ESSOMO 56
Kuuma Obumu mu Kibiina
Bwe tubeera awamu ne bakkiriza bannaffe, tuba tuwulira nga Kabaka Dawudi eyagamba nti: “Nga kirungi era nga kisanyusa ab’oluganda okubeera awamu nga bali bumu!” (Zabbuli 133:1) Naye obumu obwo tebujjaawo bwokka. Buli omu ku ffe alina ky’akolawo okukuuma obumu.
1. Kiki ekyewuunyisa ku bantu ba Katonda?
Bw’ogenda mu nsi endala n’ogenda mu nkuŋŋaana zʼAbajulirwa ba Yakuwa, oyinza okuba nga tomanyi lulimi lwogerwa, naye owulira ng’ali mu bantu b’omanyi. Lwaki kiri bwe kityo? Kubanga tuyiga Bayibuli nga tukozesa ebitabo bye bimu mu nsi yonna. Era tufuba okulagaŋŋana okwagala. Ate ka tube nga tubeera mu nsi ki, ffenna ‘tukoowoola erinnya lya Yakuwa era tumusinza nga tuli bumu.’—Zeffaniya 3:9, obugambo obuli wansi.
2. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okukuuma obumu?
“Mwagalane nnyo okuviira ddala ku mutima.” (1 Peetero 1:22) Oyinza otya okukolera ku kubuulirira okwo? Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo ku nsobi abalala ze bakola, gezaako okubanoonyaamu ebirungi. Mu kifo ky’okukola omukwano n’abo bokka bʼolinako bingi bye mufaananya, gezaako okumanya baganda bo ne bannyoko bʼotalinako bingi by’ofaanaganya nabo. Tusaanidde okufuba okweggyamu obusosoze bwonna bwe tuyinza okuba nabwo.—Soma 1 Peetero 2:17. a
3. Kiki ky’osaanidde okukola ng’ofunye obutakkaanya ne mukkiriza munno?
Wadde nga tuli bumu, tetutuukiridde. Ebiseera ebimu abalala bayinza okwogera oba okukola ebintu ebitulumya, era naffe tuyinza okukola kye kimu. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etugamba nti: ‘Mweyongere okusonyiwagananga.’ Ate era egattako nti: “Nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.” (Soma Abakkolosaayi 3:13.) Emirundi mingi tukoze ebintu ebinyiiza Yakuwa, naye n’atusonyiwa. N’olwekyo, naye atusuubira okusonyiwa baganda baffe. Bw’okimanya nti olina ekintu ky’okoze ekirumizza omuntu omulala, baako ky’okolawo okugonjoola ensonga eyo.—Soma Matayo 5:23, 24. b
YIGA EBISINGAWO
Laba ebintu by’oyinza okukola okusobola okwongera okukuuma obumu n’emirembe mu kibiina.
4. Weggyeemu obusosoze
Tulina okwagala baganda baffe bonna. Naye oluusi kiyinza okutuzibuwalira okwagala abo be tulaba ng’ab’enjawulo ku ffe. Kiki ekiyinza okutuyamba? Soma Ebikolwa 10:34, 35, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
-
Yakuwa asembeza gy’ali abantu aba buli ngeri. Ekyo kisaanidde kukwata kitya ku ngeri gye tutwalamu abo be tulaba ng’ab’enjawulo ku ffe?
-
Busosoze bwa ngeri ki obuli mu kitundu gy’obeera bwe wandyagadde okwewala?
Soma 2 Abakkolinso 6:11-13, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
-
Oyinza otya okukola omukwano ne bakkiriza banno bonna?
5. Sonyiwanga era fubanga okuleetawo emirembe
Yakuwa atusonyiwa wadde nga ye talina nsobi yonna gy’akola etwetaagisa okumusonyiwa. Soma Zabbuli 86:5, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
-
Kiki kye tuyigira ku lunyiriri luno ku bikwata ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu?
-
Lwaki osiima nnyo eky’okuba nti Yakuwa asonyiwa?
-
Biki ebiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okukolagana obulungi n’abalala?
Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa ne tusigala nga tuli bumu ne bakkiriza bannaffe? Soma Engero 19:11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
-
Omuntu bw’akunyiiza, kiki ky’osaanidde okukola?
Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
Oluusi tukola ebintu ebirumya abalala. Ekyo bwe kibaawo, kiki kye tusaanidde okukola?-
Mu vidiyo eyo, kiki mwannyinaffe kye yakola okusobola okuzzaawo emirembe?
6. Noonya ebirungi mu bakkiriza banno
Bwe tweyongera okumanya bakkiriza bannaffe, tumanya ebintu bye bakola obulungi era n’obunafu bwabwe. Kiki ekiyinza okutuyamba okussa ebirowoozo byaffe ku ebyo bye bakola obulungi? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
-
Kiki ekiyinza okukuyamba okulaba ebirungi mu bakkiriza banno?
Yakuwa atunoonyaamu birungi. Soma 2 Ebyomumirembe 16:9a, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
-
Okukimanya nti Yakuwa akunoonyaamu birungi, kikuleetera kuwulira otya?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Nze okusobola okusonyiwa omuntu, alina okubaako ky’akolawo.”
-
Lwaki tusaanidde okuba abeetegefu okusonyiwa abalala?
MU BUFUNZE
Osobola okuyambako mu kukuuma obumu mu kibiina ng’osonyiwa abalala, era ng’obalaga okwagala.
Okwejjukanya
-
Oyinza otya okweggyamu obusosoze?
-
Kiki ky’onookola ng’ofunye obutakkaanya ne mukkiriza munno?
-
Lwaki wandyagadde okukoppa Yakuwa bwe kituuka ku kusonyiwa abalala?
LABA EBISINGAWO
Laba engeri ekimu ku byokulabirako Yesu bye yawa gye kisobola okutuyamba okwewala okusalira abalala omusango.
Kitwetaagisa okwetonda ne bwe tuba nga tuwulira nti tetulina kikyamu kyonna kye tukoze?
“Okwetonda Kuleetawo Emirembe” (Omunaala gw’Omukuumi, Noovemba 1, 2002)
Laba engeri abamu gye bayizeemu obutasosola balala.
Laba engeri gy’oyinza okugonjoolamu obutakkaanya nga tebunnaba kumalawo mirembe mu kibiina.
“Mugonjoole Obutakkaanya mu Ngeri ey’Okwagala” (Omunaala gw’Omukuumi, Maayi 2016)
a Ebyongerezeddwako 6 biraga engeri okwagala gye kuleetera Abakristaayo okwegendereza ennyo baleme kusiiga balala ndwadde.
b Ebyongerezeddwako 7 biraga engeri y’okukwatamu ensonga ezikwata ku bya bizineesi ne ku by’amateeka.