Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’OMWENDA

Yakuuma, Yalabirira, era Teyaddirira

Yakuuma, Yalabirira, era Teyaddirira

1, 2. (a) Yusufu n’ab’omu maka ge baali bagenda wa, era biki bye baali bagenda okusangayo? (b) Mawulire ki amabi Yusufu ge yalina okubuulira mukyala we?

YUSUFU asitula omugugu omulala n’agussa ku ndogoyi. Ali mu Besirekemu, era obudde bwa kiro. Ateekwa okuba ng’alowooza ku lugendo oluwanvu ye n’ab’omu maka ge lwe bagenda okutambula. Bagenda Misiri. Bagenda kusangayo abantu aboogera olulimi olw’enjawulo ennyo ku lwabwe, era abalina empisa ezaawukanira ddala ku zaabwe. Ayinza okuba nga yeebuuza bwe kinaaba nga ye ne mukyala we n’omwana waabwe batuuse e Misiri.

2 Yusufu tekyamubeerera kyangu kubuulira mukyala we Maliyamu mawulire mabi ge yali afunye, naye yagamubuulira. Kabaka Kerode yali ayagala kutta mwana waabwe, era malayika wa Yakuwa ye yamutegeeza amawulire ago mu kirooto. Kale baali balina okuva mu Besirekemu amangu ddala. (Soma Matayo 2:13, 14.) Kino kyewuunyisa nnyo Maliyamu. Ddala waali wayinza okubaawo omuntu yenna eyandyagadde okutta omwana atalina musango? Ye ne Yusufu baali tebayinza kukitegeera. Naye beesiga Yakuwa era ne beeteekateeka okugenda.

3. Nnyonnyola engeri Yusufu n’ab’omu maka ge gye baava mu Besirekemu. (Laba n’ekifaananyi.)

3 Yusufu ne Maliyamu n’omwana waabwe baava mu Besirekemu ekiro ekyo ng’abantu bonna beebase, era nga tebalina kye bamanyi ku lukwe Kerode lwe yali akoze. Nga bagenda batambula okwolekera ebukiikaddyo, Yusufu ayinza okuba nga yalowooza ku buvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe yalina. Ye ng’omusajja omubazzi obubazzi yandisobodde okukuuma ab’omu maka ge ne batatuusibwako kabi konna? Yandisobodde okubalabirira? Ddala obuvunaanyizibwa obwo obw’amaanyi ennyo Yakuwa bwe yali amuwadde obw’okukuza omwana ono eyali ow’enjawulo ku baana abalala yandisobodde okubutuukiriza awatali kuddirira? Nga twetegereza engeri gye yabutuukirizaamu, tugenda kulaba ensonga lwaki bataata era naffe ffenna tusaanidde okuba n’okukkiriza ng’okwa Yusufu.

Yusufu Yakuuma ab’Omu Maka Ge

4, 5. (a) Mu ngeri ki obulamu bwa Yusufu gye bwakyuka ng’akyayogereza Maliyamu? (b) Bigambo ki malayika bye yagamba Yusufu ebyamuzzaamu amaanyi?

4 Omwaka nga gumu emabega, Yusufu bwe yali ng’akyayogereza Maliyamu muwala wa Keri, mu kabuga k’ewaabwe e Nazaaleesi, waaliwo ekintu ekyabaawo ekyakyusiza ddala obulamu bwe. Yusufu yali akimanyi bulungi nti Maliyamu yali ayagala nnyo Yakuwa n’amateeka ge, kyokka ate yagenda okuwulira nti Maliyamu ali lubuto! Yali asazeewo okumuleka, naye mu kyama, kubanga yali tayagala kumuswaza. * Naye malayika yayogera naye mu kirooto n’amugamba nti Maliyamu yali lubuto ku bw’omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu. Era malayika yamugamba nti omwana oyo Maliyamu gwe yali agenda okuzaala yali agenda ‘kulokola abantu be okuva mu bibi byabwe.’ Malayika era yazzaamu nnyo Yusufu amaanyi bwe yamugamba nti: “Totya kutwala mukazi wo Maliyamu mu maka go.”Mat. 1:18-21.

5 Olw’okuba Yusufu yali musajja mutuukirivu, yakola nga malayika bwe yamugamba. Yeetikka obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ennyo obw’okukuza omwana ataali wuwe, kyokka eyali ow’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda. Ate era oluvannyuma, Kayisaali Agusito bwe yayisa ekiragiro abantu bonna okwewandiisa, Yusufu ne mukyala we eyali olubuto baagondera ekiragiro ekyo ne bagenda e Besirekemu beewandiise, era eyo Maliyamu gye yazaalira.

6-8. (a) Biki ebyaliwo ebyaleetawo enkyukakyuka mu bulamu bwa Yusufu ne Maliyamu? (b) Kiki ekiraga nti Sitaani ye yasindika “emmunyeenye”? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

6 Yusufu ne Maliyamu tebaddayo Nazaaleesi. Baasigala mu Besirekemu, ekyali mayiro nga mukaaga okuva e Yerusaalemi. Wadde nga baali baavu, Yusufu yafuba nga bwe yali asobola okulabirira obulungi Maliyamu ne Yesu. Oluvannyuma lw’ekiseera baafuna aw’okubeera. Naye Yesu bwe yali ng’akuzeekuzeemu, oboolyawo ng’aweza omwaka nga gumu, waliwo ebyaliwo ebyaleetawo enkyukakyuka mu bulamu bwabwe.

7 Waliwo abasajja abaali balaguzisa emmunyeenye abajja okubakyalira. Baava buvanjuba, oboolyawo e Babulooni. Bajja bagoberera “emmunyeenye” eyabatuusa mu maka ga Yusufu ne Maliyamu. Baali banoonya mwana eyali ajja okuba kabaka w’Abayudaaya. Abasajja abo bye baakola byalaga nti bassaamu Yesu ekitiibwa.

8 Abasajja abo ka babe nga baakimanya oba nedda, baateeka obulamu bw’omwana, Yesu, mu kabi. Ekyo kyali bwe kityo kubanga “emmunyeenye” eyo mu kifo ky’okubatwala butereevu e Besirekemu, yasooka kubatwala Yerusaalemi. * Eyo gye baasanga Kabaka Kerode, eyali omuntu omubi ennyo. Bwe baamugamba nti baali banoonya mwana eyali agenda okufuuka kabaka w’Abayudaaya, ekyo kyamukwasa obuggya era kyamusunguwaza nnyo.

9-11. (a) Kiki ekiraga nti waaliwo eyali asinga Kerode ne Sitaani amaanyi? (b) Okwawukana ku ebyo ebyogerwa mu bitabo ebimu, olugendo Yusufu n’ab’omu maka ge lwe baatambula lwali lwa ngeri ki?

9 Kyokka waaliwo eyali asinga Kerode ne Sitaani amaanyi. Abasajja abo bwe baatuuka mu nnyumba Yesu mwe yali, baamusanga ali ne nnyina, era baamutonera ebirabo eby’omuwendo. Nga kiteekwa okuba nga kyewuunyisa nnyo Yusufu ne Maliyamu okufuna ebintu ebyo eby’omuwendo ennyo bye baali batasuubira. Baafuna “zzaabu, obubaane, n’eby’obuwoowo obuyitibwa mirra”! Abasajja abo baali bateekateeka okuddayo babuulire Kerode we baali bazudde omwana, naye Yakuwa n’abagaana. Mu kirooto, yabalagira bayitire mu kkubo eddala baddeyo gye baali bavudde.Soma Matayo 2:1-12.

10 Amangu ddala ng’abalaguzisa emmunyeenye bagenze, malayika wa Yakuwa yagamba Yusufu nti: “Golokoka otwale omwana ne nnyina muddukire e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndikugamba okuvaayo kubanga Kerode anaatera okunoonya omwana okumutta.” (Mat. 2:13) Nga bwe twalabye ku ntandikwa y’essuula eno, Yusufu yakolera ddala nga malayika bwe yamugamba. Yatwala ab’omu maka ge e Misiri asobole okuwonya obulamu bw’omwana. Ebirabo eby’omuwendo ennyo bye baali baweereddwa byali bigenda kubayamba nnyo ku lugendo olwo, era byali bijja kubasobozesa okweyimirizaawo nga bali e Misiri.

Yusufu yakola buli kyetaagisa okusobola okukuuma obulungi omwana we

11 Waliwo ebitabo ebimu ebyogera ebintu ebitali bituufu ku lugendo luno. Bigamba nti mu ngeri ey’ekyamagero Yesu yakendeeza ku buwanvu bw’olugendo, yalemesa abazigu okubakolako akabi konna, era n’aleetera n’emiti gy’ebibala emiwanvu okukutama ne banoga ku bibala byagyo. * Kyokka ekituufu kiri nti olugendo olwo olwali oluwanvu ennyo era oluzibu ennyo, lwonna baalutambula.

Yusufu aliko bye yeefiiriza okusobola okulabirira obulungi n’okukuuma ab’omu maka ge

12. Kiki abazadde kye bayinza okuyigira ku Yusufu?

12 Waliwo bingi abazadde bye basobola okuyigira ku Yusufu. Okusobola okutaasa amaka ge akabi akaali kagoolekedde, Yusufu yali mwetegefu okubaako bye yeefiiriza nga mw’otwalidde n’omulimu gwe. Kyeyoleka bulungi nti amaka ge yali agatwala ng’ekirabo eky’omuwendo ennyo okuva eri Yakuwa. Ne leero, embeera abazadde ze bakulizaamu abaana baabwe nzibu nnyo. Ensi ya Sitaani ekubiriza abaana okukola ebintu ebikyamu ebisobola okubaviiramu emitawaana, sinakindi n’okufa. Nga kireeta essanyu lingi okulaba abazadde abakoppa ekyokulabirako kya Yusufu, ne bafuba okukuuma abaana baabwe baleme kutwalirizibwa nsi ya Sitaani!

Yusufu Yalabirira Bulungi ab’Omu Maka Ge

13, 14. Yusufu ne Maliyamu baatuuka batya okuddayo e Nazaaleesi?

13 Kirabika Yusufu n’ab’omu maka ge e Misiri tebaalwayo, kubanga oluvannyuma lw’ekiseera kitono malayika yagamba Yusufu nti Kerode yali afudde. Yusufu n’ab’omu maka ge baakomawo mu nsi yaabwe. Obunnabbi bwali bwakyoleka dda nti Yakuwa yandiyise Omwana we “okuva e Misiri.” (Mat. 2:15) Yusufu yakola kinene mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo, naye kati ye n’ab’omu maka ge baali bagenda kubeera wa?

14 Yusufu yali musajja mwegendereza. Yeekengera Alukerawo, omusika wa Kerode, kuba naye yali musajja mukambwe nnyo era nga mutemu. Oluvannyuma lw’okufuna obulagirizi okuva eri Katonda, Yusufu yasalawo okutwala ab’omu maka ge mu bukiikakkono mu kibuga ky’ewaabwe e Nazaaleesi mu Ggaliraaya, ekyali ewalako okuva e Yerusaalemi awaali abantu ab’omutawaana. Eyo ye ne Maliyamu gye baakuliza Yesu.Soma Matayo 2:19-23.

15, 16. Omulimu gwa Yusufu gwali gutya, era ayinza okuba nga yakozesanga bintu ki?

15 Obulamu bwa Yusufu ne Maliyamu tebwali bwangu. Bayibuli egamba nti Yusufu yali mubazzi. Mu kumuyita omubazzi, ekigambo Bayibuli ky’ekozesa kizingiramu ebintu, gamba ng’okutema emiti, okugisalamu embaawo, okuzisombayo mu kibira, okuzikaza, n’okuzikozesa mu kuzimba amayumba, awamu n’okuzikolamu amaato, entindo entonotono, ebigaali, nnamuziga, ebikoligo, n’ebirala ebikozesebwa abalimi. (Mat. 13:55) Omulimu ogwo tegwali mwangu n’akatono. Ababazzi b’omu biseera ebyo baateranga kukolera mu luggya lwabwe oba mu kiyumba ekyabanga kiriraanye ennyumba zaabwe.

16 Yusufu yalina ebikozesebwa ebitali bimu, era ng’ebimu ku byo osanga yabisikira kuva ku kitaawe. Ayinza okuba nga yakozesanga emisumeeno, bbirigi, ensinjo, embaali, embazzi, ennyondo, ggaamu ow’ebika eby’enjawulo, oboolyawo n’emisumaali.

17, 18. (a) Kiki Yesu kye yayigira ku Yusufu? (b) Lwaki Yusufu yalina okukola ennyo?

17 Kuba akafaananyi ng’omulenzi omuto, Yesu, atunuulira Yusufu ng’akola. Yeetegereza buli kimu ky’akola era yeewuunya engeri kitaawe gy’akolamu ebintu mu ngeri eyoleka obukugu n’amagezi. Oboolyawo Yusufu yatandika okuyigiriza mutabani we ng’akyali muto emirimu emitonotono, gamba ng’okuwawula embaawo ng’akozesa eddiba ly’ekyennyanja erikaziddwa. Era oboolyawo yamuyigiriza n’okwawulawo ebika by’embaawo ez’emiti egitali gimu, gamba ng’ez’emisukomooli, ez’emitiini, ez’emizeyituuni, n’ez’emiti emirala.

Yusufu yayigiriza mutabani we okubajja

18 Ate era Yesu yali akiraba nti emikono gya kitaawe egyo egy’amaanyi egyatemanga emiti, egyayunganga embaawo, gye gimu egyamuwembejjanga ye wamu ne maama we era ne bato be. Nga bamaze okuzaala Yesu, Yusufu ne Maliyamu baazaala abaana abalala nga mukaaga. (Mat. 13:55, 56) Yusufu yalina okukola ennyo okusobola okubalabirira obulungi.

Yusufu yali akimanyi nti okulabirira ab’omu maka ge mu by’omwoyo kye kyali kisinga obukulu

19. Yusufu yalabiriranga atya ab’omu maka ge mu by’omwoyo?

19 Kyokka Yusufu yali akimanyi nti okulabirira ab’omu maka ge mu by’omwoyo kye kyali kisinga obukulu. Yamalanga ebiseera bingi ng’ayigiriza abaana be ebikwata ku Yakuwa Katonda n’amateeka ge. Ye ne Maliyamu baatwalanga abaana baabwe mu kkuŋŋaaniro ery’omu kitundu kyabwe, gye baawuliriranga Amateeka nga gasomebwa era nga gannyonnyolwa. Bwe baakomangawo awaka, kirabika Yesu yabanga n’ebibuuzo bingi era Yusufu yafubanga okubiddamu. Ate era Yusufu yatwalanga ab’omu maka ge ku mbaga ezaabanga e Yerusaalemi. Okusobola okubaawo ku Mbaga ey’Okuyitako eyabangawo buli mwaka, Yusufu yalinanga okutindigga olugendo lwa mayiro 75. Era kirabika kyamutwaliranga wiiki nga bbiri okugenda ku mbaga eyo n’okudda.

Yusufu yatwalanga ab’omu maka ge mu yeekaalu e Yerusaalemi okusinza

20. Abakristaayo emitwe gy’amaka bayinza batya okukoppa ekyokulabirako kya Yusufu?

20 Leero Abakristaayo emitwe gy’amaka bakoppa ekyokulabirako ekyo ekirungi. Bafuba nnyo okulabirira obulungi ab’omu maka gaabwe, naye nga kye basinga okutwala ng’ekikulu kwe kuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Yakuwa. Bafuba nnyo okulaba nti babeera n’okusinza kw’amaka, era batwala abaana baabwe mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ennene n’entono. Okufaananako Yusufu, bakimanyi nti ekintu ekisingayo okuba eky’omuwendo kye basobola okuwa abaana baabwe, kwe kubayigiriza ebikwata ku Yakuwa.

‘Beeraliikirira’

21. (a) Yusufu n’ab’omu maka ge olugendo lw’okugenda e Yerusaalemi ku Mbaga ey’Okuyitako lwababeereranga lutya? (b) Bwe baali bakomawo, ddi Yusufu ne Maliyamu lwe baakitegeera nti Yesu teyali nabo?

21 Yesu bwe yali alina emyaka 12 egy’obukulu, Yusufu yatwala ab’omu maka ge e Yerusaalemi nga bwe yakolanga. Baali bagenda ku Mbaga ey’Okuyitako. Amaka mangi gaatambuliranga wamu okugenda okukwata embaga eyo. Abantu bwe baabanga batandika okwambuka akasozi k’e Yerusaalemi, bangi baayimbanga zabbuli eziyitibwa ez’oku madaala. (Zab. 120-134) Kirabika abantu baabanga bangi mu Yerusaalemi. Oluvannyuma abantu baddangayo ewaabwe ng’era batambulira mu bibinja. Yusufu ne Maliyamu nabo bwe baali badda eka, baalowooza nti Yesu yali atambulira wamu n’abalala, oboolyawo ab’eŋŋanda zaabwe. Baagenda okukitegeera nti teyali nabo, nga bamaze okutambula olugendo lwa lunaku lulamba okuva e Yerusaalemi.Luk. 2:41-44.

22, 23. Yusufu ne Maliyamu baakola ki nga Yesu abuze, era Maliyamu yayogera ki nga bamuzudde?

22 Baasoberwa nnyo, era baddayo e Yerusaalemi nga bagenda bamunoonya. Kuba akafaananyi nga bayita mu nguudo z’e Yerusaalemi, ng’eno bwe bakoowoola omwana waabwe. Baali beebuuza omwana oyo gye yali abulidde. Bwe zaawera ennaku ssatu nga tebannamulaba, kyandiba nti Yusufu yatandika okulowooza nti obuvunaanyizibwa obw’okukuza omwana wa Katonda obwali bumuweereddwa bwali bumulemye okutuukiriza? Oluvannyuma baagenda mu yeekaalu ne bamunoonya buli wamu, era baamusanga mu kisenge omwali abasajja abayivu abaali bamanyi obulungi Amateeka. Bateekwa okuba nga baawulira obuweerero bwa maanyi!Luk. 2:45, 46.

23 Yesu yali awuliriza abasajja abo abayivu era ng’ababuuza ebibuuzo. Abasajja abo baawuniikirira olw’amagezi ge n’engeri gye yali addamu. Ekyo Yesu kye yakola, Maliyamu ne Yusufu baali tebakimusuubiramu. Bayibuli tetubuulira obanga Yusufu alina kye yayogera, naye Maliyamu bye yayogera biraga bulungi engeri bombi gye baali beewuliramu. Yagamba nti: “Mwana wange, lwaki otuyisizza bw’oti? Kitaawo nange tubadde tukunoonya nga tweraliikirira.” Luk. 2:47, 48.

24. Bayibuli ekiraga etya nti okukuza abaana si mulimu mwangu?

24 Ennyiriri ezo zikyoleka bulungi nti omulimu gw’okukuza omwana si mwangu n’akatono, omwana ne bw’aba ng’atuukiridde. Bingi ebyeraliikiriza abazadde mu nsi y’akakyo kano, era kibazzaamu nnyo amaanyi bwe balaba nti Bayibuli eyogera ne ku bazadde abalala abaayolekaganako n’embeera enzibu.

25, 26. Kiki Yesu kye yaddamu bazadde be, era Yusufu ayinza okuba nga yawulira atya ng’awulidde ebigambo by’omwana we?

25 Yesu yali asigadde mu yeekaalu mwe yali awulirira ng’ali kumpi nnyo ne Yakuwa Katonda, Kitaawe ow’omu ggulu, era mwe yali asobola okuyigira bingi ebimukwatako. Eyo ye nsonga lwaki yaddamu bazadde be nti: “Lwaki mubadde munnoonya? Temumanyi nti nteekwa okubeera mu nnyumba ya Kitange?”Luk. 2:49.

26 Yusufu ateekwa okuba nga yeeyongera okulowooza ku bigambo ebyo, era birina okuba nga byamuleetera essanyu lingi. Yali afubye okuyigiriza omwana oyo okwagala ennyo Yakuwa Katonda. Wadde nga Yesu yali akyali mulenzi muto, enkolagana ennungi gye yalina ne Yusufu, yamuyamba okumanya kye kitegeeza okuba ne taata omulungi.

27. Bw’oba oli taata, nkizo ki gy’olina, era lwaki osaanidde okujjukira ekyokulabirako kya Yusufu?

27 Bw’oba oli taata, okimanyi nti olina enkizo ya maanyi okuyamba abaana bo okutwala Yakuwa nga Kitaabwe abaagala era abafaako? Ate bw’oba olina abaana abatali babo b’olabirira, jjukiranga ekyokulabirako kya Yusufu, era buli mwana mutwale nga wa muwendo nnyo. Yamba abaana abo okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa Katonda, Kitaabwe ow’omu ggulu.Soma Abeefeso 6:4.

Yusufu Teyaddirira

28, 29. (a) Ebyo bye tusoma mu Lukka 2:51, 52, bitulaga ki ku Yusufu? (b) Yusufu yayamba atya omwana we okweyongera okufuna amagezi?

28 Bayibuli terina bingi by’eyongera kututegeeza ku Yusufu, naye ebyo ebitono by’etutegeeza tusaanidde okubyekenneenya. Bayibuli eraga nti Yesu ‘yeeyongera okugondera’ bazadde be era nti “yeeyongera okufuna amagezi n’okukula era n’okusiimibwa Katonda n’abantu.” (Lukka 2:51, 52.) Ebigambo ebyo bitulaga ki ku Yusufu? Bitulaga ebintu ebiwerako. Bitulaga nti Yusufu yeeyongera okukulembera obulungi ab’omu maka ge, kubanga omwana we eyali atuukiridde yamussangamu ekitiibwa era yamugonderanga.

29 Ate era ekyawandiikibwa kiraze nti Yesu yeeyongera okufuna amagezi. Yusufu ateekwa okuba nga yakola kinene okuyamba omwana we okufuna amagezi. Mu biseera ebyo, Abayudaaya baalina olugero olwali lulaga nti abantu abalina ebiseera eby’okubaako mu ggandaalo be bokka abasobola okuba abategeevu, naye abo abakuluusana ennyo, gamba ng’ababazzi, abalimi, abaweesi, n’abalala, “tebasobola kwawulawo kituufu na kikyamu era tebasobola kusala misango; era nti toyinza na kubasanga we bagerera ngero.” Naye Yesu yakyoleka nti olugero olwo bye lugamba si bituufu. Ng’akyali muto, yawulirizanga kitaawe, Yusufu, eyali omubazzi, ng’amuyigiriza ekituufu n’ekikyamu mu maaso ga Yakuwa. Tewali kubuusabuusa nti ekyo Yusufu yakikola enfunda n’enfunda.

30. Yusufu yateerawo atya abazadde ekyokulabirako ekirungi?

30 Ate era Yusufu ateekwa okuba nga yalabirira bulungi Yesu mu by’omubiri n’asobola okukula obulungi. Olw’okuba yamulabirira bulungi, Yesu yakula nga wa maanyi era nga mulamu bulungi. Okugatta ku ekyo, Yusufu yatendeka omwana we n’akuguka mu mulimu gw’okubajja. Ng’oggyeko okuba nti Yesu yamanyibwa ng’omwana w’omubazzi, ye kennyini yayitibwanga ‘mubazzi.’ (Mak. 6:3) Mazima ddala Yusufu yamutendeka bulungi! Emitwe gy’amaka bakola bulungi bwe bakoppa Yusufu ne balabirira bulungi abaana baabwe, era ne babayamba okuyiga emirimu egibasobozesa okweyimirizaawo.

31. (a) Yusufu ayinza okuba nga yafa ddi? (Laba  n’akasanduuko.) (b) Kyakulabirako ki ekirungi Yusufu kye yatuteerawo?

31 Yesu bw’amala okubatizibwa, ng’aweza emyaka 30, Bayibuli teddamu kwogera ku Yusufu. Kirabika Yesu we yatandikira obuweereza bwe, Maliyamu yali nnamwandu. (Laba akasanduuko, “ Yusufu Yafa Ddi?”) Yusufu yalekawo ekyokulabirako ekirungi ennyo, ng’omusajja eyakuuma obulungi ab’omu maka ge, eyabalabirira, era ataddirira kufuba kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe okutuukirira ddala ku nkomerero y’obulamu bwe. Emitwe gy’amaka, oba Abakristaayo abalala bonna, basaanidde okwoleka okukkiriza okulinga okwa Yusufu.

^ lup. 4 Mu biseera ebyo omukazi n’omusajja bwe baabanga boogerezeganya, baatwalibwanga ng’abafumbo.

^ lup. 8 Eno teyali ‘mmunyeenye’ ya bulijjo, era Katonda si ye yagisindika. Sitaani ye yagisindika ng’ayagala Yesu attibwe.

^ lup. 11 Bayibuli ekyoleka bulungi nti ekyamagero Yesu kye yasooka okukola yakikola amaze kubatizibwa.Yok. 2:1-11.