Makko 2:1-28
2 Naye ennaku bwe zaayitawo n’addayo e Kaperunawumu, era abantu ne bawulira nti yali ali waka.+
2 Ne bakuŋŋaana bangi nnyo ne waba nga tewakyali kifo wadde ku mulyango, n’atandika okubabuulira ekigambo kya Katonda.+
3 Awo abasajja bana ne bajja nga basitudde omuntu eyali yasannyalala, ne bamumuleetera.+
4 Naye olw’obutasobola kumutuusa Yesu we yali olw’abantu abangi, baasereekulula akasolya k’ennyumba Yesu mwe yali, ne bayisaamu omusajja eyali yasannyalala, ng’agalamidde ku katanda kwe baamuleetera.
5 Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe,+ n’agamba oyo eyali yasannyalala nti: “Mwana wange, osonyiyiddwa ebibi byo.”+
6 Abamu ku bawandiisi baali awo nga batudde era nga balowooza mu mitima gyabwe nti:+
7 “Lwaki omusajja ono ayogera bw’atyo? Avvoola. Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda yekka?”+
8 Naye amangu ago Yesu n’akitegeera* nti baali balowooza bwe batyo, era n’abagamba nti: “Lwaki mulowooza ebintu bino mu mitima gyammwe?+
9 Kiki ekisinga obwangu, okugamba omusajja ono eyasannyalala nti, ‘Osonyiyiddwa ebibi byo,’ oba okugamba nti ‘Yimuka ositule akatanda ko otambule’?
10 Naye mmwe okusobola okukimanya nti Omwana w’omuntu+ alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi—”+ n’agamba oyo eyali yasannyalala nti:
11 “Nkugamba nti, Yimuka ositule akatanda ko ogende ewammwe.”
12 Amangu ago n’ayimuka n’asitula akatanda ke, n’afuluma nga bonna bamulaba, ne beewuunya era ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: “Kino tetukirabangako.”+
13 Awo Yesu n’addayo nate ku lubalama lw’ennyanja, era ekibiina kyonna ne kijja gy’ali n’atandika okubayigiriza.
14 Era bwe yali ng’atambula, n’alaba Leevi mutabani wa Alufaayo ng’atudde we basolooleza omusolo, n’amugamba nti: “Beera mugoberezi wange.” Awo n’ayimuka n’amugoberera.+
15 Oluvannyuma, Yesu bwe yali alya emmere* mu nnyumba ya Leevi, abasolooza omusolo n’aboonoonyi bangi baali balya* naye n’abayigirizwa be, kubanga bangi ku bo baali bafuuse bagoberezi be.+
16 Naye abawandiisi n’Abafalisaayo bwe baalaba ng’alya n’aboonoonyi era n’abasolooza omusolo, ne batandika okugamba abayigirizwa be nti: “Alya n’abasolooza omusolo era n’aboonoonyi?”
17 Yesu bwe yawulira ebyo n’abagamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga. Sajja kuyita batuukirivu wabula aboonoonyi.”+
18 Abayigirizwa ba Yokaana n’Abafalisaayo baasiibanga. Awo ne bajja ne bamugamba nti: “Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo basiiba ng’ate bo abayigirizwa bo tebasiiba?”+
19 Yesu n’abagamba nti: “Mikwano gy’omugole omusajja+ bayinza okusiiba ng’omugole oyo akyali nabo? Bwe baba nga bakyali naye tebasobola kusiiba.
20 Naye ekiseera kijja kutuuka omugole omusajja abaggibweko,+ era mu kiseera ekyo bajja kusiiba.
21 Tewali atunga kiwero kipya ku kyambalo eky’okungulu ekikadde; bw’akitungako, kyesika okuva ku kyambalo ekikadde, ekituli ne kiba kinene n’okusingawo.+
22 Ate era, tewali muntu ateeka mwenge musu mu nsawo z’amaliba enkadde; bw’aguteekamu, omwenge guzaabya ne guyiika, n’ensawo ne zoonooneka. Naye abantu bateeka omwenge omusu mu nsawo z’amaliba empya.”
23 Awo bwe yali ayita mu nnimiro z’eŋŋaano ku Ssabbiiti, abayigirizwa be ne banoga ku birimba by’eŋŋaano.+
24 Abafalisaayo ne bamugamba nti: “Lwaki bakola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti?”
25 Naye n’abagamba nti: “Temusomangako ekyo Dawudi kye yakola bwe yali mu bwetaavu, ng’enjala emuluma, ye n’abasajja be yali nabo?+
26 Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, nga bwe kiri mu byawandiikibwa ebyogera ku Abiyasaali+ kabona omukulu, n’alya emigaati egy’okulaga, omuntu yenna gy’atakkirizibwa kulyako okuggyako bakabona,+ era n’awaako n’abasajja abaali naye?”
27 Awo n’abagamba nti: “Ssabbiiti yajjawo ku lwa muntu+ so si omuntu ku lwa Ssabbiiti.
28 N’olwekyo Omwana w’omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “n’ategeera mu mwoyo gwe.”
^ Oba, “batudde ku mmeeza.”
^ Oba, “atudde ku mmeeza.”