Yokaana 19:1-42

  • Yesu akubibwa era asekererwa (1-7)

  • Piraato addamu okubuuza Yesu (8-16a)

  • Yesu akomererwa e Ggologoosa (16b-24)

  • Yesu afuna anaalabirira nnyina (25-27)

  • Okufa kwa Yesu (28-37)

  • Okuziikibwa kwa Yesu (38-42)

19  Awo Piraato n’alagira ne batwala Yesu ne bamukuba.+  Abasirikale ne bakola engule ey’amaggwa ne bagimuteeka ku mutwe, era ne bamwambaza olugoye olwa kakobe,+  ne bajja w’ali nga bagamba nti: “Emirembe gibe naawe Kabaka w’Abayudaaya!” Era ne bamukuba empi ku matama.+  Awo Piraato n’afuluma nate n’abagamba nti: “Laba! Mmuleese gye muli musobole okukitegeera nti siraba musango gw’azzizza.”+  Awo Yesu n’afuluma ng’ayambadde engule ey’amaggwa n’olugoye olwa kakobe. Piraato n’abagamba nti: “Laba! Ono ye musajja!”  Naye bakabona abakulu n’abakuumi bwe baamulaba, ne baleekaana nti: “Mukomerere ku muti! Mukomerere ku muti!”*+ Piraato n’abagamba nti: “Mmwe mumutwale mumutte,* nze siraba musango gw’azzizza.”+  Abayudaaya ne baddamu nti: “Tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo agwanidde okufa,+ kubanga yeeyita mwana wa Katonda.”+  Piraato bwe yawulira bye baayogera ne yeeyongera okutya,  era n’addayo munda, n’abuuza Yesu nti: “Ewammwe wa?” Naye Yesu n’atamuddamu.+ 10  Piraato n’amugamba nti: “Ogaanye okunziramu? Tomanyi nti nnina obuyinza okukuta oba okukutta?”* 11  Yesu n’amuddamu nti: “Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze singa tebwakuweebwa kuva waggulu. Eno ye nsonga lwaki omusajja ampaddeyo gy’oli y’alina ekibi ekisinga obunene.” 12  Awo Piraato kyeyava yeeyongera okunoonya engeri ey’okumuta, naye Abayudaaya ne boogerera waggulu nti: “Bw’ota omusajja oyo, ojja kuba toli mukwano gwa Kayisaali. Buli muntu eyeefuula kabaka aba awakanya Kayisaali.”+ 13  Piraato bwe yawulira ebigambo ebyo, n’afulumya Yesu, n’atuula ku ntebe okusalirwa emisango mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye nga mu Lwebbulaniya kiyitibwa Gabbasa. 14  Lwali lunaku lwa Kuteekateeka*+ Okuyitako, era zaali ssaawa nga mukaaga.* N’agamba Abayudaaya nti: “Laba! Kabaka wammwe!” 15  Naye ne boogerera waggulu nti: “Mutwale! Mutwale! Mukomerere ku muti!” Piraato n’abagamba nti: “Nzite kabaka wammwe?” Bakabona abakulu ne baddamu nti: “Tetulina kabaka mulala wabula Kayisaali.” 16  N’amuwaayo gye bali akomererwe ku muti.+ Awo ne batwala Yesu. 17  Ne yeetikka omuti ogw’okubonaabona* n’agenda mu kifo ekiyitibwa eky’Ekiwanga,+ mu Lwebbulaniya ekiyitibwa Ggologoosa.+ 18  Ne bamukomerera eyo ku muti,+ n’abasajja abalala babiri, omu ku luuyi olumu n’omulala ku luuyi olulala, nga Yesu ali wakati.+ 19  Era Piraato n’awandiika ebigambo ku kipande n’akiteeka ku muti ogw’okubonaabona.* Byali bigamba nti: “Yesu Omunnazaaleesi Kabaka w’Abayudaaya.”+ 20  Abayudaaya bangi baasoma ebigambo ebyo kubanga ekifo Yesu we yakomererwa kyali kumpi n’ekibuga, era nga byali biwandiikiddwa mu Lwebbulaniya, mu Lulattini, ne mu Luyonaani. 21  Naye bakabona abakulu ab’Abayudaaya ne bagamba Piraato nti: “Towandiika nti ‘Kabaka w’Abayudaaya,’ wabula wandiika nti yagamba nti, ‘Nze Kabaka w’Abayudaaya.’” 22  Piraato n’addamu nti: “Kye mpandiise kye ky’enkomeredde.” 23  Abasirikale bwe baamala okukomerera Yesu ku muti, ne batwala ebyambalo bye eby’okungulu ne babigabanyaamu emirundi ena, buli musirikale n’atwalako; n’ekyambalo kye eky’omunda nakyo ne bakitwala. Naye kyo ekyambalo eky’omunda kyali tekyatungibwa wabula nga kyalukibwa bulukibwa okuva wansi okutuuka waggulu. 24  Awo ne bagambagana nti: “Tetukiyuzaamu, naye tukube akalulu tulabe anaakitwala.”+ Kino kyali kityo ekyawandiikibwa kisobole okutuukirira ekigamba nti: “Baagabana ebyambalo byange, era engoye zange baazikubira akalulu.”+ Ebyo byennyini abasirikale bye baakola. 25  Awo okumpi n’omuti ogw’okubonaabona* Yesu kwe yali waali wayimiriddewo maama we+ ne muganda wa maama we, Maliyamu mukyala wa Kuloopa, ne Maliyamu Magudaleena.+ 26  Yesu bwe yalaba maama we n’omuyigirizwa gwe yali ayagala ennyo+ nga bayimiridde awo, n’agamba maama we nti: “Laba, mutabani wo!” 27  Ate n’agamba omuyigirizwa nti: “Laba, maama wo!” Okuva ku olwo omuyigirizwa oyo n’amutwala ewuwe. 28  Yesu bwe yamanya nti ebintu byonna byali bituukiriziddwa, n’agamba nti: “ennyonta ennuma,” okusobola okutuukiriza ekyawandiikibwa.+ 29  Waaliwo ekibya ekyali kijjudde envinnyo enkaatuufu. Awo ne bateeka ekisuumwa ekinnyikidde envinnyo ku kati ka ezobu* ne bakiteeka ku mumwa gwe.+ 30  Yesu bwe yamala okukomba ku nvinnyo enkaatuufu n’agamba nti: “Kiwedde!”+ n’akutamya omutwe gwe, n’afa.*+ 31  Olw’okuba lwali lunaku lwa Kuteekateeka,+ Abayudaaya baasaba Piraato nti amagulu g’abasajja gamenyebwe, era n’emirambo giwanulweyo gireme kusigala ku miti+ egy’okubonaabona ku lunaku lwa Ssabbiiti, (kubanga olunaku lwa Ssabbiiti eyo lwali lukulu).+ 32  Awo abasirikale ne bajja, ne bamenya amagulu g’abasajja abaali bakomereddwa ne Yesu. 33  Naye bwe baatuuka ku Yesu ne balaba nga yafudde dda, tebaamenya magulu ge. 34  Naye omu ku basirikale abo n’amufumita effumu mu mbiriizi,+ era amangu ago ne muvaamu omusaayi n’amazzi. 35  Oyo eyakiraba ye yakiwaako obujulirwa buno; obujulirwa bwe yawa butuufu era amanyi nti by’ayogera bya mazima nammwe musobole okukkiriza.+ 36  Mu butuufu, ebyo byabaawo ekyawandiikibwa kituukirire ekigamba nti: “Tewali ggumba lye lirimenyebwa.”*+ 37  Ate era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti: “Balitunuulira oyo gwe baafumita.”+ 38  Oluvannyuma lw’ebyo, Yusufu ow’e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye nga wa mu kyama olw’okuba yali atya Abayudaaya,+ yasaba Piraato amukkirize okutwala omulambo gwa Yesu, era Piraato n’amukkiriza. Awo n’ajja n’agutwala.+ 39  Nikodemu,+ olumu eyagenda eri Yesu ekiro, naye n’ajja ng’alina eby’akaloosa ebitabule, ebya miira ne alowe ebyali biweza laatiri nga 100.*+ 40  Awo ne batwala omulambo gwa Yesu ne baguzinga mu ngoye eza kitaani wamu n’eby’akaloosa ebyo,+ ng’empisa y’Abayudaaya ey’okuziika bwe yali. 41  Era mu kifo we battira Yesu* waaliwo ennimiro era nga mu nnimiro eyo mulimu entaana* empya+ eyali teteekebwangamu muntu yenna. 42  Olw’okuba lwali lunaku lw’Abayudaaya olw’Okuteekateeka+ era nga n’entaana eyo eri kumpi, omwo mwe baateeka Yesu.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Muttire ku muti! Muttire ku muti!”
Oba, “mumuttire ku muti.”
Oba, “okukuttira ku muti?”
Kwe kugamba, ssaawa nga 6 ez’omu ttuntu.
Okuteekateeka kuno kwali kwa Mbaga ey’ennaku omusanvu, ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse.
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Obut., “n’ata omwoyo gwe.”
Oba, “liribetentebwa.”
Kwe kugamba, laatiri y’Abaruumi. Laba Ebyong. B14.
Oba, “we baamuttira ku muti.”
Oba, “entaana ey’ekijjukizo.”