Isaaya 63:1-19
63 Ani oyo ava mu Edomu,+Ava mu Bozula+ ng’ayambadde ebyambalo ebya langi enkyamufu,Ayambadde engoye ez’ekitiibwa,Atambuza amaanyi amangi?
“Ye nze, ayogera eby’obutuukirivu,Alina amaanyi amangi okulokola.”
2 Lwaki engoye zo mmyufu,Era lwaki ebyambalo byo biringa eby’omuntu asambirira ezzabbibu mu ssogolero?+
3 “Nnasambirira ezzabbibu mu ssogolero* nga ndi bw’omu.
Tewali muntu yenna yali nange.
Nnabasambirira mu busungu bwange,Era nnabalinnyirira mu kiruyi kyange.+
Omusaayi gwabwe gwasammuka ku byambalo byange,Era engoye zange zonna zijjudde amabala.
4 Kubanga olunaku olw’okuwoolerako eggwanga luli mu mutima gwange,+N’omwaka gwe banaanunulibwamu gutuuse.
5 Nnatunula, naye tewaali annyamba;Nneewuunya nti tewali n’omu yannyamba.
Omukono gwange gwe gwandokola,*+Era obusungu bwange bwe bwannyamba.
6 Nnasambirira amawanga mu busungu bwange,Nnabatamiiza n’ekiruyi kyange+Ne ngiwa omusaayi gwabwe ku ttaka.”
7 Nja kwogera ku bikolwa bya Yakuwa eby’okwagala okutajjulukuka,Ebikolwa bya Yakuwa eby’ettendo,Olw’ebyo byonna Yakuwa by’atukoledde,+Ebintu ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri,Olw’okusaasira kwe n’olw’okwagala kwe okungi okutajjulukuka.
8 Kubanga yagamba nti: “Mazima ddala bantu bange, baana abatalirema kubeera beesigwa.”+
Kyeyava abeera Omulokozi waabwe.+
9 Mu kubonaabona kwabwe kwonna yalumwanga.+
Era omubaka we* yabalokola.+
Mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe, yabanunula,+N’abayimusa era n’abasitula mu nnaku zonna ez’edda.+
10 Naye baajeema+ ne banakuwaza omwoyo gwe omutukuvu.+
Kyeyava afuuka omulabe waabwe,+N’abalwanyisa.+
11 Awo ne bajjukira ennaku ez’edda,Ennaku za Musa omuweereza we, ne bagamba nti:
“Ali ludda wa Oyo eyabayisa mu nnyanja+ nga muli wamu n’abasumba b’ekisibo kye?+
Ali ludda wa Oyo eyamussaamu omwoyo gwe omutukuvu,+
12 Oyo eyatambuliza omukono gwe ogw’ekitiibwa awamu n’omukono gwa Musa ogwa ddyo,+Oyo eyayawulamu amazzi mu maaso gaabwe+Asobole okwekolera erinnya ery’olubeerera,+
13 Oyo eyabayisa mu mazzi agaali geetuumye,Ne batambula nga tebeesittadde,Ng’embalaasi bw’etambulira ku ttale?*
14 Ng’ebisibo bwe biba nga bigenze mu lusenyi,Omwoyo gwa Yakuwa gwabawummuza.”+
Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo,Osobole okwekolera erinnya ery’ekitiibwa.*+
15 Tunula wansi ng’oyima mu ggulu olabeNg’oyima mu kifo kyo ky’obeeramu ekitukuvu era eky’ekitiibwa.*
Lwaki tokyafaayo? Lwaki tokyakozesa maanyi go?
Ekisa kyo ekyefukuta+ era n’okusaasira kwo biri ludda wa?+
Tebindagiddwa.
16 Ggwe Kitaffe;+Wadde nga Ibulayimu ayinza obutatumanyaEra nga ne Isirayiri ayinza obutatutegeera,Ggwe, Ai Yakuwa, ggwe Kitaffe.
Omununuzi waffe ow’edda lye linnya lyo.+
17 Ai Yakuwa, lwaki otuleka ne tuva mu makubo go?
Lwaki oleka emitima gyaffe okuguba, ne tuba nga tetukutya?+
Komawo ku lw’abaweereza bo,Ebika by’obusika bwo.+
18 Abantu bo abatukuvu baabeera mu nsi okumala ekiseera kitono.
Abalabe baffe balinnyiridde ekifo kyo ekitukuvu.+
19 Okumala ekiseera kiwanvu tubadde ng’abo b’otofugangako,Tubadde ng’abo abatayitibwangako linnya lyo.
Obugambo Obuli Wansi
^ Kwe kugamba, eryato erisogolerwamu omwenge.
^ Oba, “gwe gwandeetera obuwanguzi.”
^ Oba, “malayika eyava mu maaso ge.”
^ Oba, “mu ddungu?”
^ Oba, “eddungi.”
^ Oba, “ekirabika obulungi.”