Isaaya 36:1-22

  • Sennakeribu alumba Yuda (1-3)

  • Labusake asoomooza Yakuwa (4-22)

36  Mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa Kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka wa Bwasuli+ yalumba ebibuga bya Yuda byonna ebiriko bbugwe n’abiwamba.+  Awo kabaka wa Bwasuli n’asindika Labusake*+ okuva e Lakisi+ okugenda eri Kabaka Keezeekiya e Yerusaalemi ng’alina eggye ddene. Ne bagumba okumpi n’omukutu gw’amazzi ag’ekidiba eky’eky’engulu,+ oguli ku luguudo olunene olugenda mu kibanja ky’omwozi w’engoye.+  Awo Eriyakimu+ mutabani wa Kirukiya, eyali alabirira ennyumba ya* kabaka, ne Sebuna+ omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu eyawandiikanga ebyabangawo, ne bagenda gy’ali.  Awo Labusake n’abagamba nti: “Mugambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati kabaka omukulu, kabaka wa Bwasuli, bw’agamba: “Kiki kye weesiga?+  Ogamba nti, ‘Nnina amagezi n’amaanyi ebinsobozesa okulwana olutalo,’ naye ebyo bigambo bugambo. Kale ani oyo gwe weesiga olyoke onjeemere?+  Laba! Weesize Misiri olumuli olubetentefu, olufumita ekibatu ky’omuntu alwesigamako ne lukiyingira. Bw’atyo Falaawo kabaka wa Misiri bw’ali eri abo bonna abamwesiga.+  Era bwe muŋŋamba nti, ‘Twesiga Yakuwa Katonda waffe,’ oyo si ye nnannyini bifo ebigulumivu n’ebyoto Keezeekiya bye yaggyawo,+ n’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, ‘Mulina kuvunnama mu maaso ga kyoto kino kyokka’?”’+  Kale kaakano baako ky’osibawo eri mukama wange kabaka wa Bwasuli:+ Nja kukuwa embalaasi 2,000 tulabe obanga onoosobola okuzifunira abazeebagala abamala.  Ggwe eyeesiga Misiri okukuwa amagaali n’abeebagazi b’embalaasi, osobola okuwangula wadde omu ku ba gavana asingayo obunafu mu baweereza ba mukama wange? 10  Yakuwa si ye yampa obuyinza okulumba ensi eno ngizikirize? Yakuwa kennyini ye yaŋŋamba nti, ‘Genda olumbe ensi eyo ogizikirize.’” 11  Awo Eriyakimu ne Sebuna+ ne Yowa ne bagamba Labusake+ nti: “Tukwegayiridde, yogera n’abaweereza bo mu Lulamayiki*+ kubanga tulutegeera; toyogera naffe mu Luyudaaya ng’abantu abali ku bbugwe bawulira.”+ 12  Naye Labusake n’agamba nti: “Mulowooza ebigambo bino mukama wange antumye kubibuulira mmwe mmwekka ne mukama wammwe? Tantumye kubibuulira n’abasajja abatudde waggulu ku bbugwe, abo abajja okulya empitambi yaabwe era banywe n’omusulo gwabwe nga nammwe bwe mujja okukola?” 13  Awo Labusake n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka mu Luyudaaya+ n’agamba nti: “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka wa Bwasuli.+ 14  Bw’ati kabaka bw’agamba, ‘Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba, kubanga tasobola kubanunula.+ 15  Era temukkiriza Keezeekiya kubaleetera kwesiga Yakuwa+ ng’abagamba nti: “Yakuwa ajja kutununula, era ekibuga kino tekijja kuweebwayo mu mukono gwa kabaka wa Bwasuli.” 16  Temuwuliriza Keezeekiya, kubanga bw’ati kabaka wa Bwasuli bw’agamba: “Mutabagane nange era mweweeyo gye ndi, olwo buli omu ku mmwe ajja kulya ku muzabbibu gwe ne ku mutiini gwe era ajja kunywa amazzi ag’omu luzzi lwe, 17  okutuusa lwe nnajja ne mbatwala mu nsi eringa eyammwe,+ ensi erimu emmere ey’empeke n’omwenge omusu; ensi erimu emigaati n’ennimiro z’emizabbibu. 18  Temukkiriza Keezeekiya kubabuzaabuza ng’abagamba nti, ‘Yakuwa ajja kutununula.’ Waliwo katonda yenna ku bakatonda b’amawanga asobodde okununula ensi ye mu mukono gwa kabaka wa Bwasuli?+ 19  Bakatonda ba Kamasi ne Alupadi bali ludda wa?+ Bakatonda ba Sefavayimu+ bali ludda wa? Baanunula Samaliya mu mukono gwange?+ 20  Ani ku bakatonda b’ensi ezo asobodde okununula ensi ye mu mukono gwange, Yakuwa alyoke asobole okununula Yerusaalemi mu mukono gwange?”’”+ 21  Naye ne basirika ne batamuddamu kigambo kyonna, kubanga kabaka yali abalagidde nti, “Temumuddamu.”+ 22  Naye Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyalabiriranga ennyumba ya* kabaka, ne Sebuna+ omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu eyawandiikanga ebyabangawo, ne bagenda eri Keezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe, ne bamubuulira ebyo Labusake bye yali ayogedde.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “omusenero omukulu.”
Oba, “olubiri lwa.”
Oba, “Olusuuli.”
Oba, “olubiri lwa.”