Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Akatabo kano akakozesebwa mu kuyigiriza abantu Bayibuli kasobola okukuyamba okumanya Bayibuli ky’eyogera ku bintu ebitali bimu, gamba ng’ensonga lwaki tubonaabona, bwe tufa tulaga wa, engeri y’okufuna essanyu mu maka, n’ebirala.

Katonda Atwagaliza Bulamu bwa Ngeri Ki?

Oyinza okuba nga weebuuza lwaki waliwo ebizibu bingi leero. Bayibuli egamba nti mu kiseera ekitali kya wala Katonda ajja kuggyawo ebizibu gamba ng’obulwadde n’okufa.

ESSUULA 1

Katonda y’Ani?

Olowooza Katonda akufaako? Yiga ebikwata ku Katonda era n’engeri gy’oyinza okufuuka mukwano gwe.

ESSUULA 2

Bayibuli—Ekitabo Ekiva Eri Katonda

Bayibuli eyinza etya okukuyamba okwaŋŋanga ebizibu byo? Lwaki wandyesize obunnabbi obuli mu Bayibuli?

ESSUULA 3

Katonda Yalina Kigendererwa Ki Okutonda Abantu?

Obulamu bulibeera butya ng’ensi emaze okufuuka olusuku lwa Katonda?

ESSUULA 4

Yesu Kristo y’Ani?

Manya ensonga lwaki Yesu ye Masiya eyasuubizibwa, wa gye yava, era lwaki ayitibwa Omwana wa Yakuwa eyazaalibwa omu yekka.

ESSUULA 5

Ekinunulo—Ekirabo eky’Omuwendo Ennyo Katonda Kye Yatuwa

Ekinunulo kye ki? Kiyinza kitya okukuganyula?

ESSUULA 6

Bwe Tufa Tulaga Wa?

Manya ekyo Bayibuli ky’eyogera ku bafu, wa gye bali, n’ensonga lwaki abantu bafa.

ESSUULA 7

Wajja Kubaawo Okuzuukira!

Wali ofiiriddwako omuntu wo? Kisoboka okuddamu okumulaba? Laba ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kuzuukira.

ESSUULA 8

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

Abantu bangi bamanyi Essaala ya Mukama Waffe. Ebigambo “Obwakabaka bwo bujje” birina makulu ki?

ESSUULA 9

Enkomerero Eri Kumpi?

Engeri abantu gye beeyisaamu n’endowooza ze balina biraga nti enkomerero eri kumpi, nga Bayibuli bwe yagamba.

ESSUULA 10

Ebikwata ku Bamalayika ne Badayimooni

Bayibuli eyogera ku bamalayika ne badayimooni. Bamalayika ne badayimooni ddala gye bali? Basobola okutuyamba oba okututusaako akabi?

ESSUULA 11

Lwaki Waliwo Okubonaabona Kungi mu Nsi?

Abantu bangi balowooza nti Katonda y’aleeta okubonaabona okuliwo mu nsi. Ggwe olowooza otya? Laba ensonga Katonda z’awa lwaki waliwo okubonaabona.

ESSUULA 12

Oyinza Otya Okufuuka Mukwano gwa Katonda?

Osobola okweyisa mu ngeri esanyusa Yakuwa. Mu butuufu, osobola okufuuka mukwano gwe.

ESSUULA 13

Obulamu Butwale nga bwa Muwendo

Katonda atwala atya okuggyamu embuto, okuteekebwako omusaayi, n’obulamu bw’ensolo?

ESSUULA 14

Amaka go Gasobola Okubaamu Essanyu

Abaami, abakyala, abazadde, n’abaana basobola okukoppa okwagala Yesu kwe yalaga. Tuyinza tutya okumukoppa?

ESSUULA 15

Engeri Entuufu ey’Okusinzaamu Katonda

Laba ebintu mukaaga ebisobola okutuyamba okumanya abo abali mu ddiini ey’amazima.

ESSUULA 16

Salawo Okusinza Katonda mu Ngeri Entuufu

Kusoomoozebwa ki kw’oyinza okufuna ng’obuulirako abalala enzikiriza zo? Oyinza otya okukikola mu ngeri etajja kubaleetera kunyiiga?

ESSUULA 17

Enkizo ey’Okusaba

Katonda awuliriza ng’omusaba? Okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, weetaaga okumanya Bayibuli ky’eyigiriza ku kusaba.

ESSUULA 18

Kinneetaagisa Okwewaayo eri Katonda n’Okubatizibwa?

Biki omuntu by’alina okukola nga tannabatizibwa? Manya amakulu g’okubatizibwa era n’engeri gye kulina okukolebwamu.

ESSUULA 19

Sigala ng’Olina Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Yakuwa

Tuyinza tutya okulaga Katonda nti tumwagala era nti tusiima byonna by’atukoledde?

Ebyongerezeddwako

Amakulu g’ebigambo ebikozesebwa mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?