ESSUULA EY’OMUKAAGA
Bwe Tufa Tulaga Wa?
1-3. Bibuuzo ki ebikwata ku bafu abantu bye beebuuza, era amadiini agamu gabiddamu gatya?
BAYIBULI egamba nti ekiseera kijja kutuuka okufa kube nga tekukyaliwo. (Okubikkulirwa 21:4) Mu Ssuula ey’okutaano twayiga ku kinunulo, twalaba nti ekinunulo kitusobozesa okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Naye abantu bakyafa. (Omubuulizi 9:5) N’olwekyo, ekimu ku bibuuzo bye twebuuza kiri nti, Abafu bali ludda wa?
2 Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kikulu nnyo naddala bwe tuba nga tufiiriddwa omuntu waffe. Tuyinza okwebuuza nti: ‘Alaze wa? Atulaba? Asobola okutuyamba? Tuliddamu okumulaba?’
3 Amadiini gaddamu ebibuuzo ebyo mu ngeri za njawulo. Agamu gayigiriza nti bw’oba ng’obadde okola ebintu ebirungi ogenda mu ggulu, ate bw’oba ng’obadde okola ebintu ebibi, ogenda mu muliro ogutazikira. Amalala gagamba nti bw’ofa ofuuka muzimu ne weegatta ku b’eŋŋanda zo abaafa. Ate amalala gagamba nti oluvannyuma lw’okufa, osalirwa omusango, n’oddamu okuzaalibwa oba n’okomawo nate mu bulamu ng’omuntu omulala oba ng’ensolo.
4. Amadiini gayigiriza ki ku kufa?
4 Amadiini galabika ng’agayigiriza ebintu eby’enjawulo ku kufa, naye gonna kumpi gayigiriza ekintu kye kimu. Gayigiriza nti omuntu bw’afa, waliwo ekintu ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu era nti kibaako we kiraga. Naye ddala ekyo kituufu?
KIKI EKITUUKA KU MUNTU NG’AFUDDE?
5, 6. Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?
5 Yakuwa amanyi bulungi ekituuka ku muntu ng’afudde, era agamba nti omuntu bw’afa, obulamu bwe bukoma. Okufa bwe butaba na bulamu. N’olwekyo, omuntu bw’afa, aba takyalina nneewulira yonna era aba takyalina ky’ajjukira. * Omuntu bw’afa aba takyasobola kulaba, kuwulira, wadde okulowooza.
6 Kabaka Sulemaani yagamba nti, “abafu tebaliiko kye bamanyi.” Abafu tebasobola kwoleka kwagala wadde obukyayi eri omuntu yenna, era “emagombe . . . teriiyo mulimu, wadde okukola enteekateeka, wadde okumanya, wadde amagezi.” (Soma Omubuulizi 9:5, 6, 10.) Ate mu Zabbuli 146:4, Bayibuli egamba nti omuntu bw’afa, “ebirowoozo bye” bisaanawo.
YESU KYE YAYOGERA KU KUFA
7. Yesu okufa yakugeraageranya ku ki?
7 Laazaalo, mukwano gwa Yesu, bwe yafa, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Laazaalo mukwano gwaffe yeebase.” Naye Yesu yali tategeeza nti Laazaalo yali yeebase tulo. Oluvannyuma Yesu yabagamba kaati nti: “Laazaalo afudde.” (Yokaana 11:11-14) N’olwekyo, Yesu yageraageranya okufa ku kwebaka otulo. Teyagamba nti Laazaalo yali agenze mu ggulu oba nti yali ali wamu n’ab’eŋŋanda ze abaafa. Ate era teyagamba nti Laazaalo yali abonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira, oba nti yali azzeemu okuzaalibwa ng’omuntu omulala oba ng’ensolo. Laazaalo bwe yafa, yali ng’ali mu tulo otungi ennyo. Waliwo n’ebyawandiikibwa ebirala ebigeraageranya okufa ku kwebaka. Bayibuli egamba nti Siteefano bwe yattibwa, “yeebaka mu kufa.” (Ebikolwa 7:60, obugambo obuli wansi) N’omutume Pawulo yagamba nti Abakristaayo abamu baali “beebaka mu kufa.”—1 Abakkolinso 15:6, obugambo obuli wansi.
8. Tumanya tutya nti Katonda teyatonda bantu nga ba kufa?
8 Katonda yatonda Adamu ne Kaawa nga ba kufa? Nedda! Yakuwa yabatonda nga ba kubeerawo emirembe gyonna ate nga balamu bulungi. Yakuwa bwe yatonda abantu, yabateekamu ekirowoozo eky’okwagala okubeerawo emirembe gyonna. (Omubuulizi 3:11) Teri muzadde yandyagalizza baana be kukaddiwa oba kufa, era ne Yakuwa si ky’atwagaliza. Naye bwe kiba nti Katonda yatutonda ng’ayagala tubeerewo emirembe gyonna, kati olwo lwaki tufa?
LWAKI ABANTU BAFA?
9. Lwaki etteeka Yakuwa lye yawa Adamu ne Kaawa teryali zzibu kugondera?
9 Yakuwa yagamba Adamu mu lusuku Edeni nti: “Ku buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’oyagala. Naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi togulyangako, kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Olubereberye 2:9, 16, 17) Etteeka eryo lyali litegeerekeka bulungi era teryali zzibu kugondera. Ate era Yakuwa ye yalina obuyinza okusalirawo Adamu ne Kaawa ekirungi n’ekibi. Singa Adamu ne Kaawa baagondera Yakuwa, kyandibadde kiraga nti bamussaamu ekitiibwa. Ate era kyandiraze nti basiima ebintu byonna bye yali abakoledde.
10, 11. (a) Sitaani yalimbalimba atya Adamu ne Kaawa? (b) Lwaki Adamu ne Kaawa baali tebalina kya kwekwasa?
10 Eky’ennaku, Adamu ne Kaawa baasalawo okujeemera Yakuwa. Sitaani yagamba Kaawa nti: “Ddala Katonda yagamba nti temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?” Kaawa yamuddamu nti: “Tusobola okulya ku bibala eby’emiti egy’omu lusuku. Naye ku bibala eby’omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yagamba nti, ‘Temugulyangako wadde okugukwatako. Bwe munaakikola mujja kufa.’”—Olubereberye 3:1-3.
11 Sitaani yamugamba nti: “Okufa temujja kufa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako, amaaso gammwe lwe galizibuka ne muba nga Katonda, nga mumanyi ekirungi n’ekibi.” (Olubereberye 3:4-6) Sitaani yali ayagala Kaawa alowooze nti ye yalina okwesalirawo ekirungi n’ekibi. Ate era Sitaani yalimba Kaawa nti bwe yandijeemedde Katonda teyandifudde. Bw’atyo Kaawa yalya ku kibala era n’atwalira ne ku mwami we. Adamu ne Kaawa baali bakimanyi bulungi nti Yakuwa yali abagaanye okulya ku kibala ekyo. Bwe baalya ekibala ekyo, baalaga nti baali basazeewo okujeemera etteeka eryali litegeerekeka obulungi era eritaali zzibu. Ate era kye baakola kyalaga nti baali tebassizza kitiibwa mu Kitaabwe ow’omu ggulu eyali abaagala ennyo. Baali tebalina kya kwekwasa!
12. Lwaki kyali kinakuwaza nnyo okuba nti Adamu ne Kaawa baajeemera Yakuwa?
12 Nga kibi nnyo okuba nti bazadde baffe abaasooka tebassa kitiibwa mu Mutonzi waabwe! Wandiwulidde otya singa oba ofubye okukuza obulungi mutabani wo ne muwala wo naye oluvannyuma ne bakujeemera ne bakola ekyo kye wabagaana? Ekyo tekyandikunakuwazza nnyo?
13. Yakuwa yali ategeeza ki bwe yagamba Adamu nti “mu nfuufu mw’olidda”?
13 Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Yakuwa, baafiirwa enkizo ey’okubeera abalamu emirembe gyonna. Yakuwa yagamba Adamu nti: “Oli nfuufu era mu nfuufu mw’olidda.” (Soma Olubereberye 3:19.) Ekyo kyali kitegeeza nti Adamu yandizzeemu okubeera enfuufu, n’aba ng’atabangawoko. (Olubereberye 2:7) Adamu bwe yayonoona yafa, bw’atyo n’aba nga takyaliwo.
14. Lwaki tufa?
14 Singa Adamu ne Abaruumi 5:12) Naye ekyo Katonda si kye yali ayagaliza abantu. Katonda yali tayagala bantu babeere nga bafa, era okufa Bayibuli ekuyita ‘mulabe.’—1 Abakkolinso 15:26.
Kaawa baagondera Katonda, bandibadde bakyali balamu. Naye bwe baamujeemera, baayonoona, era oluvannyuma baafa. Ekibi kiringa obulwadde obw’akabi ennyo bwe twasikira okuva ku bazadde baffe abaasooka. Ffenna tuzaalibwa nga tulina ekibi, era eyo ye nsonga lwaki tufa. (AMAZIMA GATUFUULA BA DDEMBE
15. Okumanya ekituufu ekituuka ku muntu ng’afudde kitufuula kitya ab’eddembe?
15 Okumanya ekituufu ekituuka ku muntu ng’afudde kitufuula ba ddembe kubanga tuba tetukyafugibwa ndowooza nkyamu. Bayibuli eyigiriza nti abafu tebawulira bulumi wadde ennaku. Tetusobola kwogera nabo, era nabo tebasobola kwogera naffe. Tetusobola kubayamba, era nabo tebasobola kutuyamba. Tebasobola kututuusaako kabi konna, n’olwekyo tetulina kubatya. Kyokka amadiini mangi gagamba nti abafu baba bakyali balamu nga baliko we bali, era nti singa tuwa abakulu b’amadiini ssente bayinza okubasabira. Naye bwe tuba tumaze okutegeera ekituufu ekituuka ku muntu ng’afudde, tuba tetukyasobola kulimbibwalimbibwa mu ngeri eyo.
16. Kintu ki eky’obulimba amadiini mangi kye gayigiriza ku bafu?
16 Sitaani akozesa amadiini ag’obulimba okutuleetera okulowooza nti abafu bakyali balamu. Ng’ekyokulabirako, amadiini agamu gayigiriza nti omuntu bw’afa, wabaawo ekimuvaamu ekisigala nga kiramu era ne kibaako we kiraga. Eddiini yo bw’etyo bw’eyigiriza, oba eyigiriza ekyo Bayibuli ky’eyogera ku bafu? Sitaani akozesa obulimba okuggya abantu ku Yakuwa.
17. Lwaki enjigiriza egamba nti abantu ababi bookebwa mu muliro ogutazikira evumaganya Yakuwa?
bookebwa mu muliro ogutazikira emirembe n’emirembe. Enjigiriza eyo ey’obulimba evumaganya Yakuwa. Tasobola kubonyaabonya bantu mu ngeri eyo! (Soma 1 Yokaana 4:8.) Wanditutte otya omuntu ayokya omwana we engalo ng’alina ekikyamu ky’akoze? Wandimututte ng’omuntu omutemu, era tewandyagadde afuuke na mukwano gwo. Bw’atyo Sitaani bw’ayagala tutwale Yakuwa!
17 Ebyo amadiini agasinga obungi bye gayigiriza bikwasa ennaku. Ng’ekyokulabirako, agamu gayigiriza nti abantu ababi bwe bafa18. Lwaki tetulina kutya bafu?
18 Amadiini agamu gagamba nti abantu bwe bafa bafuuka mizimu. Amadiini ago gayigiriza nti tulina okuwa emizimu egyo ekitiibwa era n’okugitya kubanga gisobola okutuyamba oba okutulumya. Abantu bangi bakkiriza obulimba obwo. Batya abafu era babasinza mu kifo ky’okusinza Yakuwa. Naye kijjukire nti abafu tebaliiko kye bamanyi, n’olwekyo tetulina kubatya. Yakuwa ye Mutonzi waffe. Ye Katonda ow’amazima, era ye yekka gwe tulina okusinza.—Okubikkulirwa 4:11.
19. Okumanya ekituufu ekituuka ku bafu kituganyula kitya?
19 Bwe tumanya ekituufu ekituuka ku muntu ng’afudde, tuba tetukyafugibwa njigiriza za bulimba. Ate era okumanya amazima ago kitusobozesa okutegeera ebintu ebirungi Yakuwa by’atusuubizza.
20. Kiki kye tujja okulaba mu ssuula eddako?
20 Edda ennyo, omuweereza wa Katonda ayitibwa Yobu yabuuza nti: “Omuntu bw’afa, asobola okuddamu okuba omulamu?” (Yobu 14:14) Ddala omuntu eyafa asobola okuddamu okuba omulamu? Eky’okuddamu Katonda ky’awa okuyitira mu Bayibuli kibuguumiriza nnyo. Tujja kukiraba mu ssuula eddako.
^ lup. 5 Abamu balowooza nti omuntu bw’afa, omwoyo gumuvaamu ne gusigala nga mulamu. Okumanya ebisingawo, laba Ekyongerezeddwako Na. 17 ne 18.