Yigiriza Abaana Bo
Abazadde, mukozese engero zino okuyigiriza abaana bammwe ebyo ebiri mu Bayibuli.
Ennyanjula
Ebiri mu kitabo Ekyamateeka, bisobola okukuyamba okuyigiriza abaana bo.
ESSOMO 1
Ekyama Kye Twagala Okumanya
Waliwo ekyama eky’enjawulo Bayibuli ky’eyogerako ekiyitibwa “ekyama ekitukuvu.” Wandyagadde okumanya ekyama ekyo?
ESSOMO 2
Lebbeeka Yali Ayagala Okusanyusa Yakuwa
Tusaanidde kukola ki okusobola okuba nga Lebbeeka? Soma ekitundu kino omanye ebimukwatako.
ESSOMO 3
Lakabu Yakkiririza mu Yakuwa
Manya engeri Lakabu n’ab’omu maka ge gye baawonawo nga Yeriko kizikirizibwa.
ESSOMO 4
Yasanyusa Taata We ne Yakuwa
Bweyamo ki muwala wa Yefusa bwe yatuukiriza? Tuyinza tutya okumukoppa?
ESSOMO 5
Samwiri Yakolanga Ebintu Ebirungi
Oyinza otya okukoppa Samwiri n’okola ebintu ebirungi wadde ng’abalala bakola ebintu ebibi?
ESSOMO 7
Waliwo lw’Olowooza nti Oli Wekka era n’Owulira ng’Otidde?
Eriya bwe yalowooza nti yali asigadde yekka, kiki Yakuwa kye yamugamba? Ebyo bye tusoma ku Eriya bituyigiriza ki?
ESSOMO 8
Yosiya Yalina Emikwano Emirungi
Bayibuli etutegeeza Yosiya tekyamubeerera kyangu okukola ebintu ebirungi. Soma otegeere engeri mikwano gye gye gyamuyambamu.
ESSOMO 9
Yeremiya Teyalekera Awo Kwogera ku Yakuwa
Wadde ng’abantu abamu baamusekereranga ate abalala ne bamukambuwalira, lwaki Yeremiya yeeyongera okwogera ku Katonda?
ESSOMO 10
Yesu Yali Muwulize Nnyo
Ebiseera ebimu tekiba kyangu kugondera bazadde bo. Soma olabe engeri ekyokulabirako kya Yesu gye kiyinza okukuyamba.
ESSOMO 11
Baawandiika Ebikwata ku Yesu
Soma ebikwata ku bawandiisi ba Bayibuli 8, abaaliwo mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi era abaawandiika ebikwata ku bulamu bwe.
ESSOMO 12
Omwana wa Mwannyina wa Pawulo Yali Muvumu
Omuvubuka ono yawonya kojja we okuttibwa. Kiki kye yakola?
ESSOMO 13
Timoseewo Yali Ayagala Okuyamba Abantu
Osobola otya okufuna essanyu mu bulamu nga Timoseewo?
ESSOMO 14
Obwakabaka Obugenda Okufuga Ensi Yonna
Obulamu bunaaba butya nga Yesu y’afuga ensi? Wandyagadde okubeerayo?