Okweyisa mu Ngeri Esanyusa Katonda
Essuula ey’Ekkumi n’Ebbiri
Okweyisa mu Ngeri Esanyusa Katonda
Osobola otya okubeera mukwano gwa Katonda?
Okubuusabuusa Setaani kwe yaleetawo kukukwatako kutya?
Nneeyisa ya ngeri ki etasanyusa Yakuwa?
Osobola otya okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda?
1, 2. Waayo ebyokulabirako eby’abantu Yakuwa be yatwala nga mikwano gye egy’oku lusegere.
MUNTU wa ngeri ki gwe wandironze okubeera mukwano gwo? Awatali kubuusabuusa wandironze omuntu bwe mufaananya endowooza, n’emitindo gy’empisa. Ate era wandyagadde okulonda omuntu alina engeri ennungi, gamba ng’obwesigwa, n’ekisa.
2 Mu byafaayo byonna, Katonda abadde alonda abantu abamu okubeera mikwano gye egy’oku lusegere. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yayita Ibulayimu mukwano gwe. (Isaaya 41:8; Yakobo 2:23) Katonda yayogera ku Dawudi ‘ng’omuntu omutima Gwe gwe gwasiima,’ olw’okuba yalina engeri z’ayagala. (Ebikolwa 13:22) Ate era Yakuwa yatwala nnabbi Danyeri ‘ng’omwagalwa ennyo.’—Danyeri 9:23.
3. Lwaki Yakuwa alonda abantu abamu okubeera mikwano gye?
3 Lwaki Yakuwa yatwala Ibulayimu, Dawudi ne Danyeri okuba mikwano gye? Bw’ati bwe yagamba Ibulayimu: “Owulidde eddoboozi lyange.” (Olubereberye 22:18) N’olwekyo, abo abakola Yakuwa by’ayagala, abafuula mikwano gye. Yagamba bw’ati Abaisiraeri: “Muwulire eddoboozi lyange, nange naabanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange.” (Yeremiya 7:23) Bw’ogondera Yakuwa, naawe osobola okubeera mukwano gwe!
YAKUWA AZZAAMU MIKWANO GYE AMAANYI
4, 5. Yakuwa yeeraga atya bw’ali ow’amaanyi ku lw’abantu be?
4 Lowooza ku miganyulo egiri mu kubeera mukwano gwa Katonda. Baibuli egamba nti Yakuwa akozesa buli kakisa konna “okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Ebyomumirembe 16:9) Yakuwa asobola atya okweraga nga bw’ali ow’amaanyi ku lulwo? Engeri emu gy’akikolamu eyogerwako mu Zabbuli 32:8 awagamba nti: ‘Nze Yakuwa nnaakuyigirizanga era nnaakulaganga ekkubo ly’onooyitangamu, nnaakutesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.’
5 Ng’ebigambo ebyo bikiraga bulungi nnyo nti Yakuwa akufaako! Ajja kukuwa obulagirizi obwetaagisa era akuyambe ng’ofuba okubussa mu nkola. Katonda ayagala okukuyamba okuyita mu bigezo by’oyolekagana nabyo. (Zabbuli 55:22) N’olwekyo, bw’oweereza Yakuwa n’omutima ogutuukiridde, osobola okuba n’obwesige ng’obw’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Mukama mmutadde mu maaso gange bulijjo. Kubanga ye ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.” (Zabbuli 16:8; 63:8) Yee, Yakuwa asobola okukuyamba okweyisa mu ngeri emusanyusa. Kyokka, nga bw’omanyi, waliwo omulabe wa Katonda ayagala okukulemesa okukola ekyo.
OKUBUUSABUUSA SETAANI KWE YALEETAWO
6. Setaani yabuusabuusa ki ku bantu?
6 Essuula 11 ey’akatabo kano yannyonnyola engeri Setaani Omulyolyomi gye yaleetawo okubuusabuusa obanga Katonda y’agwanidde okufuga. Setaani yayogera eby’obulimba ku Katonda ng’alinga alaga nti Katonda teyali mwenkanya bw’atakkiriza Adamu ne Kaawa okwesalirawo ekirungi n’ekibi. Oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okwonoona, era abaana baabwe ne beeyongera okwala mu nsi, Setaani yabuusabuusa obanga abantu baweereza Katonda mu bwesimbu. Yagamba: “Abantu tebaweereza Katonda olw’okuba bamwagala. Bwe mpeebwa akakisa, bonna nsobola okubaggya ku Katonda.” Bye tusoma ku musajja ayitibwa Yobu, biraga nti eyo ye ndowooza
yennyini Setaani gye yalina. Yobu yali ani era yazingirwamu atya mu kubuusabuusa Setaani kwe yaleetawo?7, 8. (a) Mu ngeri ki Yobu gye yali ow’enjawulo ku bantu bonna abaaliwo mu kiseera kye? (b) Setaani yabuusabuusa ki ku bikwata ku buweereza bwa Yobu?
7 Yobu yaliwo emyaka nga 3,600 emabega. Yali musajja mulungi kubanga Yakuwa yamwogerako bw’ati: “Tewali amufaanana mu nsi, omusajja eyatuukirira era ow’amazima, atya Katonda ne yeewala obubi.” (Yobu 1:8) Yobu yali asanyusa Katonda.
8 Setaani yabuusabuusa obanga Yobu aweereza Katonda mu bwesimbu. Bw’ati bwe yagamba Yakuwa: “Tomukomedde lukomera okumwetooloola ye ne nnyumba ye ne byonna by’alina, enjuyi zonna? Owadde omukisa omulimu gw’engalo ze, n’ebintu bye byaze mu nsi. Naye kaakano golola omukono gwo okome ku byonna by’alina, kale alikwegaanira mu maaso go.”—Yobu 1:10, 11.
9. Yakuwa yakolawo ki ku kubuusabuusa Setaani kwe yaleetawo, era lwaki?
9 Bwe kityo, Setaani yagamba nti Yobu yali aweereza Katonda olw’ebintu Katonda bye yali amuwa. Ate era Omulyolyomi yagamba nti Yobu bwe yandigezeseddwa, yandyegaanyi Katonda. Yakuwa yakolawo ki ku kubuusabuusa okwo Setaani kwe yaleetawo? Okuva Setaani bwe yali abuusabuusa ekiruubirirwa Yobu kye yalina, Yakuwa yamukkiriza okugezesa Yobu. Ekyo kyandyeyolese bulungi obanga Yobu yali ayagala Katonda oba nedda.
YOBU AGEZESEBWA
10. Bigezo ki Yobu bye yayolekagana nabyo era yeeyisa atya?
10 Mangu ddala, Setaani yagezesa Yobu mu ngeri eziwerako. Okusooka, ezimu ku nsolo za Yobu zabbibwa ate endala ne zittibwa. Abaddu be abasinga obungi battibwa. Kino kyamuleetera obuzibu mu by’enfuna. Yobu yafuna ekikangabwa ekirala abaana be ekkumi bwe baafiira mu mbuyaga ez’amaanyi. Wadde nga yayolekagana n’ebizibu bino eby’amaanyi, “Yobu teyayonoona so teyavuma Katonda busirusiru.”—Yobu 1:22.
11. (a) Kiki ekirala Setaani kye yalowooleza Yobu, era Yakuwa yakolawo ki? (b) Yobu yakola atya ng’afunye obulwadde obw’amaanyi?
11 Setaani teyakoma awo. Ateekwa okuba nga yalowooza nti wadde nga Yobu yali asobola okugumira ekizibu ky’okufiirwa ebintu bye, abaddu be, n’abaana be, yandivudde ku Katonda bwe yandifunye obulwadde. Yakuwa yaleka Setaani okuleetera Yobu obulwadde obw’amaanyi ennyo. Naye, na kino tekyaleetera Yobu kulekera awo kukkiririza mu Katonda. Mu kifo ky’ekyo, yagamba: “Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange.”—12. Enneeyisa ya Yobu yakakasa etya nti ebyo Omulyolyomi bye yayogera byali bya bulimba?
12 Yobu teyamanya nti Setaani ye yali amuleetera ebizibu. Olw’obutamanya kubuusabuusa Omulyolyomi kwe yali aleeseewo, Yobu yalowooza nti Katonda ye yali ensibuko y’ebizibu bye. (Yobu 6:4; 16:11-14) Kyokka, era yasigala ng’anyweredde ku Yakuwa. Ebyo Setaani bye yayogera nti Yobu yali aweereza Katonda olw’okwenoonyeza ebibye ku bubwe byakakasibwa nti bya bulimba olw’okuba Yobu yasigala nga mwesigwa.
13. Birungi ki ebyava mu bwesigwa bwa Yobu?
13 Obwesigwa bwa Yobu bwasobozesa Yakuwa okufuna eky’okuddamu eri Setaani. Mazima ddala Yobu yali mukwano gwa Yakuwa, era Yakuwa yamuwa empeera olw’obwesigwa bwe.—Yobu 42:12-17.
ENGERI GY’OZINGIRWAMU
14, 15. Lwaki kiyinza okugambibwa nti ebyo Setaani bye yayogera ku Yobu byali bizingiramu abantu bonna?
14 Okubuusabuusa Setaani kwe yaleetawo ku bikwata ku kuba omwesigwa eri Katonda kwali tekukwata ku Yobu yekka. Naawe ozingirwamu. Kino kiragibwa bulungi mu Engero 27:11, Yakuwa w’agambira nti: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma.” Ebigambo bino ebyawandiikibwa ebikumi n’ebikumi by’emyaka nga Yobu amaze okufa, biraga nti Setaani yali akyasoomooza Katonda era ng’akyayogera eby’obulimba ku baweereza Be. Bwe tweyisa mu ngeri esanyusa Yakuwa, tuba tulaga nti Setaani mulimba, era mu ngeri eyo tusanyusa omutima gwa Katonda. Ggwe ekyo okiraba otya? Tekyandibadde kirungi nnyo naawe okulaga nti Omulyolyomi mulimba, ne bwe kiba nti kikwetaagisa okubaako enkyukakyuka z’okola mu bulamu bwo?
15 Weetegereze nti Setaani yagamba: ‘Byonna omuntu by’alina alibiwaayo olw’obulamu bwe.’ (Yobu 2:4) Mu kugamba nti “omuntu,” Setaani yakyoleka bulungi nti yali tayogera ku Yobu yekka, wabula ku bantu bonna. Ensonga eyo nkulu nnyo. Setaani agamba nti toweereza Katonda mu bwesimbu. Omulyolyomi ayagala okulaba nti ojeemera Katonda, era ng’ova mu kkubo ery’obutuukirivu singa oba oyolekaganye n’ebizibu. Setaani ayinza atya okugezaako okutuukiriza kino?
16. (a) Ngeri ki Setaani z’akozesa ng’agezaako okuggya abantu ku Katonda? (b) Omulyolyomi ayinza atya okweyambisa engeri zino okukukwasa?
16 Nga bwe kyayogerwa mu Ssuula 10, Setaani akozesa engeri nnyingi okugezaako okuggya abantu ku Katonda. Oluusi abalumba “ng’empologoma ewuluguma ng’anoonya gw’anaalya.” (1 Peetero 5:8) Obulumbaganyi bwa Setaani buyinza okweyoleka nga mikwano gyo, ab’eŋŋanda zo, oba abantu abalala bagezaako okukuziyiza okuyiga Baibuli n’okussa mu nkola by’oyiga. * (Yokaana 15:19, 20) Ku luuyi olulala, Setaani ‘bulijjo yeefaananya nga malayika ow’ekitangaala.’ (2 Abakkolinso 11:14) Omulyolyomi ayinza okukozesa engeri enneekusifu ng’agezaako okukulemesa okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda. Ate era ayinza okukuleetera okuggwaamu amaanyi, oboolyawo n’okwewulira nti tosobola kusanyusa Katonda. (Engero 24:10) Setaani k’abe nga yeeyisa “ng’empologoma ewuluguma,” oba nga ‘malayika ow’ekitangaala,’ akyanyweredde ku bye yayogera: Agamba nti bw’oyolekagana n’okugezesebwa oba okukemebwa, ojja kulekera awo okuweereza Katonda. Osobola otya okulaga nti Setaani bye yayogera bya bulimba era n’okakasa nti oli mwesigwa eri Katonda nga Yobu?
OKUGONDERA EBIRAGIRO BYA YAKUWA
17. Nsonga ki enkulu etuleetera okugondera ebiragiro bya Yakuwa?
17 Osobola okulaga nti ebyo Setaani bye yayogera bya bulimba nga weeyisa mu ngeri esanyusa Katonda. Kino kizingiramu ki? Baibuli eddamu bw’eti: “Onooyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna.” (Ekyamateeka 6:5) Okwagala kw’olina eri Katonda bwe kunaagenda kweyongera, ojja kwagala nnyo okukola by’akwetaagisa. Omutume Yokaana yawandiika bw’ati: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda, ffe okukwatanga ebiragiro bye.” Bw’oba oyagala Yakuwa n’omutima gwo gwonna, ojja kukisanga nti “ebiragiro bye tebizitowa.”—1 Yokaana 5:3.
18, 19. (a) Ebimu ku biragiro bya Yakuwa bye biruwa? (Laba akasanduuko akali ku lupapula 122.) (b) Tumanya tutya nti Katonda tatulagira kukola bintu bye tutasobola kutuukiriza?
18 Ebiragiro bya Yakuwa bye biruwa? Ebimu bikwata ku mpisa ze tulina okwewala. Ng’ekyokulabirako, weetegereze akasanduuko akali ku lupapula 122, akalina omutwe “Weewale Ebintu Yakuwa by’Akyawa.” Mu kasanduuko ako ojja kulaba ebintu eby’enjawulo Baibuli by’evumirira. Mu kusooka, ebimu ku bintu ebiragiddwa biyinza okukulabikira ng’ebitali bibi ennyo. Naye bw’onoofumiitiriza ku byawandiikibwa ebijuliziddwa, ojja kulaba nti kiba kya magezi nnyo okugoberera amateeka ga Yakuwa. Kiyinza obutakubeerera kyangu n’akamu okukola enkyukakyuka mu nneeyisa yo. Kyokka, okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda kireeta obumativu bwa maanyi n’essanyu ery’ensusso. (Isaaya 48:17, 18) Ate era, osobola okukikola. Ekyo tukimanya tutya?
19 Yakuwa tasobola kutugamba kukola bintu bye tutasobola kutuukiriza. (Ekyamateeka 30:11-14) Amanyi bulungi nnyo obusobozi bwaffe n’ekkomo lyaffe okutusinga. (Zabbuli ) Ate era Yakuwa asobola okutuwa amaanyi ne tusobola okutuukiriza by’ayagala. Omutume Pawulo yawandiika: “Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu, naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n’okukemebwa era anassangawo n’obuddukiro, mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.” ( 103:141 Abakkolinso 10:13) Okusobola okukuyamba okugumiikiriza, Yakuwa asobola okukuwa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo.’ (2 Abakkolinso 4:7) Oluvannyuma lw’okugumira ebigezo bingi, Pawulo yagamba: “Nnyinzizza byonna [olw’]oyo ampa amaanyi.”—Abafiripi 4:13.
OKUKULAAKULANYA ENGERI EZISANYUSA KATONDA
20. Ngeri ki ezisanyusa Katonda z’osaanidde okukulaakulanya, era lwaki nkulu?
20 Kya lwatu, okusanyusa Yakuwa tekikoma ku kwewala bwewazi bintu by’akyawa, naye era kitwaliramu n’okwagala by’ayagala. (Abaruumi 12:9) Tosikirizibwa kukola mikwano n’abo bwe mufaananya endowooza, n’emitindo gy’empisa? Yakuwa naye bw’atyo bw’ali. N’olwekyo, yiga okwagala ebintu Yakuwa by’ayagala. Ebimu ku bino byogerwako mu Zabbuli 15:1-5, we tusoma ku abo Katonda b’atwala nga mikwano gye. Mikwano gya Yakuwa booleka ekyo Baibuli ky’eyita “ebibala eby’[o]mwoyo.” Ebibala bino bizingiramu engeri nga “[okwagala], okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza.”—Abaggalatiya 5:22, 23.
21. Kiki ekinaakuyamba okukulaakulanya engeri ezisanyusa Katonda?
21 Okwesomesa Baibuli obutayosa kijja kukuyamba okukulaakulanya engeri ezisanyusa Katonda. Era okuyiga Katonda by’ayagala kijja kukuyamba okutuukanya endowooza yo n’eyiye. (Isaaya 30:20, 21) Gy’onookoma okukulaakulanya okwagala kw’olina eri Yakuwa, gy’ojja okukoma okweyisa mu ngeri emusanyusa.
22. Kiki ky’onoofuna bw’oneeyisa mu ngeri esanyusa Katonda?
22 Okufuba kwetaagisa okusobola okweyisa mu ngeri esanyusa Yakuwa. Baibuli egeraageranya okukyusa obulamu bwo ku kweyambulako omuntu ow’edda n’oyambala omuggya. (Abakkolosaayi 3:9, 10) Ng’ayogera ku biragiro bya Yakuwa, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Mu kubyekuuma mulimu empeera ennene.” (Zabbuli 19:11) Ojja kufuna emikisa mingi mu kweyisa mu ngeri esanyusa Katonda. Ate era, mu kukola bw’otyo, ojja kuba olaga nti Setaani mulimba era osanyuse omutima gwa Yakuwa.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 16 Kino tekitegeeza nti abantu abakuziyiza Setaani y’aba abakozesa butereevu. Naye, kyo kiri nti Setaani ye katonda w’embeera zino ez’ebintu, era ensi yonna eri mu buyinza bwe. (2 Abakkolinso 4:4; 1 Yokaana 5:19) N’olwekyo, tulina okukisuubira nti abantu abasinga obungi tebajja kusanyuka kukulaba ng’otambulira mu kkubo ery’okutya Katonda, era abamu bajja kukuziyiza.
BAIBULI KY’EYIGIRIZA
▪ Osobola okubeera mukwano gwa Katonda ng’omugondera.—Yakobo 2:23.
▪ Setaani yabuusabuusa obwesigwa bw’abantu bonna.—Yobu 1:8, 10, 11; 2:4; Engero 27:11.
▪ Tuteekwa okwewala ebikolwa ebitasanyusa Katonda.—1 Abakkolinso 6:9, 10.
▪ Tusobola okusanyusa Yakuwa nga tukyawa ebintu by’akyawa era nga twagala by’ayagala.—Abaruumi 12:9.
[Ebibuuzo]
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku empapula 122, 123]
WEEWALE EBINTU YAKUWA BY’AKYAWA
Ettemu.—Okuva 20:13; 21:22, 23.
Obugwenyufu. —Eby’Abaleevi 20:10, 13, 15, 16; Abaruumi 1:24, 26, 27, 32; 1 Abakkolinso 6:9, 10.
Obusamize.—Ekyamateeka 18:9-13; 1 Abakkolinso 10:21, 22; Abaggalatiya 5:20, 21.
Okusinza ebifaananyi.—1 Abakkolinso 10:14.
Obutamiivu.—1 Abakkolinso 5:11.
Okubba.—Eby’Abaleevi 6:2, 4; Abeefeso 4:28.
Okulimba.—Engero 6:16, 19; Abakkolosaayi 3:9; Okubikkulirwa 22:15.
Omulugube.—1 Abakkolinso 5:11.
Ebikolwa eby’obukambwe.—Zabbuli 11:5; Engero 22:24, 25; Malaki 2:16; Abaggalatiya 5:20.
Enjogera etasaana.—Eby’Abaleevi 19:16; Abeefeso 5:4; Abakkolosaayi 3:8.
Okukozesa obubi omusaayi.—Olubereberye 9:4; Ebikolwa 15:20, 28, 29.
Obutalabirira ba mu maka.—1 Timoseewo 5:8.
Okwenyigira mu ntalo ne mu by’obufuzi bw’ensi eno.—Isaaya 2:4; Yokaana 6:15; 17:16.
Okunywa ttaaba n’enjaga.—Makko 15:23; 2 Abakkolinso 7:1.
[Ebifaanany ebiri ku empapula 118]
Yobu yaweebwa empeera olw’obwesigwa bwe