Lukka 5:1-39
5 Lumu Yesu bwe yali ku lubalama lw’ennyanja ey’e Genesaleeti+ ng’ayigiriza ekigambo kya Katonda, ekibiina ky’abantu ekyali kiwuliriza ne kimwekumako nnyo.
2 Awo n’alaba amaato abiri nga gali ku lubalama, naye ng’abavubi bagavuddemu era nga booza obutimba bwabwe.+
3 N’alinnya erimu ku maato ago, eryali erya Simooni, n’amusaba alyongereyoko katono mu nnyanja. Awo n’atuula mu lyato n’atandika okuyigiriza ekibiina.
4 Bwe yamala okwogera, n’agamba Simooni nti: “Eryato lyongereyo mu buziba, era musuule obutimba bwammwe muvube.”
5 Naye Simooni n’amuddamu nti: “Omuyigiriza, twateganye ekiro kyonna ne tutakwasa kantu,+ naye olw’okuba ggwe oyogedde, nja kusuula obutimba.”
6 Bwe baabusuula, ne bakwasa ebyennyanja bingi nnyo era obutimba bwabwe ne butandika okukutuka.+
7 Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato eddala bajje babayambe; ne bajja ne bajjuza amaato gombi, ne gabulako katono okubbira.
8 Simooni Peetero bwe yalaba bino, n’afukamira mu maaso ga Yesu n’amugamba nti: “Va we ndi Mukama wange kubanga ndi muntu mwonoonyi.”
9 Yayogera bw’atyo kubanga ye n’abo be yali nabo beewuunya nnyo olw’ebyennyanja ebingi ennyo bye baakwasa.
10 Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebedaayo,+ abaali bakolera awamu ne Simooni nabo beewuunya nnyo. Naye Yesu n’agamba Simooni nti: “Totya. Okuva leero ojja kuvubanga bantu.”+
11 Awo ne bakomyawo amaato ku lukalu, ne baleka buli kimu, ne bamugoberera.+
12 Ku mulundi omulala bwe yali mu kibuga ekimu, ne wajja omusajja eyali ajjudde ebigenge. Bwe yalaba Yesu n’avunnama, n’amwegayirira ng’agamba nti: “Mukama wange, bw’oba oyagala, osobola okunfuula omulongoofu.”+
13 N’agolola omukono gwe, n’amukwatako, n’amugamba nti: “Njagala! Fuuka mulongoofu.” Amangu ago ebigenge ne bimuvaako.+
14 N’alagira omusajja oyo obutabuulirako muntu yenna, kyokka n’amugamba nti: “Genda weeyanjule eri kabona, era olw’okulongoosebwa kwo, oweeyo ebintu Musa bye yalagira,+ bakakase nti owonye.”+
15 Naye amawulire agamukwatako ne geeyongera okusaasaana, era abantu bangi ne bajjanga okuwuliriza n’okuwonyezebwa endwadde.+
16 Kyokka emirundi mingi yagendanga mu bifo omutali bantu okusaba.
17 Lumu, bwe yali ng’ayigiriza abantu, Abafalisaayo n’abayigiriza b’amateeka abaali bavudde mu bubuga bwonna obw’e Ggaliraaya, n’obw’e Buyudaaya, era ne mu Yerusaalemi nabo baali awo nga batudde; era yalina amaanyi ga Yakuwa* ag’okuwonya abantu.+
18 Awo abasajja ne baleeta omusajja eyasannyalala, nga bamusitulidde ku katanda, ne bagezaako okumuyingiza bamuteeke mu maaso ga Yesu.+
19 Bwe baalemererwa okumuyingiza olw’ekibiina ky’abantu, ne balinnya waggulu ku kasolya ne bayisaamu omusajja ne bamussa ng’ali ku katanda wakati mu bantu abaali mu maaso ga Yesu.
20 Bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omusajja eyali yasannyalala nti: “Osonyiyiddwa ebibi byo.”+
21 Awo abawandiisi n’Abafalisaayo ne batandika okulowooza mu mitima gyabwe nti: “Ono y’ani ayogera ebigambo ebivvoola? Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda yekka?”+
22 Naye Yesu bwe yategeera endowooza yaabwe n’abagamba nti: “Biki bye mulowooza mu mitima gyammwe?
23 Kiki ekisinga obwangu, okugamba nti, ‘Osonyiyiddwa ebibi byo,’ oba okugamba nti, ‘Yimuka otambule’?
24 Naye mmwe okusobola okukimanya nti Omwana w’omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi—” n’agamba eyali yasannyalala nti: “Nkugamba nti, Yimuka ositule akatanda ko ogende ewammwe.”+
25 N’ayimuka amangu ago nga bonna balaba, n’asitula akatanda kwe yalinga agalamira, n’agenda eka ng’agulumiza Katonda.
26 Bonna ne bawuniikirira ne batandika okugulumiza Katonda, ne batya, era ne bagamba nti: “Olwa leero tulabye ebintu ebyewuunyisa!”
27 Oluvannyuma lw’ebyo, n’afuluma n’alaba omusolooza w’omusolo ayitibwa Leevi ng’atudde we basolooleza omusolo, n’amugamba nti: “Beera mugoberezi wange.”+
28 N’aleka buli kimu, n’ayimuka n’amugoberera.
29 Awo Leevi n’amufumbira ekijjulo ekinene mu nnyumba ye; era waaliwo n’abasolooza omusolo bangi n’abalala abaali balya nabo ekijjulo.*+
30 Awo Abafalisaayo n’abawandiisi ne batandika okwemulugunya ku bayigirizwa be nga bagamba nti: “Lwaki mulya era ne munywa n’abasolooza omusolo n’aboonoonyi?”+
31 Yesu n’abaddamu nti: “Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga.+
32 Sajja kuyita batuukirivu wabula aboonoonyi, basobole okwenenya.”+
33 Ne bamugamba nti: “Abayigirizwa ba Yokaana basiiba entakera era basaba nnyo, n’ab’Abafalisaayo bwe batyo bwe bakola, naye ababo balya era banywa.”+
34 Yesu n’abagamba nti: “Musobola okusiibya mikwano gy’omugole omusajja ng’omugole oyo akyali nabo?
35 Naye ekiseera kijja kutuuka omugole omusajja+ abaggibweko, era mu kiseera ekyo bajja kusiiba.”+
36 Ate era n’abawa ekyokulabirako ng’agamba nti: “Tewali muntu asala kiwero ku kyambalo eky’okungulu ekipya n’akitunga ku kyambalo ekikadde. Singa akola bw’atyo, ekiwero ekipya kiyulikako; ate era ekiwero ekipya kiba kya njawulo ku kikadde.+
37 Ate era, tewali muntu ateeka mwenge musu mu nsawo z’amaliba enkadde. Singa aguteekamu, omwenge omusu gujja kwabya ensawo guyiike era ensawo zoonooneke.
38 Naye omwenge omusu gulina kuteekebwa mu nsawo z’amaliba empya.
39 Tewali muntu anywa mwenge gukuze ayagala kunywa musu, kubanga agamba nti, ‘Ogukuze mulungi.’”