Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 9

Amaka Gammwe Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?

Amaka Gammwe Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?

1. Obufumbo obukkirizibwa mu mateeka buyinza butya okuyamba amaka okubaamu essanyu?

Amawulire amalungi gava eri Yakuwa, Katonda omusanyufu, ayagala amaka okubaamu essanyu. (1 Timoseewo 1:11) Ye yatandikawo obufumbo. Obufumbo obukkirizibwa mu mateeka buleetera ab’omu maka okuba abasanyufu kubanga busobozesa abazadde okukuza obulungi abaana baabwe. Abakristaayo basaanidde okugoberera amateeka g’omu kitundu kyabwe agakwata ku kuwandiisa obufumbo.​—Soma Lukka 2:1, 4, 5.

Katonda atwala atya obufumbo? Katonda ayagala obufumbo bube bwa lubeerera. Yakuwa ayagala abaami n’abakyala buli omu okuba omwesiga eri munne. (Abebbulaniya 13:4) Akyawa okugattululwa mu bufumbo. (Malaki 2:16) Naye akkiriza Omukristaayo okugattululwa n’afumbiriganwa n’omuntu omulala singa munne aba ayenze.​—Soma Matayo 19:3-6, 9.

2. Omwami n’omukyala, buli omu asaanidde kuyisa atya munne?

Yakuwa yatonda abasajja n’abakazi nga basobola okuyambagana mu bufumbo. (Olubereberye 2:18) Ng’omutwe gw’amaka, omwami alina obuvunaanyizibwa okukola ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omubiri era n’okubayigiriza ebikwata ku Katonda. Asaanidde okwagala ennyo mukazi we. Abaami n’abakyala basaanidde okwagalana n’okuwaŋŋana ekitiibwa. Okuva bwe kiri nti abaami n’abakyala tebatuukiridde, kikulu nnyo okusonyiwagana okusobola okuba abasanyufu mu bufumbo bwabwe.​—Soma Abeefeso 4:31, 32; 5:22-25, 33; 1 Peetero 3:7.

3. Mwandyawukanye singa obufumbo bwammwe tebubaamu ssanyu?

Singa mufuna obuzibu mu bufumbo bwammwe, buli omu asaanidde okufuba okulaga munne okwagala. (1 Abakkolinso 13:4, 5) Ekigambo kya Katonda tekiraga nti okwawukana mu bufumbo y’engeri ey’okugonjoolamu ebizibu mu bufumbo.​—Soma 1 Abakkolinso 7:10-13.

4. Abaana, kiki Katonda ky’abaagaliza?

Yakuwa ayagala mube basanyufu. Abawa amagezi agasingayo obulungi agasobola okubayamba okufuna essanyu mu buvubuka bwammwe. Ayagala muganyulwe mu magezi agabaweebwa bazadde bammwe. (Abakkolosaayi 3:20) Era Yakuwa ayagala mufune essanyu eriva mu kukola ebyo Omutonzi wammwe n’Omwana we bye baagala.​—Soma Omubuulizi 11:9–12:1; Matayo 19:13-15; 21:15, 16.

5. Abazadde, muyinza mutya okuyamba abaana bammwe okuba abasanyufu?

Musaanidde okufuba okufunira abaana bammwe eby’okulya, aw’okusula, n’eby’okwambala. (1 Timoseewo 5:8) Naye abaana bammwe okusobola okuba abasanyufu, musaanidde n’okubayigiriza okwagala Katonda n’okumukoppa. (Abeefeso 6:4) Abaana bammwe nabo bajja kwagala Katonda bwe munaabateerawo ekyokulabirako ekirungi. Bwe mubuulirira abaana bammwe nga mukozesa Ekigambo kya Katonda, kijja kubayamba okuba ab’empisa ennungi.​—Soma Ekyamateeka 6:4-7; Engero 22:6.

Abaana bawulira bulungi bwe mubazzaamu amaanyi era ne mubasiima olw’ebirungi bye baba bakoze. Ate era beetaaga okuwabulwa n’okukangavvulwa. Bwe mukola bwe mutyo, kiyamba abaana bammwe okwewala empisa embi eziyinza okubaleetera okufuna ebizibu ebinaabamalako essanyu. (Engero 22:15) Kyokka, tebasaanidde kukangavvulwa na bukambwe.​—Soma Abakkolosaayi 3:21.

Abajulirwa ba Yakuwa bakubye ebitabo bingi ebisobola okuyamba abazadde n’abaana. Ebitabo bino byesigamiziddwa ku Bayibuli.​—Soma Zabbuli 19:7, 11.