Zabbuli 148:1-14
148 Mutendereze Ya!*
Mutendereze Yakuwa mmwe ababeera mu ggulu;+Mumutendereze mmwe abali eyo waggulu.
2 Mumutendereze mmwe bamalayika be bonna.+
Mumutendereze mmwe eggye lye lyonna.+
3 Mumutendereze mmwe enjuba n’omwezi.
Mumutendereze mmwe mmwenna emmunyeenye ezaaka.+
4 Mutendereze ggwe eggulu erisingayo okuba waggulu,*Naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.
5 Ka bitendereze erinnya lya Yakuwa,Kubanga yalagira, ne bitondebwa.+
6 Abikuumira we yabiteeka okubeera emirembe n’emirembe;+Yassaawo etteeka eritalivaawo.+
7 Mutendereze Yakuwa mmwe abali ku nsi,Mmwe ensolo ennene ez’omu mazzi nammwe amazzi gonna ag’omu buziba,
8 Mmwe okumyansa n’amayinja g’omuzira, omuzira n’ebire ebikutte,Mmwe embuyaga, ezituukiriza ekigambo kye,+
9 Mmwe ensozi nammwe obusozi mmwenna,+Mmwe emiti egy’ebibala nammwe emiti gy’entolokyo mmwenna,+
10 Mmwe ensolo ez’omu nsiko+ nammwe ensolo ez’awaka mmwenna,Mmwe ebyewalula n’ebinyonyi,
11 Mmwe bakabaka b’ensi nammwe amawanga mmwenna,Mmwe abaami nammwe mmwenna abalamuzi b’omu nsi,+
12 Mmwe abalenzi n’abawala,*Abasajja abakadde n’abato mmwenna.*
13 Ka batendereze erinnya lya Yakuwa,Kubanga erinnya lye lisukkulumye ku malala gonna.+
Ekitiibwa kye kisukkiridde ensi n’eggulu.+
14 Ajja kwongera abantu be amaanyi,*Ajja kwongera ettendo ly’abeesigwa gy’ali bonna,Abaana ba Isirayiri, abantu abamuli okumpi.
Mutendereze Ya!*
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
^ Obut., “eggulu ly’eggulu.”
^ Obut., “n’embeerera.”
^ Oba, “Abakadde n’abato mmwenna.”
^ Obut., “Ajja kugulumiza ejjembe ly’abantu be.”
^ Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.