ESSOMO 13
Payoniya y’Ani?
Ekigambo “payoniya” kiva mu kigambo ky’Olungereza ekitegeeza oyo akulemberamu abalala n’abakolera ekkubo. Tuyinza okugamba nti ne Yesu yali payoniya kubanga yatumibwa ku nsi abuulire abantu, era abaggulirewo ekkubo eribatuusa mu bulokozi. (Matayo 20:28) Leero abagoberezi be bamukoppa nga bawaayo ebiseera bingi okukola omulimu ‘gw’okufuula abantu abayigirizwa.’ (Matayo 28:19, 20) Abamu basobodde okuweereza nga bapayoniya.
Payoniya abeera mubuulizi amala essaawa eziwerako ng’abuulira. Abajulirwa ba Yakuwa bonna babuulira amawulire amalungi. Kyokka abamu ku bo bakoze enteekateeka ezibasobozesa okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo ababuulira essaawa 70 buli mwezi. Kino okusobola okukikola bangi bakola emirimu egitabeetaagisa kukola lunaku lwonna, oba okukola ennaku zonna eza wiiki. Abalala balondebwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu bifo awali obwetaavu obw’amaanyi obw’ababuulizi, era nga buli mwezi babuulira essaawa 130 oba n’okusingawo. Bapayoniya baba bamativu ne bwe baba n’ebintu bitono olw’okuba bakakafu nti Yakuwa ajja kubawa bye beetaaga. (Matayo 6:31-33; 1 Timoseewo 6:6-8) Abo abatasobola kuweereza nga bapayoniya aba bulijjo baweereza nga bapayoniya abawagizi buli lwe baba basobola, era ng’omwezi babuulira essaawa 30 oba 50.
Okwagala Katonda n’abantu kye kireetera omuntu okuweereza nga payoniya. Okufaananako Yesu, tukiraba nti abantu beetaaga okumanya Katonda awamu n’ebigendererwa bye. (Makko 6:34) Bye tuyiga mu Bayibuli bisobola okubayamba mu kiseera kino, era bisobola n’okubawa essuubi erya nnamaddala. Okwagala abantu kuleetera bapayoniya okuwaayo ebiseera bingi n’okukozesa amaanyi gaabwe okuyamba abalala mu by’omwoyo. (Matayo 22:39; 1 Abassessalonika 2:8) Ekyo kinyweza okukkiriza kwabwe, era kibasobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda, n’okuba abasanyufu.—Ebikolwa 20:35.
-
Payoniya y’ani?
-
Kiki ekireetera abamu okuweereza nga bapayoniya?