Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 15

Abakadde Bayamba Batya Ekibiina?

Abakadde Bayamba Batya Ekibiina?

Finland

Ng’ayigiriza

Nga bakyalidde ab’Oluganda

Nga babuulira

Ffe tetulina bakulembeze basasulwa musaala, wabula nga bwe kyali mu kibiina Ekikristaayo nga kyakatandika, ab’oluganda abalina ebisaanyizo balondebwa ‘okulabirira ekibiina kya Katonda.’ (Ebikolwa 20:28) Abakadde abo abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo be balunda ekisibo kya Katonda. Kino tebakikola ‘lwa buwaze wabula kyeyagalire; era si lwa kwagala kubaako bye beefunira, naye lwa kwagala kuweereza.’ (1 Peetero 5:1-3) Biki bye bakola okutuyamba ?

Batufaako era batukuuma. Abakadde bakulembera ekibiina era bayambako mu kukikuuma mu by’omwoyo. Olw’okuba bakimanyi nti Katonda y’abawadde obuvunaanyizibwa obwo obukulu, tebakajjala ku bantu ba Katonda, wabula bafuba okukola ebyo ebituyamba okuba n’obulamu obulungi era obw’essanyu. (2 Abakkolinso 1:24) Ng’omusumba bw’afaayo ennyo ku buli kimu ku bisolo bye, abakadde nabo bafuba okumanya buli omu mu kibiina.​—Engero 27:23.

Batuyigiriza okukola Katonda by’ayagala. Buli wiiki, abakadde bakubiriza enkuŋŋaana mu kibiina okunyweza okukkiriza kwaffe. (Ebikolwa 15:32) Abasajja abo abaweereza n’obunyiikivu be bawoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira. Babuulira wamu naffe era batutendeka okubuulira n’okuyigiriza.

Batuzzaamu amaanyi. Okusobola okutuyamba kinnoomu okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, abakadde b’omu kibiina kyaffe bayinza okutukyalira mu maka gaffe, oba okwogerako naffe nga tugenze mu nkuŋŋaana ne batuzzaamu amaanyi nga bakozesa Ebyawandiikibwa.​—Yakobo 5:14, 15.

Ng’oggyeeko obuvunaanyizibwa bwe baba nabwo mu kibiina, abakadde balina n’ebirala ebitwala ebiseera byabwe. Abasinga obungi balina emirimu gye bakola okweyimirizaawo, era balina n’amaka. Ab’oluganda abo abakola ennyo tusaanidde okubawa ekitiibwa.​—1 Abassessalonika 5:12, 13.

  • Abakadde mu kibiina balina buvunaanyizibwa ki?

  • Abakadde balaga batya nti batufaako?