OMUTWE OGULI KUNGULU | ENGERI GY’OYINZA OKWEMANYIIZA OKUKOLA EBINTU EBIKUGANYULA
2 Weegendereze Embeera Gye Weeteekamu
-
Oyinza okuba omaliridde okwewala emmere etali nnungi eri omubiri gwo, naye oboolyawo ne baleeta ekitole kya ice cream ne kikusaaliza.
-
Wasalawo obutaddamu kunywa ssigala, naye mukwano gwo akimanyiiko nti oyagala okuva ku muze ogwo ajja gy’oli n’akuwa omunwe gwa ssigala.
-
Wabadde n’enteekateeka ey’okukola dduyiro leero, naye olaba ng’okutandika okunoonya engatto z’onooddukiramu mulimu gwa maanyi!
Kiki kye weetegerezza mu mbeera ezo? Emirundi mingi embeera gye tweteekamu oba abantu be tubaamu bayinza okukifuula ekizibu oba ekyangu gye tuli okukulaakulanya ebintu ebirungi oba okweggyamu emize emibi.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka, naye atalina bumanyirivu agenda bugenzi mu maaso n’agwa mu mitawaana.”
Bayibuli etukubiriza okulengerera ewala ebintu. Bwe tukola tutyo, tusobola okwewala embeera eziyinza okutulemesa okutuuka ku biruubirirwa byaffe era ne tweteeka mu mbeera eziyinza okukifuula ekyangu gye tuli okutuuka ku biruubirirwa byaffe. (2 Timoseewo 2:
Teekawo embeera ekifuula ekizibu gy’oli okukola ekikyamu ate ng’ekifuula kyangu gy’oli okukola ekituufu
KY’OYINZA OKUKOLA
-
Teekawo embeera ekifuula ekizibu gy’oli okukola ekintu ekikyamu. Ng’ekyokulabirako, bwe kiba nti oyagala kulekera awo okulya emmere etali nnungi eri omubiri gwo, fuba okulaba nti emmere eyo togireeta waka. Bw’okola bw’otyo, ne bw’oyoya emmere eyo, kikubeerera kizibu okugirya kubanga tebaawo.
-
Teekawo embeera ekifuula ekyangu gy’oli okukola ekintu ekituufu. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’oteekateeka okukola dduyiro ku makya, engoye z’onookoleramu zitegeke ggulo limu. By’ogenda okukozesa bwe biba okumpi awo, kiba kyangu okukola ky’oba wateeseteese okukola.
-
Weegendereze abo b’ofuula mikwano gyo. Emirundi mingi tutera okweyisa ng’abantu be tubeera ennyo nabo. (1 Abakkolinso 15:33) N’olwekyo, weewale okubeera n’abantu abayinza okukulemesa okwekutula ku mize gy’ogezaako okweggyamu, era ofube okubeera n’abantu abakukubiriza okukola ebintu ebirungi.