Isaaya 61:1-11
61 Omwoyo gwa Yakuwa Mukama Afuga Byonna gundiko,+Kubanga Yakuwa yanfukako amafuta okubuulira abawombeefu amawulire amalungi.+
Yantuma okusiba ebiwundu by’abo abalina emitima egimenyese,Okulangirira nti abawambe bajja kuteebwaEra nti n’amaaso g’abasibe gajja kuzibulirwa ddala,+
2 Okulangirira omwaka gw’okulagirwamu ekisa kya YakuwaN’olunaku lwa Katonda waffe olw’okuwoolerako eggwanga,+Okubudaabuda abo bonna abakungubaga,+
3 Okuwa abo abakungubagira Sayuuni bye beetaaga,Okubawa eky’oku mutwe mu kifo ky’evvu,Amafuta ag’okusanyuka mu kifo ky’okukungubaga,Ekyambalo eky’okutendereza mu kifo ky’omutima omunakuwavu.
Era baliyitibwa emiti eminene egy’obutuukirivu,Yakuwa gye yasimba, asobole okugulumizibwa.*+
4 Baliddamu okuzimba ebyayonooneka eby’edda;Balizzaawo ebifo eby’edda ebyafuulibwa amatongo,+Era balizzaawo ebibuga ebyayonoonebwa,+Ebifo ebyasigala amatongo emyaka n’emyaka.+
5 “Bannaggwanga balijja ne balunda ebisibo byammwe,Era abagwira+ balibalimira era balikola mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu.+
6 Naye mmwe muliyitibwa bakabona ba Yakuwa;+Balibayita baweereza ba Katonda waffe.
Mulirya eby’obugagga by’amawanga,+Era mulyenyumiririza mu kitiibwa kyago.*
7 Mu kifo ky’okukwatibwa ensonyi mulifuna emigabo gya mirundi ebiri,Era mu kifo ky’okuswala balyogerera waggulu n’essanyu olw’omugabo gwabwe.
Balifuna emigabo gya mirundi ebiri mu nsi yaabwe.+
Essanyu lyabwe liriba lya lubeerera.+
8 Nze Yakuwa njagala obwenkanya;+Nkyawa obunyazi n’obutali butuukirivu.+
Ndibeera mwenkanya ne mbawa empeera yaabwe,Era ndikola nabo endagaano ey’olubeerera.+
9 Ezzadde lyabwe lirimanyibwa mu mawanga+Era bazzukulu baabwe balimanyibwa mu bantu.
Abo bonna abalibalaba balitegeeraNti lye zzadde Yakuwa lye yawa omukisa.”+
10 Ndisanyukira nnyo mu Yakuwa.
Obulamu bwange bwonna bulijaganyiza mu Katonda wange.+
Kubanga annyambazza ebyambalo eby’obulokozi;+Annyambazza ekyambalo* eky’obutuukirivu,Ng’omugole omusajja asiba ku mutwe ekiremba ekiringa ekya kabona,+Era ng’omugole omukazi eyeetonaatona amajolobero ge.
11 Ng’ettaka bwe limeza ebimera,Era ng’ennimiro bw’emeza ebigisigiddwamu,Bw’atyo Yakuwa Mukama Afuga ByonnaBw’alimeza+ obutuukirivu+ n’ettendo mu maaso g’amawanga gonna.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “okulungiyizibwa.”
^ Oba, “mu by’obugagga byago.”
^ Oba, “ekizibaawo ekitaliiko mikono.”