Zabbuli 114:1-8

  • Abayisirayiri banunulibwa e Misiri

    • Ennyanja yadduka (5)

    • Ensozi zaabuukabuuka ng’obuliga obuto (6)

    • Olwazi olugumu lwafuuka ensulo z’amazzi (8)

114  Isirayiri bwe yava e Misiri,+Ennyumba ya Yakobo bwe yava mu bantu aboogera olulimi olulala,   Yuda yafuuka kifo kye ekitukuvu,Isirayiri yafuuka matwale ge.+   Ennyanja bwe yakiraba n’edduka;+Omugga Yoludaani gwaddayo emabega.+   Ensozi zaabuukabuuka ng’endiga ennume,+Obusozi bwabuukabuuka ng’obuliga obuto.   Kiki ekyakuddusa, ggwe ennyanja?+ Lwaki waddayo emabega, ggwe Yoludaani?+   Lwaki mwabuukabuuka ng’endiga ennume, mmwe ensozi? Lwaki mwabuukabuuka ng’obuliga obuto, mmwe obusozi?   Kankana ggwe ensi olwa Mukama,Olwa Katonda wa Yakobo,+   Oyo afuula olwazi ekidiba ky’amazzi,Afuula olwazi olugumu ensulo z’amazzi.+

Obugambo Obuli Wansi