yuda abaasaasaana n’abaggya mu nsonda ennya ez’ensi.+
13 Obuggya bwa Efulayimu buliba buweddewo,+Abo abalaga Yuda obukyayi balimalibwawo.
Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya,Ne Yuda talikola Efulayimu bintu ebyoleka obukyayi.+
14 Balikka mbiro ku buserengeto* bw’Abafirisuuti obuli ebugwanjuba;Nga bali wamu balinyaga abantu b’Ebuvanjuba.
Baliwamba Edomu+ ne Mowaabu,+Era balifuga Abaamoni.+
15 Yakuwa alyawulamu* ekikono* ky’ennyanja y’e Misiri+Era aliwuuba omukono gwe ku Mugga.*+
Alikozesa omukka* gwe ogwokya okukuba emyala gyagwo omusanvu,Era alisomosa abantu nga bali mu ngatto.
16 Walibaawo oluguudo olunene+ oluva e Bwasuli abantu be abalisigalawo mwe baliyita,+Nga bwe waaliwo olwo Isirayiri mwe yayita ku lunaku lwe yava mu nsi ya Misiri.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “mu butuukirivu.”
^ Obut., “omwoyo gw’emimwa gye.”
^ Oba, “gulibeerako.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ennyana n’empologoma biririira wamu.”
^ Oba, “Amawanga galimunoonya.”
^ Oba, “ng’ekikondo.”
^ Kwe kugamba, Babulooni.
^ Oba, “ekikondo.”
^ Obut., “kibegaabega.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “alikaliza.”
^ Obut., “olulimi.”
^ Omugga Fulaati.
^ Oba, “omwoyo.”