Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Enyanjula

Enyanjula

“Mukoppe ekyokulabirako ky’abo abafuna ebisuubizo okuyitira mu kukkiriza ne mu kugumiikiriza.”ABEBBULANIYA 6:12.

1, 2. Omulabirizi omu akyalira ebibiina yatwalanga atya abantu abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli, era lwaki abali ng’abo bandibadde mikwano mirungi?

“BW’ABA ayogera ku bantu abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi aboogerwako mu Bayibuli, aboogerako nga mikwano gye.” Mwannyinaffe omu yayogera ebigambo ebyo oluvannyuma lw’okuwulira emboozi y’omulabirizi akyalira ebibiina. Ekyo kye yayogera kyali kituufu kubanga ow’oluganda oyo yali amaze emyaka mingi ng’asoma Ekigambo kya Katonda era ng’akikozesa okuyigiriza abalala. N’olwekyo bwe yabanga ayogera ku basajja n’abakazi abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi aboogerwako mu Bayibuli, yaboogerangako nga mikwano gye.

2 Tekyandibadde kirungi singa bangi ku abo aboogerwako mu Bayibuli baba mikwano gyaffe? Obatwala ng’abantu aba ddala? Tebeerezaamu bwe kyandibadde ng’otambula nabo, ng’onyumyako nabo, era ng’oli wamu n’abasajja n’abakazi nga Nuuwa, Ibulayimu, Luusi, Eriya, ne Eseza. Lowooza ku ngeri gye kyandikuganyuddemu—amagezi ge bandikuwadde, n’ebigambo ebizzaamu amaanyi bye bandikugambye!Soma Engero 13:20.

3. (a) Tuyinza tutya okuganyulwa mu bye tusoma ku basajja n’abakazi abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi? (b) Bibuuzo ki bye tujja okwekenneenya?

3 ‘Abatuukirivu ng’abo bwe balizuukira,’ tujja kuba tusobola okubafuula mikwano gyaffe. (Bik. 24:15) Naye nno ne mu kaseera kano tusobola okuganyulwa mu ebyo bye tusoma ku basajja n’abakazi abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi aboogerwako mu Bayibuli. Mu ngeri ki? Omutume Pawulo atuwa eky’okuddamu ng’agamba nti: “Mukoppe ekyokulabirako ky’abo abafuna ebisuubizo okuyitira mu kukkiriza ne mu kugumiikiriza.” (Beb. 6:12) Nga tetunnatandika kwekenneenya ebikwata ku basajja n’abakazi abo abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi, ka tusooke tulowooze ku bibuuzo bino: Okukkiriza kye ki, era lwaki twetaaga okuba nakwo? Tuyinza tutya okukoppa abantu ab’edda abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi?

Okukkiriza Kye Ki, era Lwaki Tukwetaaga?

4. Ndowooza ki abantu gye balina ku kukkiriza era lwaki bakyamu?

4 Okukkiriza ngeri nnungi nnyo, era abasajja n’abakazi be tugenda okusomako mu kitabo kino baagitwala nga ya muwendo nnyo. Abantu bangi leero tebategeera kye kitegeeza okuba n’okukkiriza. Balowooza nti omuntu alina okukkiriza aba akkiriza ebintu by’atalinaako bukakafu. Naye endowooza eyo nkyamu. Omuntu alina okukkiriza okwa nnamaddala tamala gakkiriza bukkiriza kintu awatali bukakafu. Ate era okukkiriza obukkiriza nti Katonda gy’ali tekimala, kubanga “ne dayimooni nazo zikkiriza era ne zikankana.”Yak. 2:19.

5, 6. (a) Okukkiriza kwaffe kuzingiramu bintu ki ebibiri ebitalabika? (b) Okukkiriza kwaffe kwandibadde kunywevu kwenkana wa? Nnyonnyola.

5 Okukkiriza okwa nnamaddala kwa njawulo nnyo. Lowooza ku ngeri Bayibuli gy’ekunnyonnyolamu. (Soma Abebbulaniya 11:1.) Pawulo yagamba nti okukkiriza kuzingiramu ebintu bya mirundi ebiri bye tutasobola kulaba. Ekisooka, bye bintu ebiriwo ‘ebitalabika.’ Tetusobola kulaba ebyo ebiri mu ggulu, gamba nga Yakuwa Katonda, Omwana we, oba Obwakabaka obw’omu mu ggulu. Eky’okubiri, okukkiriza kutwaliramu ebintu “ebisuubirwa,” nga bino bye bintu ebitannabaawo. Kati tetusobola kulaba nsi mpya Obwakabaka bwa Katonda gye bujja okuleetawo. Kati olwo okukkiririza mu bintu ebyo bye tutasobola kulaba ne mu ebyo ebitannaabaawo kitegeeza nti okukkiriza kwaffe tekuliiko bukakafu?

6 Nedda! Pawulo yagamba nti okukkiriza okwa nnamaddala kubaako obukakafu. Bwe yagamba nti okukkiriza kwe “kulindirira n’obwesige,” yakozesa ekigambo ekiyinza okutegeeza “ekyapa.” Watya ng’omuntu akusuubizza okukuwa ettaka. Ayinza okukuwa ekyapa ky’ettaka n’akugamba nti, “Lino lye ttaka lyo.” Kya lwatu ekyapa ekyo si lye liba ettaka erikuweereddwa, wabula kiba kiwandiiko ekikakasa nti ettaka eryo liryo. N’ebyo bye tukkiriza tuba tubirinako obukakafu bwa maanyi ne tubeerera ddala ng’ababifunye oba ababirabye.

7. Kiki ekyetaagisa okusobola okuba n’okukkiriza okwa nnamaddala?

7 N’olwekyo, omuntu okuba n’okukkiriza okwa nnamaddala alina okuba nga yeesigira ddala Yakuwa Katonda. Bwe tuba n’okukkiriza tuba bakakafu nti Katonda atwagala ennyo era nti ajja kutuukiriza byonna by’asuubiza. Okukkiriza okwa nnamaddala kulinga ekintu ekiramu. Ng’ekintu ekiramu bwe kyetaaga okufuna ebikibeesaawo nga kiramu, n’okukkiriza kwaffe kwetaaga okulabirirwa obulungi okusobola okusigala nga kunywevu. Bwe tutakwoleka mu bikolwa kusobola okufa.Yak. 2:26.

8. Lwaki kikulu nnyo okuba n’okukkiriza?

8 Lwaki kikulu okuba n’okukkiriza? Pawulo atuwa eky’okuddamu. (Soma Abebbulaniya 11:6.) Bwe tutaba na kukkiriza, tetusobola kutuukirira Yakuwa mu kusaba wadde okumusanyusa. Kitwetaagisa okuba n’okukkiriza bwe tuba ab’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa. Ekyo kye kiruubirirwa ekikulu ebitonde byonna ebitegeera kye byandibadde nakyo.

9. Kiki Yakuwa ky’akoze okutuyamba okuba n’okukkiriza?

9 Yakuwa amanyi nti twetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, eyo ye nsonga lwaki atuwadde ebyokulabirako ebisobola okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe era n’okukwoleka. Waliwo abasajja abeesigwa bawadde obuvunaanyizibwa mu kibiina Ekikristaayo. Ekigambo kye kitugamba nti: “Mukoppe okukkiriza kwabwe.” (Beb. 13:7) Ate era atuwadde n’ebyokulabirako ebirala bingi. Pawulo yayogera ku ‘kibinja ekinene eky’abajulirwa,’ nga bano be basajja n’abakazi ab’edda abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi. (Beb. 12:1) Waliwo n’abaweereza ba Yakuwa abalala bangi abaalina okukkiriza okw’amaanyi, Pawulo b’atayogerako mu Abebbulaniya ssuula 11. Mu butuufu Bayibuli ejjudde ebyokulabirako ebirungi eby’abasajja n’abakazi, abato n’abakulu abaali mu mbeera ez’enjawulo abaalina okukkiriza okw’amaanyi be tusobola okukoppa.

Tuyinza Tutya Okukoppa Okukkiriza kw’Abalala?

10. Okwesomesa kunaatuyamba kutya okukoppa abasajja n’abakazi abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi aboogerwako mu Bayibuli?

10 Okusobola okukoppa omuntu kikwetaagisa okusooka okumwetegereza obulungi. Ng’osoma ebikwata ku basajja n’abakazi abo abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi, ojja kukiraba nti okunoonyereza kwakolebwa okusobola okuwandiika ekitabo kino. Naawe okubirizibwa okwongera okunoonyereza ku bantu abo. Nga weesomesa, kozesa ebintu eby’enjawulo ebituyamba mu kunoonyereza. Ng’ofumiitiriza ku ebyo by’osoma, lowooza ku kifo abantu abo kye baalimu n’ebyo ebyaliwo. Kuba akafaananyi ng’oli mu kifo ekyo, ng’olaba era ng’owulira ebigenda mu maaso. N’ekisinga obukulu, gezaako okumanya enneewulira gye baalina mu kaseera ako. Wesse mu bigere byabwe. Bw’onookola bw’otyo, abantu abo ojja kweyongera okubamanya era bajja kuba ba ddala gy’oli. Abamu ojja kutandika okubatwalira ddala nga mikwano gyo.

11, 12. (a) Oyinza otya okweyongera okumanya Ibulayimu ne Saala? (b) Oyinza otya okuganyulwa mu kyokulabirako kya Kaana, Eriya, oba ekya Samwiri?

11 Bw’oneeyongera okubategeera obulungi, ojja kwagala okubakoppa. Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi ng’oweereddwa obuvunaanyizibwa. Oyinza okuba ng’osabiddwa okugenda okubuulira mu kitundu awali obwetaavu obusingawo oba okwenyigira mu ngeri emu oba endala ey’obuweereza gy’otamanyiiridde. Ng’olowooza ku ngeri gy’onootuukirizaamu obuvunaanyizibwa obwo era nga bw’osaba ne Yakuwa, tekyandikuganyudde okufumiitiriza ku kyokulabirako kya Ibulayimu? Ibulayimu ne Saala beerekereza obulamu obulungi bwe baalimu e Uli era Yakuwa yabawa emikisa mingi. Bw’obakoppa, weeyongera okubategeera obulungi.

12 Watya nga waliwo omuntu akunyiizizza era n’owulira nga tokyayagala na kugenda mu nkuŋŋaana? Bw’ofumiitiriza ku Kaana n’engeri gye yeeyisaamu nga Penina amukijjanya, kijja kukuyamba okusalawo obulungi era kijja kukuleetera okwongera okwagala Kaana. Mu ngeri y’emu, bw’oba muli owulira nga tolina mugaso oyinza okuddamu amaanyi bw’osoma ku bizibu Eriya bye yayolekagana nabyo era n’engeri Yakuwa gye yamubudaabudamu. N’abavubuka abapikirizibwa bayizi bannaabwe okwenyigira mu mpisa ez’obugwenyufu bayinza okweyongera okwagala Samwiri bwe basoma ku ngeri gye yeewalamu empisa mbi eza batabani ba Eli abaali baweereza ku weema entukuvu.

13. Okukoppa okukkiriza kw’abantu abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli kireetera okukkiriza kwo obutaba kwa muwendo mu maaso Yakuwa? Nnyonnyola.

13 Okukkiriza kwe tukoppye obukoppi ku balala kuba kwa muwendo mu maaso ga Yakuwa? Yee! Ekigambo kya Yakuwa kitukubiriza okukoppa abantu abalina okukkiriza okw’amaanyi. (1 Kol. 4:16; 11:1; 2 Bas. 3:7, 9) N’abamu ku abo be tugenda okusomako mu kitabo kino nabo baakoppa okukkiriza kw’abaweereza ba Katonda abaabasookawo. Ng’ekyokulabirako, mu Ssuula 17 tujja kulaba nti Maliyamu yajuliza ebigambo Kaana bye yayogera, ekiraga nti yali akoppa ekyokulabirako kye. Kati ekyo kitegeeza nti okukkiriza kwa Maliyamu tekwali kwa muwendo mu maaso ga Yakuwa? Nedda! Maliyamu yakoppa Kaana, bw’atyo n’asobola okukola erinnya eddungi mu maaso ga Yakuwa Katonda.

14, 15. Biki ebiri mu kitabo kino, era tuyinza tutya okukikozesa?

14 Ekitabo kino kikubiddwa okukuyamba okunyweza okukkiriza kwo. Ebiri mu ssuula eziddako biggiddwa mu bitundu ebirina omutwe ogugamba nti: “Koppa Okukkiriza Kwabwe” ebizze bifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi okuva mu 2008 okutuuka 2013. Naye waliwo ebintu ebipya ebyongeddwamu. Buli kitundu ekisomebwa kirimu ebibuuzo ebisobola okutuyamba okukubaganya ebirowoozo era n’okulowooza ku ngeri gye tuyinza okussa mu nkola ebyo bye tuba tuyize. Ekitabo kino kirimu ebifaananyi ebirabika obulungi. Ate era kirimu mmaapu n’ebipande ebiraga emyaka ebintu ebimu we byabeererawo. Ekitabo Koppa Okukkiriza Kwabwe tujja kukikozesa mu kwesomesa, mu kusoma kw’amaka, ne mu kuyiga Bayibuli okw’ekibiina. Amaka agamu gayinza n’okusalawo okusomeranga awamu ebitundu ebimu mu ddoboozi ery’omwanguka.

15 Ekitabo kino ka kikuyambe okukoppa okukkiriza kw’abaweereza ba Yakuwa ab’edda. Era ka kikuyambe okunyweza okukkiriza kwo osobole okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaawo ow’omu ggulu, Yakuwa!