EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OSIIMA EKIRABO EKY’OMUWENDO KATONDA KYE YATUWA?
Ekirabo Ekisinga Byonna
JORDAN yali akutte akasongola ekkalaamu akaakula ng’eryato, era ng’omuntu bw’akalaba takatwala ng’ekintu ekikulu. Kyokka kaali ka muwendo nnyo eri Jordan. Jordan yagamba nti: “Russell eyali mukwano gwaffe ye yakampa nga nkyali muto.” Russell bwe yafa, Jordan yakimanyaako nti Russell yayamba nnyo jjajjaawe omusajja ne bazadde be, era nti yabazzangamu nnyo amaanyi mu biseera ebizibu. Jordan agamba nti: “Olw’okuba kati nnina bingi bye mmanyi ku Russell, akalabo kano ka muwendo nnyo gye ndi n’okusinga mu kiseera we nnakafunira.”
Ng’ekyokulabirako ekyo bwe kiraze, ekirabo kiyinza okuba eky’omuwendo naye ng’abantu abamu tebakitwala bwe batyo. Kyokka omuntu bw’aweebwa ekirabo n’akisiima, akitwala nga kya muwendo nnyo. Bayibuli eyogera bw’eti ku kirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.”
Kiteeberezeemu! Ekirabo ekyo kisobozesa abantu okufuna obulamu obutaggwaawo. Waliwo ekirabo ekisinga ekyo? Wadde ng’ekirabo ekyo abantu abamu bayinza obutakitwala ng’eky’omuwendo, Abakristaayo ab’amazima bakitwala nga ‘kya muwendo nnyo.’ (Zabbuli 49:8; 1 Peetero 1:18, 19) Naye lwaki Katonda yawaayo Omwana we okutufiirira?
Omutume Pawulo yagamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna.” (Abaruumi 5:12) Adamu omuntu eyasooka yajeemera Katonda mu bugenderevu, ekyo ne kimuviirako okufa. Abantu bonna bafa olw’okuba baasikira ekibi kya Adamu.
Abaruumi 6:23) Okusobola okuwonya abantu okufa, Katonda yatuma Omwana we Yesu Kristo ku nsi okuwaayo obulamu bwe ku lw’abantu bonna. Ssaddaaka eyo Bayibuli egiyita “ekinunulo,” era ejja kusobozesa abantu bonna abakkiririza mu Yesu okufuna obulamu obutaggwaawo.
Omutume Pawulo bwe yali ayogera ku bintu ebirungi Katonda by’ajja okukolera abantu okuyitira mu Yesu Kristo, yagamba nti : “Katonda yeebazibwe olw’ekirabo kye ekitalojjeka.” (2 Abakkolinso 9:15) Ekinunulo kirabo kya muwendo nnyo era tetusobola kukigeraageranya na kintu kirala kyonna. Naye lwaki ku bintu byonna ebirungi Katonda by’akoledde abantu, ekinunulo kye kikyasinze? * Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekirabo ekyo? Soma ebitundu ebiddako olabe engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo.
^ lup. 8 Yesu “yawaayo obulamu bwe ku lwaffe” kyeyagalire. (1 Yokaana 3:16) Naye olw’okuba kyali kigendererwa kya Katonda Yesu okuwaayo obulamu bwe, essira tugenda kulissa ku Katonda eyatuwa ekirabo ekyo.