Yobu 36:1-33
36 Eriku ne yeeyongera n’agamba nti:
2 “Ŋŋumiikirizaako katono nkunnyonnyole,Kubanga nkyalina eby’okwogera ku lwa Katonda.
3 Nja kwogera byonna bye mmanyi,Era nja kulangirira nti obutuukirivu bwa Mutonzi wange.+
4 Mazima ddala ebigambo byange si bya bulimba;Oyo eyatuukirira mu kumanya+ ali wano mu maaso go.
5 Mu butuufu, Katonda wa maanyi+ era teyeesamba muntu yenna;Alina okutegeera kungi.
6 Tajja kuwonyaawo bulamu bw’ababi,+Naye ababonaabona ajja kubalaga obwenkanya.+
7 Amaaso ge tagaggya ku batuukirivu;+Abatuuza ku ntebe ez’obwakabaka ne bakabaka,*+ era bagulumizibwa emirembe gyonna.
8 Naye bwe basibibwa empinguEra ne bakwatibwa mu miguwa egy’okubonyaabonyezebwa,
9 Abalaga kye bakoze,Ebibi bye bakoze olw’amalala gaabwe.
10 Aggula amatu gaabwe bawulire okuwabulwaEra abagamba balekere awo okwonoona.+
11 Bwe bamugondera ne bamuweereza,Bajja kuba bulungi ennaku zaabwe zonna,Era bajja kuba mu ssanyu emyaka gyabwe gyonna.+
12 Naye bwe batamugondera, bajja kuttibwa n’ekitala*+Era bafiire mu butamanya.
13 Abatatya Katonda* bajja kusiba ekiruyi.
Ne bw’abasiba tebamwegayirira abayambe.
14 Bafa bakyali bavubuka,+Obulamu bwabwe babumala* bali wamu ne bamalaaya abasajja ab’omu yeekaalu.+
15 Naye ababonaabona Katonda abanunula mu kubonaabona kwabwe;Aggula amatu gaabwe nga banyigirizibwa.
16 Akuggya mu buzibu+N’akutwala mu kifo ekigazi awatali kukugirwa,+Ng’emmere ewooma eri ku mmeeza yo kye kikubagizo gy’oli.+
17 Awo oliba mumativu ng’ababi basaliddwa omusango,+Omusango nga gusaliddwa ne wabaawo obwenkanya.
18 Naye weegendereze obusungu buleme kukuleetera ttima,*+Era tokkiriza nguzi nnene kukuwabya.
19 OkuwanjagaOba okufuba kwo kunaakuwonya ennaku?+
20 Teweegomba budde bwa kiro,Abantu we baviira mu bifo byabwe.
21 Weegendereze oleme kukola kibi,N’olondawo ekyo mu kifo ky’okubonaabona.+
22 Laba! Katonda agulumiziddwa mu buyinza bwe;Muyigiriza ki alinga ye?
23 Ani aluŋŋamizza ekkubo lye*+Oba amugambye nti, ‘Ky’okoze kikyamu’?+
24 Jjukira okugulumiza emirimu gye,+Abantu gye bayimbyeko mu nnyimba.+
25 Abantu bonna bagirabye,Abantu bagirengerera wala.
26 Katonda mukulu okusinga bwe tumanyi;+Emyaka gye tegiyinza kumanyika.*+
27 Atwala waggulu amatondo g’amazzi,+Ne gafuuka enkuba n’olufu;
28 Ebire ne bigiyiwa,+N’etonnyera abantu ku nsi.
29 Waliwo ayinza okutegeera engeri ebire gye byebamba mu bbanga,Oba okubwatuka okuva mu weema ye?*+
30 Laba bw’asaasaanya okumyansa*+ kwe ku bireN’abikka obuziba* bw’ennyanja.
31 Ebyo by’akozesa okubeesaawo abantu;Abawa emmere mu bungi.+
32 Akwata okumyansa kw’eggulu n’engalo ze,N’akwolekeza ekyo kye kugenda okukuba.+
33 Okubwatuka kwe okw’eggulu kumwogerako,N’ebisibo bitutegeeza oyo ajja.*
Obugambo Obuli Wansi
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “atuuza bakabaka ku ntebe ez’obwakabaka.”
^ Oba, “n’eky’okulwanyisa.”
^ Oba, “Bakyewaggula.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “bukoma.”
^ Oba, “kukuleetera okukuba mu ngalo olw’ettima.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “avumiridde ekkubo lye; amunenyezza olw’ekkubo lye.”
^ Oba, “teginoonyezeka.”
^ Obut., “nsiisira ye.”
^ Obut., “ekitangaala.”
^ Obut., “emirandira.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “ekijja.”