Isaaya 40:1-31
40 “Mubudeebude abantu bange; mubabudeebude,” Katonda wammwe bw’agamba.+
2 “Mwogere ne Yerusaalemi mu ngeri ey’ekisa,*Era mumugambe nti emirimu gye egy’obuwaze giwedde,Era nti takyaliko musango.+
Yakuwa amubonerezza mu bujjuvu olw’ebibi bye byonna.”+
3 Eddoboozi ery’omwanguka ery’oyo ayogerera mu ddungu ligamba nti:
“Mwerule* ekkubo lya Yakuwa!+
Mukolere Katonda waffe oluguudo olutereevu+ oluyita mu ddungu.+
4 Buli kiwonvu kijjuzibwe,Na buli lusozi n’akasozi biseetezebwe.
Ekifo ekirimu ebisirikko kijja kufuuka kitereevu,N’ekifo ekitali kitereevu kijja kufuuka kya museetwe.+
5 Ekitiibwa kya Yakuwa kijja kubikkulwa,+Era abantu bonna bajja kukiraba,+Kubanga akamwa ka Yakuwa ke koogedde.”
6 Wulira! Waliwo agamba nti: “Langirira!”
Omulala n’abuuza nti: “Kiki kye mba nnangirira?”
“Abantu bonna balinga omuddo.
Era okwagala kwabwe kwonna okutajjulukuka kulinga ekimuli eky’oku ttale.+
7 Omuddo gukala,Ekimuli kiwotoka,+Kubanga omukka* gwa Yakuwa gubifuuwa.+
Mazima ddala abantu muddo buddo.
8 Omuddo gukala,Ekimuli kiwotoka,Naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerawo emirembe gyonna.”+
9 Genda ku lusozi oluwanvu,Ggwe omukazi aleetera Sayuuni amawulire amalungi.+
Yimusa eddoboozi lyo oyogeze maanyi,Ggwe omukazi aleetera Yerusaalemi amawulire amalungi.
Yogerera waggulu, totya.
Langirira eri ebibuga bya Yuda nti: “Katonda wammwe+ wuuno.”
10 Laba! Yakuwa Mukama Afuga Byonna ajja kujja n’amaanyi,Era omukono gwe gujja kufuga.+
Laba! Alina empeera,Era empeera gy’asasula eri mu maaso ge.+
11 Okufaananako omusumba, ajja kulabirira* ekisibo kye.+
Ajja kukuŋŋaanya endiga ento n’omukono gwe,Era ajja kuzisitulira mu kifuba kye.
Ajja kukulembera n’obwegendereza ezo eziyonsa.+
12 Ani yali apimye amazzi gonna agali mu nnyanja mu kibatu kye+Era eyali apimye eggulu n’oluta lw’engalo ze?*
Ani yali akuŋŋaanyizza enfuufu y’ensi mu kigera+Oba eyali apimye ensozi ku minzaaniN’obusozi ku kipima?
13 Ani eyali apimye* omwoyo gwa Yakuwa,Era ani ayinza okuba omuwabuzi we n’amuyigiriza?+
14 Ani gwe yeebuuzaako asobole okutegeera,Oba ani amuyigiriza mu kkubo ery’obwenkanya,Oba ani amuyigiriza asobole okufuna okumanya,Oba ani amulaga ekkubo ery’okutegeera okutuufu?+
15 Laba! Amawanga galinga ettondo ly’amazzi eriri mu kalobo,Era ng’olufufugge oluli ku minzaani.+
Laba! Asitula ebizinga ng’asitula enfuufu.
16 N’emiti gy’omu Lebanooni gyonna tegisobola kuvaamu nku zimala,N’ensolo zaamu ez’omu nsiko tezimala kuba kiweebwayo ekyokebwa.
17 Mu maaso ge amawanga gonna galinga ekintu ekitaliiwo;+Agatwala ng’ekintu ekitaliimu nsa.+
18 Katonda muyinza kumugeraageranya ku ani?+
Kiki kye muyinza okumufaananya?+
19 Omukozi akola ekifaananyi eky’ekyuma,*Omuweesi n’akibikkako zzaabu+Era n’akola obujegere obwa ffeeza.
20 Yeeroboza omuti gw’anaawaayo,+Omuti ogutayinza kuvunda.
Anoonya omukozi omukuguOkukola ekifaananyi ekyole ekiyinza okuyimirira ne kitagwa.+
21 Temumanyi?Temuwuliranga?
Tekyababuulirwa okuva ku lubereberye?
Temwakitegeera okuva emisingi gy’ensi lwe gyateekebwawo?+
22 Waliwo abeera waggulu w’ensi enneetooloovu,+Era abagibeeramu balinga amayanzi.
Abamba eggulu ng’olutimbe olw’oluwewere,Era alyanjuluza nga weema ey’okubeeramu.+
23 Abakungu abaggyako obuyinza,N’abalamuzi* b’ensi abafuula ng’ekintu ekitaliimu nsa.
24 Baba baakasimbibwa,Baba baakasigibwa,Ekikolo kyabwe kiba tekinnasimba mirandira mu ttaka,Ne bafuuyibwako empewo ne bakala,Era embuyaga n’ebafuumuula ng’ebisubi.+
25 “Ani gwe muyinza okunfaananya? Ani annenkana?” Omutukuvu bw’agamba.
26 “Muyimuse amaaso gammwe mutunule waggulu mulabe.
Ani yatonda ebintu ebyo?+
Y’Oyo aggyayo eggye lyabyo okusinziira ku muwendo gwabyo;Byonna abiyita amannya.+
Olw’amaanyi ge amangi ennyo n’olw’amaanyi ge agawuniikiriza,+Tewali na kimu ku byo kibulako.
27 Ggwe Yakobo, kiki ekikwogeza, era ggwe Isirayiri lwaki ogamba nti,‘Ekkubo lyange Yakuwa limukwekeddwa,Era Katonda si mwenkanya gye ndi’?+
28 Tomanyi? Towuliranga?
Yakuwa Omutonzi w’ensi yonna ye Katonda ow’emirembe n’emirembe.+
Takoowa era tatendewalirwa.+
Okutegeera kwe tekunoonyezeka.*+
29 Oyo akooye amuwa amaanyi,N’abo abatalina maanyi abawa amaanyi mangi nnyo.+
30 Abalenzi bajja kukoowa era batendewalirwe,N’abavubuka bajja kwesittala bagwe,
31 Naye abo abateeka essuubi lyabwe mu Yakuwa bajja kuddamu okufuna amaanyi.
Bajja kutumbiira waggulu nga balinga abalina ebiwaawaatiro by’empungu.+
Bajja kudduka naye nga tebaggwaamu maanyi;Bajja kutambula naye nga tebakoowa.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “mu ngeri ebudaabuda.”
^ Oba, “Muteeketeeke.”
^ Oba, “omwoyo.”
^ Oba, “ajja kulunda.”
^ Ebbanga eririwo okuva ku mutwe gw’ekigalo ekisajja okutuuka ku mutwe gwa nnaswi ng’engalo zanjuluziddwa. Laba Ebyong. B14.
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “eyali ategedde.”
^ Oba, “ekisaanuuse.”
^ Oba, “N’abafuzi.”
^ Oba, “tekutegeerekeka.”