Okugonjoola Obutakkaanya
Omuntu bw’akola ekintu ekitulumya, lwaki tetusaanidde kusunguwala oba kwesasuza?
Nge 20:22; 24:29; Bar 12:17, 18; Yak 1:19, 20; 1Pe 3:8, 9
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 25:9-13, 23-35—Nabbali bw’avuma Dawudi n’abasajja be era n’agaana okubawa obuyambi, Dawudi asalawo nti agenda kumutta n’abasajja bonna ab’omu nnyumba ye, naye Abiggayiri ayamba Dawudi obutayiwa musaayi
-
Nge 24:17-20—Kabaka Sulemaani aluŋŋamizibwa okugamba nti kibi mu maaso ga Yakuwa omuntu okusanyuka ng’omulabe we afunye ebizibu; ensonga tusaanidde okuzirekera Yakuwa
-
Omukristaayo bw’aba n’obutakkaanya n’omulala, yandyewaze okwogera n’omuntu oyo oba yandimusibidde ekiruyi?
Lev 19:17, 18; 1Ko 13:4, 5; Bef 4:26
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mat 5:23, 24—Yesu alaga nti tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okutabagana n’omuntu aba alina ky’atwemulugunyaako
-
Kiki kye tusaanidde okukola omuntu bw’akola ekintu ekitulumya?
Lwaki tusaanidde okusonyiwa n’abo abakoze enfunda n’enfunda ebintu ebitulumya naye ne beenenya mu bwesimbu?
Bwe kiba nti ekyo omuntu ky’akoze kinene nnyo era nga tetusobola kukibuusa maaso, gamba ng’atuwaayirizza oba ng’atukumpanyizza, ani asaanidde okwogerako n’omuntu oyo era asaanidde kuba na kigendererwa ki?
Singa omuntu aba atukumpanyizza oba atuwaayirizza agaana okwenenya nga twogeddeko naye nga tuli ffekka, tusaanidde kukola ki?