Olubereberye 25:1-34
25 Awo Ibulayimu n’awasa omukazi omulala ayitibwa Ketula.
2 N’amuzaalira Zimulaani, Yokusaani, Medani, Midiyaani,+ Isubaki, ne Suwa.+
3 Yokusaani n’azaala Seba ne Dedani.
Batabani ba Dedani be bano: Asulimu, Letusimu ne Lewumimu.
4 Batabani ba Midiyaani be bano: Efa, Eferi, Kanoki, Abida, ne Eruda.
Abo bonna be baana ba Ketula.
5 Oluvannyuma Ibulayimu yawa Isaaka ebintu byonna bye yalina,+
6 naye abaana Ibulayimu be yazaala mu bazaana be n’abawa ebirabo. Awo n’abasindika mu nsi ey’Ebuvanjuba ng’akyali mulamu, bave awaali mutabani we Isaaka.+
7 Ibulayimu yawangaala emyaka 175.
8 Awo Ibulayimu n’assa ogw’enkomerero, n’afa ng’akaddiye bulungi era nga mumativu, n’agoberera abantu be.*
9 Isaaka ne Isimayiri batabani be ne bamuziika mu mpuku y’e Makupeera eri mu kibanja kya Efulooni mutabani wa Zokali Omukiiti, ekiri mu maaso ga Mamule,+
10 ekibanja Ibulayimu kye yagula ku baana ba Keesi. Omwo Ibulayimu mwe yaziikibwa ne mukazi we Saala.+
11 Oluvannyuma lw’okufa kwa Ibulayimu Katonda yeeyongera okuwa mutabani we Isaaka emikisa,+ era Isaaka yali abeera kumpi n’e Beeri-lakayiroyi.+
12 Bino bye byafaayo bya Isimayiri+ mutabani wa Ibulayimu Agali+ Omumisiri omuzaana wa Saala gwe yazaalira Ibulayimu.
13 Gano ge mannya g’abaana ba Isimayiri ebika byabwe mwe byasibuka: omwana wa Isimayiri omubereberye yali ayitibwa Nebayoosi,+ n’addirirwa Kedali+ ne Adubeeri ne Mibusamu+
14 ne Misuma ne Duma ne Massa
15 ne Kadadi ne Tema ne Yetuli ne Nafisi ne Kedema.
16 Abo be baana ba Isimayiri era be bakulu b’ebika 12. Era amannya gaabwe gaatuumibwa ebifo bye baabeerangamu era n’ebifo mwe baasiisira.+
17 Isimayiri yawangaala emyaka 137. Oluvannyuma n’assa ogw’enkomerero, n’afa n’agoberera abantu be.*
18 Ne babeera okuva mu kitundu ky’e Kavira+ okumpi n’e Ssuuli+ ekiriraanye Misiri, okutuukira ddala e Bwasuli. Baatuula kumpi ne baganda baabwe bonna.+
19 Bino bye byafaayo bya Isaaka mutabani wa Ibulayimu.+
Ibulayimu yazaala Isaaka.
20 Isaaka yalina emyaka 40 we yawasiza Lebbeeka muwala wa Besweri+ Omwalameeya ow’e Padanalaamu, mwannyina wa Labbaani Omwalameeya.
21 Isaaka ne yeegayirira Yakuwa ku lwa mukazi we, kubanga yali mugumba; Yakuwa n’awulira okwegayirira kwe era Lebbeeka mukazi we n’aba olubuto.
22 Abaana abaali mu lubuto lwe ne batandika okulwanagana,+ n’agamba nti: “Bwe kiba nga bwe kiti bwe kiri, obulamu bungasa ki?” Awo ne yeebuuza ku Yakuwa.
23 Yakuwa n’amugamba nti: “Amawanga abiri gali mu lubuto lwo,+ era amawanga abiri ag’enjawulo galiva mu ggwe;+ eggwanga erimu lirisinga eddala amaanyi,+ era omukulu aliweereza omuto.”+
24 Awo ekiseera kye eky’okuzaala bwe kyatuuka, laba, mu lubuto lwe mwalimu balongo.
25 Omubereberye n’afuluma nga yenna mumyufu, ng’omubiri gwe gulinga ekyambalo eky’ebyoya;+ bwe batyo ne bamutuuma Esawu.*+
26 N’oluvannyuma muganda we n’afuluma ng’akutte ekisinziiro kya Esawu;+ bw’atyo n’atuumibwa Yakobo.*+ Lebbeeka we yabazaalira, Isaaka yalina emyaka 60.
27 Abalenzi bwe baagenda bakula, Esawu n’afuuka omuyizzi omukugu,+ omusajja ow’oku ttale, naye ye Yakobo yali musajja ataliiko kya kunenyezebwa, ng’abeera mu weema.+
28 Isaaka yali asinga kwagala Esawu kubanga yaleetanga omuyiggo n’alya, naye ye Lebbeeka yali asinga kwagala Yakobo.+
29 Lumu Yakobo yali afumba enva, Esawu n’akomawo okuva ku ttale ng’akooye nnyo.
30 Esawu n’agamba Yakobo nti: “Mpa ku nva ezo emmyufu! Yanguwa kubanga nkooye nnyo!” Kyebaava bamuyita Edomu.*+
31 Yakobo n’amugamba nti: “Sooka onguze omugabo gwo ogw’omwana omubereberye!”+
32 Esawu n’agamba nti: “Nzuuno mbulako katono okufa! Omugabo gw’omwana omubereberye gungasa ki?”
33 Yakobo n’agamba nti: “Sooka ondayirire!” Esawu n’alayirira Yakobo era n’amuguza omugabo gwe ogw’omwana omubereberye.+
34 Awo Yakobo n’awa Esawu emmere n’enva ez’empindi, n’alya n’anywa era oluvannyuma n’asituka n’agenda. Bw’atyo Esawu n’anyooma omugabo ogw’omwana omubereberye.
Obugambo Obuli Wansi
^ Kino kisoko ekitegeeza okufa.
^ Kino kisoko ekitegeeza okufa.
^ Litegeeza, “ow’Ebyoya Ebingi.”
^ Litegeeza, “Anyweza Ekisinziiro; Atwala Ekifo ky’Omulala.”
^ Litegeeza, “Kimyufu.”