EKIBUUZO 2
Lwaki Nfaayo Nnyo ku Ngeri Gye Ndabikamu?
KIKI KYE WANDIKOZE?
Lowooza ku mbeera eno: Julia bwe yeetunuulira mu ndabirwamu, alaba ng’agezze nnyo. Agamba nti “Nnina okusala ku mubiri.” Kyokka bazadde be ne mikwano gye bamugamba nti si munene.
Julia ayagala okukola kyonna ekisoboka okulaba nti asalako kiro nga bbiri. Alowooza ku ky’okumala ennaku ntonotono nga talya.
Singa weesanga mu mbeera ng’eya Julia, wandikoze ki?
LOWOOZA KU KINO!
Si kikyamu okufaayo ku ngeri gy’olabikamu. Mu butuufu, Bayibuli eyogera ku basajja n’abakazi abatali bamu abaali balabika obulungi, gamba nga Saala, Laakeeri, Abbigayiri, Yusufu, ne Dawudi. Era Bayibuli egamba nti omuwala eyali ayitibwa Abisaagi “yali alabika bulungi nnyo.”
Kyokka abavubuka bangi bafaayo ekisusse ku ndabika yaabwe. Ekyo kisobola okuvaamu ebizibu eby’amaanyi. Lowooza ku bino:
-
Okunoonyereza okumu kwalaga nti, ku bawala 58 ku buli kikumi abaali bagamba nti baalina omugejjo, 17 ku buli kikumi bokka be baalina omugejjo.
-
Okunoonyereza okulala kwalaga nti abakazi 45 ku buli kikumi abaali bawewuka ekisukkiridde baali balowooza nti bazitowa nnyo!
-
Abavubuka abamu olw’okwagala ennyo okwekozza kibaviiriddeko okufuna obulwadde obuyitibwa anorexia, obuleetera omuntu okwewala okulya, ekiyinza n’okumuviirako okufa.
EKINTU EKISINGA OBUKULU
Ekyo omuntu ky’ali, kye kimuleetera okwagalibwa abalala oba obutayagalibwa. Lowooza ku Abusalomu, mutabani wa Kabaka Dawudi. Bayibuli egamba nti:
‘Tewali musajja gwe baali batenda olw’okulabika obulungi nga Abusaalomu. Teyaliiko kamogo.’
—2 Samwiri 14:25.
Naye omuvubuka oyo yali wa malala, yali ayagala nnyo ebitiibwa, era yali wa nkwe! Bayibuli temwogerako bulungi. Eraga nti teyali muntu mwesigwa era yalina obukyayi bungi.
Bayibuli etuwa amagezi gano:
“Mwambale omuntu omuggya.”
—Abakkolosaayi 3:10.
“Okwerungiya kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu . . . , naye kubeerenga kwa muntu ow’ekyama ow’omu mutima.”
—1 Peetero 3:3, 4.
Wadde nga si kikyamu okwagala okulabika obulungi, ekyo ky’oli munda kye kisinga obukulu. Engeri ennungi z’olina ze zireetera abalala okukwagala okusinga endabika yo n’enkula yo! Omuwala ayitibwa Phylicia yagamba nti: “Wadde ng’endabika yo ennungi mu kusooka eyinza okusikiriza abalala, ekyo ky’oli munda n’engeri zo ennungi abantu bye bajja okusigala nga bakujjukirako.”
ENGERI GY’OLABIKAMU
Muli owulira ng’endabika yo tekusanyusa?
Wali olowoozezzaako ku kukozesa eddagala oba okulekayo okulya okusobola okukyusa endabika yo?
Singa wali osobola okukyusa endabika yo, kiki kye wandikyusizza? (Saza ku ebyo by’olaba nti wandikyusizza.)
-
OBUWANVU
-
OBUZITO
-
ENVIIRI
-
FIGA YO
-
BW’OLABIKA MU MAASO
-
LANGI YO
Bwe kiba nti ozzeemu nti yee mu bibuuzo ebibiri ebisooka era n’osaza ku bintu bisatu oba n’okusingawo mu kibuuzo eky’okusatu, kiyinzika okuba nti abalala tebakulaba nga ggwe bwe weeraba. Oyinza okuba nga weeraliikirira endabika yo ekisukkiridde.