Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi
Ab’Oluganda Abaagalwa:
Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna ogwa Jjanwali 1, 2008, gwafulumiramu ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti: “Koppa Okukkiriza Kwabwe.” Okuva olwo, Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna gubadde gufulumiramu ekitundu ekyo buli luvannyuma lwa myezi esatu.
Abasomi baffe boogedde ki ku bitundu ebyo? Ng’amaze okusoma ekitundu ekyali kyogera ku Maliza, omusomi omu yagamba nti: “Nneesekerera bwe nnakisoma kubanga nnalinga ye. Njagala nnyo okukyaza abagenyi, naye oluusi nneesanga sifunye kaseera kubeerako nabo olw’okuba mba n’eby’okukola ebingi.” Oluvannyuma lw’okusoma ekitundu ekikwata ku Eseza, omuvubuka omu yagamba nti: “Tumalira nnyo ebirowoozo ku ngoye n’emisono egiri ku mulembe. Wadde nga tusaanidde okwambala n’okwekolako obulungi, tetulina kuyitiriza.” Era yagattako nti: “Yakuwa afa nnyo ku ekyo kye tuli munda.” Ate ekitundu ekyali kyogera ku mutume Peetero kyaleetera mwannyinaffe omu okugamba nti: “Ebyo bye nnasoma byankwatako nnyo. Nnali ng’eyaliyo.”
Abasomi bano awamu n’abalala bangi abaawandiika amabaluwa nga booleka okusiima kwabwe, bakkiriziganya n’omutume Pawulo eyagamba nti: “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza.” (Bar. 15:4) Mazima ddala Yakuwa yawandiisa ebintu ebyo mu Bayibuli olw’okuba y’aliko by’ayagala tuyige. Ka tube nga tumaze myaka emeka mu mazima, ffenna tusobola okubaako bye tuyigira ku bantu abo abaaliwo edda.
Tukukubiriza okusoma ekitabo kino amangu ddala nga waakakifuna. Mukisome mu Kusinza kwammwe okw’Amaka
Tuli basanyufu nnyo okufuna ekitabo kino. Ka kituyambe ffenna awamu n’ab’omu maka gaffe. Tubalamusizza nnyo,
Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa