Yokaana 2:1-25

  • Embaga e Kaana; amazzi gafuulibwa omwenge (1-12)

  • Yesu alongoosa yeekaalu (13-22)

  • Yesu amanyi ekiri mu muntu (23-25)

2  Ku lunaku olw’okusatu waaliwo ekijjulo ky’embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya, era maama wa Yesu yaliyo.  Yesu n’abayigirizwa be nabo baali bayitiddwa ku kijjulo ekyo.  Omwenge bwe gwakendeera, maama wa Yesu n’amugamba nti: “Tebalina mwenge.”  Naye Yesu n’amugamba nti: “Ekyo nze naawe kitukwatirako wa? Ekiseera kyange tekinnatuuka.”  Maama we n’agamba abo abaali baweereza nti: “Kyonna ky’abagamba okukola mukikole.”  Waaliwo amatogero mukaaga ag’amayinja, agaali gateereddwawo nga bwe kyali kyetaagisa okusinziira ku mateeka g’Abayudaaya agakwata ku kutukuzibwa;+ buli limu lyali ligyaamu ebipimo* bibiri oba bisatu.  Yesu n’abagamba nti: “Amatogero mugajjuze amazzi.” Awo ne bagajjuza okutuuka ku migo.  Awo n’abagamba nti: “Museneeko mutwalire kalabaalaba w’omukolo.” Ne bamutwalira.  Kalabaalaba bwe yalega ku mazzi agaali gafuuse omwenge, nga tamanyi gye guvudde, (wadde nga bo abaweereza abaali basenye amazzi baali bamanyi), n’ayita omugole omusajja 10  n’amugamba nti: “Buli muntu asooka kugabula mwenge mulungi, era abantu bwe bamala okutamiira n’alyoka aleeta ogutali mulungi. Naye ggwe omwenge omulungi obadde okyaguterese okutuusa kati.” 11  Kino Yesu yakikolera Kaana eky’e Ggaliraaya; kye kyamagero ekyasooka mu ebyo bye yakola, era yayolesa ekitiibwa kye,+ abayigirizwa be ne bamukkiriza. 12  Oluvannyuma lw’ebyo, ye ne maama we ne baganda be+ era n’abayigirizwa be baagenda e Kaperunawumu,+ naye tebaamalayo nnaku nnyingi. 13  Embaga y’Abayudaaya ey’Okuyitako+ bwe yali eneetera okutuuka, Yesu n’agenda e Yerusaalemi. 14  N’asanga mu yeekaalu abaali batunda ente, endiga, enjiibwa,+ era n’abaali bavungisa ssente nga bali mu bifo byabwe batudde. 15  Awo n’akwata emiguwa n’agikolamu embooko, n’agobamu bonna abaalina endiga n’ente, n’ayiwa ne ssente z’abo abaali bavungisa ssente era n’avuunika emmeeza zaabwe.+ 16  N’agamba abo abaali batunda enjiibwa nti: “Ebintu bino mubiggye wano! Ennyumba ya Kitange mulekere awo okugifuula akatale!”*+ 17  Abayigirizwa be ne bajjukira nti kyawandiikibwa nti: “Okwagala ennyo ennyumba yo kulimmalawo.”+ 18  Awo Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Kabonero ki k’oyinza okutulaga+ okukakasa nti olina obuyinza okukola ebintu bino?” 19  Yesu n’abaddamu nti: “Mumenye yeekaalu eno, nja kugizimbira mu nnaku ssatu.”+ 20  Abayudaaya ne bagamba nti: “Yeekaalu eno yazimbibwa mu bbanga lya myaka 46, ggwe ogizimbire mu nnaku ssatu?” 21  Kyokka yeekaalu gye yali ayogerako gwe mubiri gwe.+ 22  Naye bwe yamala okuzuukira, abayigirizwa be ne bajjukira nti ekyo yateranga okukyogera,+ ne bakkiriza ekyawandiikibwa n’ekyo Yesu kye yayogera. 23  Kyokka, bwe yali e Yerusaalemi ku mbaga ey’Okuyitako, abantu bangi ne bakkiririza mu linnya lye, bwe baalaba ebyamagero bye yali akola. 24  Naye Yesu teyabeewa olw’okuba bonna yali abamanyi, 25  era olw’okuba yali teyeetaaga muntu yenna kumubuulira bikwata ku muntu, kubanga yali amanyi ekiri mu mutima gw’omuntu.+

Obugambo Obuli Wansi

Kirabika ekipimo ekyogerwako wano ye basi eyali egyaamu lita 22. Laba Ebyong. B14.
Oba, “ekifo ekikolerwamu bizineesi.”