Makko 4:1-41

  • ENGERO EZIKWATA KU BWAKABAKA (1-34)

    • Omusizi (1-9)

    • Ensonga lwaki Yesu yakozesa engero (10-12)

    • Olugero lw’omusizi lunnyonnyolwa (13-20)

    • Ettaala tebagivuunikako kibbo (21-23)

    • Ekipimo kye mukozesa (24, 25)

    • Omusizi eyeebaka (26-29)

    • Akasigo ka kalidaali (30-32)

    • Okukozesa engero (33, 34)

  • Yesu akkakkanya omuyaga (35-41)

4  Awo n’addamu nate okuyigiriza ng’ali ku lubalama lw’ennyanja. Ekibiina ky’abantu kinene nnyo ne kikuŋŋaanira w’ali; n’alinnya eryato n’atuula omwo ng’ali ku nnyanja naye ng’ekibiina kyonna kiri ku lubalama.+  N’atandika okubayigiriza ebintu bingi ng’akozesa engero,+ n’abagamba nti:+  “Muwulire. Omusizi yagenda okusiga,+  era bwe yali asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo, ebinyonyi ne bijja ne bizirya.  Endala ne zigwa awali enjazi awataali ttaka lingi, amangu ago ne zimera kubanga ettaka lyali ttono.+  Naye enjuba bwe yavaayo, n’ezookya ne zikala olw’okuba zaali tezirina mirandira.  Ate ensigo endala ne zigwa mu maggwa, amaggwa ne gakula ne gazitta ne zitabala bibala.+  Naye endala ne zigwa ku ttaka eddungi ne zimera ne zeeyongera okukula era ne zitandika okubala ebibala, ne bikubisaamu emirundi 30, 60, ne 100.”+  Awo n’abagamba nti: “Oyo alina amatu ag’okuwulira, awulire.”+ 10  Awo bwe yali yekka, abamu ku bayigirizwa awamu n’Ekkumi n’Ababiri ne bajja gy’ali ne batandika okumubuuza ebikwata ku ngero.+ 11  N’abagamba nti: “Mmwe muweereddwa okutegeera ekyama ekitukuvu+ eky’Obwakabaka bwa Katonda, naye eri abo ab’ebweru byonna bisigala mu ngero,+ 12  ne kiba nti wadde batunula, babe nga tebalaba, era wadde bawulira, babe nga tebategeera makulu gaabyo; era tebalisobola kukyuka basonyiyibwe.”+ 13  Ate era n’abagamba nti: “Olugero luno bwe muba temulutegeera, olwo munaayinza mutya okutegeera engero endala zonna? 14  “Omusizi asiga ekigambo.+ 15  Ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo be bantu abawulira ekigambo, naye amangu ddala nga baakakiwulira, Sitaani ajja+ n’atwala ekigambo ekibasigiddwamu.+ 16  Ate ezo ezaasigibwa awali enjazi, be bantu abawulira ekigambo, amangu ago ne bakikkiriza n’essanyu.+ 17  Naye tebaba na mirandira, era babeerawo okumala akaseera katono; kyokka amangu ddala nga wazzeewo okubonaabona oba okuyigganyizibwa olw’ekigambo, beesittala. 18  Ate era, waliwo endala ezaasigibwa mu maggwa. Zino, beebo ababa bawulidde ekigambo,+ 19  naye okweraliikirira+ okw’omu kiseera kino* n’obulimba bw’obugagga+ n’okwegomba+ ebintu ebirala byonna biyingira ne bizisa ekigambo ne kitabala. 20  Ate ezo ezaasigibwa ku ttaka eddungi, beebo abawulira ekigambo ne bakisiima ne babala ebibala ebikubisaamu emirundi 30, 60, ne 100.”+ 21  Era ne yeeyongera okubagamba nti: “Ettaala tevuunikibwako kibbo,* era teteekebwa wansi wa kitanda. Eteekebwa ku kikondo kyayo, si bwe kiri?+ 22  Kubanga tewali kintu kyonna kikwekeddwa ekitalikwekulwa; era tewali kintu kyonna kikisiddwa ekitalimanyika.+ 23  Buli alina amatu awulire.”+ 24  Era n’abagamba nti: “Musseeyo omwoyo ku ebyo bye muwulira.+ Ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, nammwe kye kirikozesebwa okubapimira, era n’ebirala biribongerwako. 25  Kubanga buli alina alyongerwako;+ naye oyo atalina, n’ekyo ky’alina kirimuggibwako.”+ 26  Awo n’ayongera n’abagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bulinga omuntu asiga ensigo mu ttaka. 27  Yeebaka ekiro, n’azuukuka ku makya, era ensigo zimera ne zikula, naye tamanya ngeri ekyo gye kibaawo. 28  Ettaka likuza mpolampola ebimera ne bibala; ebikoola bye bisooka, ne kuddako ebirimba ebito, ate oluvannyuma ne kuddako ebirimba ebirimu empeke ezikuze obulungi. 29  Naye amangu ddala ng’ebibala byengedde, abisala n’ekiwabyo kubanga ekiseera eky’okukungula kiba kituuse.” 30  Era ne yeeyongera okugamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda tuyinza kubugeraageranya ku ki, oba lugero ki lwe tuyinza okukozesa okubunnyonnyola? 31  Bulinga akasigo ka kalidaali. Mu kiseera we kasigibwa mu ttaka ke kaba kasingayo obutono mu nsigo zonna eziri ku nsi.+ 32  Naye bwe kamala okusigibwa, kamera ne kagejja okusinga ebimera eby’enva byonna era ne kassaako amatabi amanene, ebinyonyi eby’omu bbanga ne biba nga bisobola okubeera mu kisiikirize kyago.” 33  Yakozesa engero nnyingi+ ng’ezo okubabuulira ekigambo okusinziira nga bwe baali bayinza okutegeera. 34  Mu butuufu, teyayogeranga nabo nga takozesezza ngero; kyokka bo abayigirizwa be yabannyonnyolanga ebintu byonna nga bali bokka.+ 35  Awo bwe bwawungeera ku lunaku olwo, n’abagamba nti: “Tusomoke tugende emitala.”+ 36  Bwe baamala okusiibula ekibiina, ne bamutwala mu lyato, era waaliwo n’amaato amalala.+ 37  Awo omuyaga ogw’amaanyi ne gujja, amayengo ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okubbira.+ 38  Naye ye yali mu kifo eky’emabega mu lyato nga yeebase ku mutto. Ne bamuzuukusa nga bamugamba nti: “Omuyigiriza, tofaayo ng’olaba tunaatera okusaanawo?” 39  Awo n’ayimuka n’aboggolera omuyaga era n’agamba ennyanja nti: “Sirika! Teeka!”+ Omuyaga ne gukkakkana, ennyanja n’eteeka. 40  Awo n’abagamba nti: “Lwaki mutidde nnyo? Temunnaba kufuna kukkiriza kwonna?” 41  Naye ne batya nnyo, era ne beebuuzaganya nti: “Ono ddala y’ani, omuyaga n’ennyanja nabyo bimuwulira?”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “nteekateeka y’ebintu eno.” Laba Awanny.
Oba, “kibbo ekikozesebwa okupima ebintu.”