Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 5 • EBIKOLWA 15:1-35

“Abatume n’Abakadde ne Bakuŋŋaana Wamu”

“Abatume n’Abakadde ne Bakuŋŋaana Wamu”

EBIKOLWA 15:6

Waliwo ensonga eyajjawo eyali eyinza okuviirako ebibiina okubaamu enjawukana n’okuggwaamu emirembe. Ebibiina byanoonya wa obulagirizi okusobola okugonjoola ensonga eyo? Mu kitundu kino tugenda kubaako bye tuyigira ku ngeri ekibiina eky’omu kyasa ekyasooka gye kyali kitegekeddwamu, n’engeri abantu ba Katonda leero gye basobola okukoppa ekyokulabirako Abakristaayo abaasooka kye bassaawo.