Nnyinza Ntya Okugumira Ennaku Yange?
MIKE yannyonnyola bw’ati ekyamutuukako nga kitaawe afudde: “Nnawulira ekizibu eky’amaanyi bwe nnakweka enneewulira yange.” Mike yali alowooza nti omusajja talina kwoleka nnaku ye. Kyokka, oluvannyuma yakizuula nti yali mukyamu. Bwe kityo, mukwano gwe bwe yafiirwa jjajjaawe, Mike yali amanyi eky’okukola. Yagamba: “Emyaka mitono emabega nnandimukutte ku kibegabega ne mmugamba nti, ‘Guma masajja.’ Naye ku luno nnamukwata ku mukono ne mmugamba nti: ‘Tokweka nneewulira yo. Ekyo kijja kukuyamba okugumira ennaku gy’olina. Bw’oba oyagala ŋŋende, nja kugenda. Bw’oba oyagala nsigale nja kusigala. Naye, totya kwoleka nneewulira yo.’”
MaryAnne naye yawulira ekizibu eky’amaanyi bwe yazibiikiriza enneewulira ye ng’omwami we afudde. Agamba bw’ati: “Nnayagala nnyo okuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi nga nneeziyiza okwoleka engeri gye nneewuliramu. Naye oluvannyuma nnakitegeera nti okugezaako okugumya abalala nga nkweka enneewulira yange kyali tekinnyamba. Nnatandika okulowooza ku mbeera yange era muli ne ŋŋamba nti: ‘Kaaba bw’oba owulira ng’oyagala kukaaba. Togezaako kwegumyagumya. Yoleka enneewulira yo oluvannyuma ojja kuwulira bulungi.’”
N’olwekyo, Mike ne MaryAnne bakubiriza bwe bati abalala: Yoleka enneewulira yo! Era nga batuufu. Lwaki? Kubanga okwoleka enneewulira kuviirako omuntu okufuna obuweerero ne kikendeeza ku nnaku gy’aba nayo. Bw’omanya ekituufu ky’olina okukola, kikuyamba okwoleka enneewulira yo mu ngeri esaanira.
Kyo kituufu nti buli muntu ayoleka ennaku mu ngeri ya njawulo. Ate era, n’engeri omuntu gy’afuddemu, gamba, ng’okufa ekibwatukira oba oluvannyuma lw’okulwalira ebbanga eddene, erina ky’ekola ku ngeri abafiirwa gye boolekamu ennaku yaabwe. Naye waliwo ekintu kimu kye tulina okumanya: Okuzibiikiriza engeri gye weewuliramu kya kabi eri omubiri n’ebirowoozo by’omuntu. Okwoleka ennaku kya muganyulo nnyo eri obulamu bwo. Kino oyinza kukikola otya? Ebyawandiikibwa birimu amagezi amalungi.
Oyinza Otya Okukendeeza ku Nnaku Yo?
Okwogera kuyinza okukuyamba. Oluvannyuma lw’okufiirwa abaana be ekkumi, awamu n’okutuukibwako ebizibu ebirala eby’amaanyi, Yobu eyaliwo edda ennyo yagamba: “Emmeeme yange enyiye obulamu bwange; naafukumula okwemulugunya kwange; Yobu 1:2, 18, 19; 10:1) Yobu yali takyayinza kuzibiikiriza nnaku ye. Yalina okugyoleka, ‘ng’agyogerako.’ Mu ngeri y’emu, omuwandiisi w’emizannyo Omungereza ayitibwa Shakespeare yawandiika bw’ati mu kitabo ekiyitibwa Macbeth: “Yoleka ennaku, ennaku ezibiikiriziddwa ejjula omutima era egumenya.”
naayogeza kkabyo lya emmeeme yange!” (N’olwekyo, okubuulirako ‘mukwano’ gwo omwetegefu okukuwuliriza, kijja kukuviirako okufuna obuweerero. (Engero 17:17) Okwogera ku bintu ebibaddewo era n’engeri gye weewuliramu kiyinza okukuyamba okugumira ennaku gy’olina. Ate era, singa gw’oyogera naye aba yafiirwako, era nga yasobola okwaŋŋanga embeera eyo, oyinza okubaako by’omuyigirako ebiyinza okukuyamba okwaŋŋanga embeera gy’olimu. Maama omu eyafiirwa omwana we yannyonnyola ensonga lwaki yaganyulwa nnyo bwe yayogerako n’omukyala omu eyali ayiseeko mu mbeera y’emu: “Okumanya nti omuntu yayitako mu mbeera gye ndimu, era ne nkitegeera nti asobodde okubeerawo era nga n’embeera ye etandise okulongooka, kyanzizaamu nnyo amaanyi.”
Watya singa ozibuwalirwa okwogera ku ngeri gye weewuliramu? Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo ne Yonasaani, Dawudi yayiiya oluyimba olwamuyamba okwoleka ennaku ye. Oluyimba luno olw’okukungubaga, oluvannyuma lwawandiikibwa mu Baibuli mu kitabo kya Samwiri eky’Okubiri. (2 Samwiri 1:17-27; 2 Ebyomumirembe 35:25) Mu ngeri y’emu, abamu banguyirwa okwoleka enneewulira yaabwe okuyitira mu kuwandiika. Nnamwandu omu yagamba nti yawandiikanga engeri gye yeewulirangamu, ate oluvannyuma lw’ennaku n’asoma mu bye yawandiika. Yakizuula nti kyamuyamba okukendeeza ku nnaku ye.
K’obe ng’oyitidde mu kwogera oba mu kuwandiika, okubuulirako abalala ku nneewulira yo kisobola okukuyamba okukendeeza ku nnaku gy’olina. Ate era, kiyinza okumalawo obutategeeragana. Maama omu eyali afiiriddwa omwana yagamba nti: “Nze n’omwami wange, twali tuwulidde ku bafumbo abaagattululwa oluvannyuma lw’okufiirwa omwana era twali tetwagala ekyo kitutuukeko. N’olwekyo, buli lwe twanyiiganga, mu kifo ky’okunenyagana twagezangako okutereeza ensonga nga tuzoogerako. Ndowooza nti kino kyatuyamba okweyongera okukolaganira awamu.” N’olwekyo, okubuulirako abalala ku ngeri gye weewuliramu kijja kukuyamba okukitegeera nti ka mube nga mmwenna mufiiriddwa, buli omu alumwa mu ngeri ya njawulo.
Ekintu ekirala ekiyinza okukuyamba okukendeeza ku nnaku gy’olina, kwe kukaaba. Baibuli egamba nti wabaawo ‘ekiseera eky’okukaabiramu.’ (Omubuulizi 3:1, 4) Awatali kubuusabuusa bw’oba ng’ofiiriddwa omwagala wo, ekyo kiba kiseera kya kukaabiramu. Okukaaba kye kimu ku bintu ebiyamba omuntu afiiriddwa okukendeeza ku nnaku ye.
Omukyala omu yannyonnyola engeri mukwano gwe gye yamuyamba okuguma oluvannyuma lw’okufiirwa Abaruumi 12:15.) Era naawe okukaaba tekusaanidde kukukwasa nsonyi. Nga bwe tulabye, mu Baibuli mulimu ebyokulabirako bingi nnyo eby’abasajja n’abakazi abeesigwa nga mw’otwalidde ne Yesu, abataakwatibwa nsonyi kukaabira mu lujudde.—Olubereberye 50:3; 2 Samwiri 1:11, 12; Yokaana 11:33, 35.
maama we. Yagamba: “Mukwano gwange yalingawo buli lwe nnabanga mwetaaga. Yakaabiranga wamu nange. Yayogeranga nange. Saatya kwoleka nneewulira yange era ekyo kyannyamba nnyo. Saakwatibwa nsonyi kukaaba.” (LabaOluusi ojja kwesanga ng’oyolese enneewulira yo ne mu kiseera ky’otasuubiriramu. Amaziga gayinza okukuyitamu ng’obadde tokirowooza nako. Nnamwandu omu yeesanganga ng’akulukusizza amaziga buli lwe yagendanga ku dduuka (ekintu kye yateranga okukola n’omwami we) naddala buli lwe yatuukanga ku bintu omwami we bye yali ayagala ennyo. Ekyo bwe kibaawo, toggwaamu maanyi. Era togezaako kuziyiza maziga. Jjukira nti kya mu butonde okukaaba era kyetaagisa okusobola okugumira ennaku.
Okuvvuunuka Okulumirizibwa
Nga bwe kyayogeddwako emabegako, abamu balumirizibwa nga bafiiriddwa omwagalwa waabwe. Kino kituyamba okutegeera ensonga lwaki omusajja omwesigwa Yakobo yanakuwala nnyo bwe baamugamba nti mutabani we Yusufu attiddwa ‘ensolo enkambwe.’ Yakobo kennyini, ye yali atumye Yusufu okulaba embeera baganda be gye baalimu. N’olwekyo, kirabika nga Yakobo yatandika okulumirizibwa era nga yeebuuza ebibuuzo nga, ‘Lwaki nnatuma Yusufu ng’ali yekka? Lwaki nnamutuma mu kifo kino omuli ensolo enkambwe?’—Olubereberye 37:33-35.
Oboolyawo owulira nti, olina engeri gye walagajjalamu ne kiviirako omwagalwa wo okufa. Okuba ne nneewulira ng’eyo—ka kibe nti ensonga gy’olowoozaako ntuufu oba ng’oteebereza nteebereze, kintu kya bulijjo era kiyinza okukuyamba. Ne mu mbeera ng’eno tolina kusirika busirisi. Okwogera ku ngeri gye weewuliramu kiyinza okukendeeza ku nnaku gy’olina.
Kyokka, kijjukire nti k’obe ng’omuntu omwagala nnyo, tosobola kumuziyiza kufa wadde okukugira ‘ebiOmubuulizi 9:11, NW) Ng’oggyeko ekyo, tewalina biruubirirwa bikyamu. Ng’ekyokulabirako, mu butayanguwa kulaba musawo, wali okigenderera omwagalwa wo alwale afe? N’akatono! Kati olwo ggwe wamuviiriddeko okufa? Nedda.
seera n’ebintu ebigwawo obugwi.’ (Maama omu yasobola okwaŋŋanga ekizibu ky’okulumirizibwa oluvannyuma lw’okufiirwa muwala we mu kabenje. Yannyonnyola bw’ati: “Muli nnawulira nga nnumirizibwa olw’okumukkiriza okutambulako. Naye nnakitegeera nti si kituufu okuwulira bw’etyo. Tekyali kikyamu okumukkiriza okutambulako ne kitaawe. Kaali kabenje bubenje ak’amaanyi.”
Oyinza okugamba nti: ‘Naye waliwo ebintu bingi bye nnandyogedde oba bye nnandikoze.’ Ekyo kituufu, naye ani ku ffe ayinza okugamba nti abadde taata oba maama oba omwana atuukiridde? Baibuli etujjukiza nti: “Mu bingi tusobya ffenna. Omuntu yenna bw’atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira.” (Yakobo 3:2; Abaruumi 5:12) N’olwekyo, kitegeere nti totuukiridde. Okudda awo okugamba nti “singa nnamanya” tekijja kukyusa ku mbeera, wabula kijja kukuviirako okulwawo okuvvuunuka ennaku gy’olimu.
Bw’oba ng’olina ensonga z’osinziirako okulumirizibwa, nga toteebereza nteebereze, lowooza ku kintu ekirala ekikulu ennyo ekiyinza okukuyamba okuvvuunuka enneewulira ng’eyo—nga kino ye ngeri Katonda gy’asonyiwamu. Baibuli egamba nti: “Bw’onoo[laba]nga ebitali bya butuukirivu, ai Mukama, aliyimirira aliwa? Naye waliwo okusonyiwa w’oli.” (Zabbuli 130:3, 4) Ggwe ng’omuntu tolina ky’osobola kukyusa. Kyokka, osobola okusaba Katonda okukusonyiwa ensobi zo ez’emabega. Kati olwo kiki kye wandikoze? Bwe kiba nti Katonda akusuubiza okukusonyiwa ebibi byo, olwo ggwe tewandyesonyiye?—Engero 28:13; 1 Yokaana 1:9.
Okuvvuunuka Obusungu
Naawe owulira ng’osunguwalidde abantu abamu, gamba ng’abasawo, ab’emikwano, oba n’omufu yennyini? Jjukira nti kino nakyo kitera okubaawo ng’omuntu afiiriddwa. Oboolyawo oyinza okuba owulira obusungu olw’okuba olumiddwa nnyo. Omuwandiisi omu yagamba: “Okumanya nti olina obusungu, naye [n’obufuga,] kijja kukuyamba okwewala ebintu ebibi ebiva mu busungu.”
Ate era, ekiyinza okukuyamba kwe kubuulirako abalala nti owulira obusungu. Kino oyinza kukikola otya? Tokikola ng’obaboggolera. Baibuli egamba nti kya kabi omuntu okusiba obusungu. (Engero 14:29, 30) Okubuulirako mukwano gwo akutegeera obulungi, kiyinza okukuyamba. Ate abalala bakisanga nti okukola ebintu ebiwa omubiri amaanyi, gamba ng’okudduka, kibayamba okuvvuunuka obusungu.—Laba ne Abeefeso 4:25, 26.
Wadde nga kikulu okubuulirako abalala mu bwesimbu engeri gye weewuliramu, waliwo kye tusaanidde okwegendereza. Waliwo enjawulo ya maanyi wakati w’okwoleka enneewulira yo n’okunenya abalala. Tekyetaagisa n’akamu kunenya balala olw’okuba oli musunguwavu oba osobeddwa. N’olwekyo, yogera ku ngeri gye weewuliramu naye si mu ngeri ey’obukambwe. (Engero 18:21) Waliwo engeri esingirayo ddala obukulu eyinza okukuyamba okwaŋŋanga ennaku era nga kati gye tugenda okwogerako.
Obuyambi Obuva eri Katonda
Baibuli etukakasa nti: “Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.” (Zabbuli 34:18) Mazima ddala, okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda kiyinza okukuyamba okwaŋŋanga ekizibu ky’okufiirwa omwagalwa wo. Mu ngeri ki? Amagezi gonna agaweereddwa mu kitundu kino geesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, Baibuli. Okugakolerako kiyinza okukuyamba.
Ate era, togaya bukulu bwa kusaba. Baibuli etukubiriza bw’eti: “Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga.” (Zabbuli 55:22) Bwe kiba nti, okweyabiza mukwano gwo afaayo kiyinza okukuyamba, kati olwo okweyabiza Katonda ‘ow’okubudaabuda okungi ennyo’ tekiisingewo nnyo okukuyamba!—2 Abakkolinso 1:3, NW.
Okusaba tekutuleetera kuwulira bulungi kyokka. Oyo “awulira okusaba,” asobola okuwa omwoyo gwe omutukuvu abaweereza be abagumusaba mu bwesimbu. (Zabbuli 65:2; Lukka 11:13) Era omwoyo gwa Katonda omutukuvu oba amaanyi g’akozesa, gusobola okukuwa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo’ n’osobola okwaŋŋanga ennaku gy’olimu. (2 Abakkolinso 4:7, NW) Jjukira nti Katonda asobola okuyamba abaweereza be abeesigwa ne bagumira ekizibu kyonna kye baba boolekaganye nakyo.
Omukyala omu eyafiirwa omwana ajjukira engeri okusaba gye kwamuyambamu awamu n’omwami we okuyita mu kiseera eky’okufiirwa. Agamba: “Buli lwe twabeeranga eka ennaku n’etuyitirirako ekiro, twasabiranga wamu mu ddoboozi eriwulikika. Lwe twasooka okugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina oba enkuŋŋaana ennene nga tetuli naye, twasabanga okusobola okufuna amaanyi. Buli lwe twazuukukanga ku makya nga tetumulaba, ennaku n’etuyitirirako, twasabanga Yakuwa okutuyamba. Olw’ensonga emu gye siyinza kunnyonnyola nnatyanga okutambula mu nnyumba nzekka. Bwe kityo, buli lwe nnakomangawo eka nzekka, nnalinanga okusaba Yakuwa okunnyamba okusobola okukkakkana.” Omukyala ono omwesigwa mukakafu nti okusaba okwo kwe kwamuyamba. Naawe bw’onoonyiikira okusaba, ‘emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna gijja kukuuma omutima gwo n’ebirowoozo byo.’—Abafiripi 4:6, 7; Abaruumi 12:12.
Obuyambi obuva eri Katonda buyinza okusobozesa omuntu okufuna obuweerero. Omutume Pawulo yagamba nti Katonda ‘atubudaabuda mu buli kibonyoobonyo kyaffe, ffe tulyoke tuyinzenga okubudaabuda abali mu kubonaabona.’ Kyo kituufu nti obuyambi bwa Katonda tebuggyawo bulumi, naye busobola okukuyamba okugumira ennaku gy’olina. Kino tekitegeeza nti tojja kukaaba oba nti ojja kwerabira omwagalwa wo. Naye ojja kuguma. Ate era, by’onooba oyiseemu bijja kukuyamba okweyongera okutegeera abalala n’okubalumirirwa nga nabo bali mu mbeera ng’eyo.—2 Abakkolinso 1:4.