Okusinza
Ani yekka gwe tulina okusinza?
Kuv 34:14; Ma 5:8-10; Is 42:8
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mat 4:8-10—Sitaani asuubiza okuwa Yesu obwakabaka bwonna obw’omu nsi singa amusinza; kyokka Yesu agaana ekyo Sitaani ky’amusuubiza olw’okuba mumalirivu okusinza Yakuwa yekka
-
Kub 19:9, 10—Malayika ow’amaanyi agaana omutume Yokaana okumusinza
-
Yakuwa ayagala tumusinze tutya?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Is 1:10-17—Yakuwa tasiima abo abagamba nti bamusinza naye nga tebakola by’ayagala
-
Mat 15:1-11—Yesu agamba nti Yakuwa tasiima abo abamusinza nga bagoberera obulombolombo bw’abantu mu kifo ky’okukolera ku mateeka ga Katonda
-
Bwe kiba kisoboka, Yakuwa tulina kumusinziza wamu ne baani?
Laba ne Zb 133:1-3
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bik 2:40-42—Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo bakuŋŋaananga okusaba, okubeerako awamu, n’okusoma ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu
-
1Ko 14:26-40—Omutume Pawulo agamba nti enkuŋŋaana z’ekibiina zisaanidde okuba nga ntegeke bulungi, nga zizimba, buli omu asobole okutegeera ebiyigirizibwa
-
Biki bye tusaanidde okukola Yakuwa okusiima okusinza kwaffe?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Beb 11:6—Omutume Pawulo akiraga nti tulina okuba n’okukkiriza Yakuwa okusobola okusiima okusinza kwaffe
-
Yak 2:14-17, 24-26—Yakobo, muganda wa Yesu, akiraga nti okukkiriza kulina okubaako ebikolwa; okukkiriza kutuleetera okubaako kye tukolawo
-