Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?
Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba Obwakabaka bujje kubanga yali akimanyi nti tekyali kigendererwa kya Katonda ensi okubaamu ebizibu, era nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okubiggyawo. Biki Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakola?
EBINTU OBWAKABAKA BWA KATONDA BYE BUKOZE
Mu kitundu ekivuddeko, tulabye ebintu Yesu bye yayogerako ebiraga nti Obwakabaka bwa Katonda bwassibwawo mu ggulu era nti Yesu ye Kabaka waabwo.
Bayibuli egamba nti Yesu bwe yali yaakafuuka Kabaka, yagoba Sitaani ne badayimooni mu ggulu. Kati Sitaani ne badayimooni bali wano ku nsi era eyo ye nsonga lwaki ebizibu byeyongedde nnyo okuva mu 1914.—Okubikkulirwa 12:7, 9.
Wadde ng’ebizibu byeyongedde mu nsi, Yesu Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda alina by’akoze okuyamba abantu mu nsi yonna. Okuyitira mu mulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna, abantu bangi bayize ebiri mu Bayibuli era ne babikolerako mu bulamu bwabwe. (Isaaya 2:2-4) Abantu bukadde na bukadde bayize okuba abakozi abalungi, engeri y’okufuna essanyu mu maka, n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku by’obugagga. Abantu bayigirizibwa engeri gye bayinza okuba n’obulamu obulungi kati, era n’engeri gye bayinza okufuna obulamu obutaggwaawo ng’ensi efugibwa Obwakabaka bwa Katonda.
BIKI OBWAKABAKA BWA KATONDA BYE BUNAATERA OKUKOLA?
Wadde nga Yesu afuga mu ggulu, gavumenti z’abantu ze zikyafuga ku nsi. Kyokka, Katonda yagamba Yesu nti: “Genda ng’owangula wakati mu balabe bo.” (Zabbuli 110:2) Yesu anaatera okumaliriza okuwangula kwe ng’azikiriza abalabe ba Katonda era awonyeewo abo abakola Katonda by’ayagala.
Mu kiseera ekyo, Obwakabaka bwa Katonda bujja kukola ebintu bino:
-
Okuzikiriza amadiini ag’obulimba. Amadiini agayigiriza eby’obulimba era aganyigiriza abantu gajja kuzikirizibwa. Amadiini ag’obulimba Bayibuli egayita malaaya. Abantu bangi bajja kwewuunya nnyo nga gazikiriziddwa.—Okubikkulirwa 17:15, 16.
-
Okuggyawo obufuzi bw’abantu. Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo obufuzi bw’abantu bwonna.—Okubikkulirwa 19:15, 17, 18.
-
Okuzikiriza abantu ababi. Kiki ekinaatuuka ku bantu abakola ebintu ebibi era abagaanye okukola Katonda by’ayagala? Bayibuli egamba nti: “Ababi balimalibwawo mu nsi.”—Engero 2:22.
-
Okuggyawo Sitaani ne badayimooni. Sitaani ne badayimooni bajja kuba tebakyasobola ‘kulimbalimba mawanga nate.’—Okubikkulirwa 20:3, 10.
Ate abo abakola Katonda by’ayagala?
OBWAKABAKA BWA KATONDA BYE BUJJA OKUKOLERA ABANTU
Yesu bw’anaaba afuga ensi ng’asinziira mu ggulu, ajja kukola ebintu bingi okusinga omufuzi omulala yenna. Ajja kufugira wamu n’abantu 144,000 abaalondebwa okuva ku nsi. (Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1, 3) Ajja kukakasa nti Katonda by’ayagala bikolebwa ku nsi. Biki Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukolera abantu abanaabeera ku nsi?
-
Okuggyawo endwadde, okukaddiwa, n’okufa. “Tewaliba muntu mu nsi eyo aligamba nti: ‘Ndi mulwadde,’” era “okufa tekulibaawo nate.”—Isaaya 33:24; Okubikkulirwa 21:4.
-
Okuleeta emirembe n’obutebenkevu ebya nnamaddala. “Emirembe gy’abaana bo giriba mingi,” era “buli muntu alituula wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe, era tewalibaawo n’omu abatiisa.”—Isaaya 54:13; Mikka 4:4.
-
Okuwa abantu emirimu egireeta essanyu. “Abalonde bange balyeyagalira mu mirimu gy’emikono gyabwe. Tebaliteganira bwereere.”—Isaaya 65:22, 23.
-
Okutereeza obutonde bw’ensi. “Olukoola n’ensi enkalu birijaganya, n’eddungu lirisanyuka era lirimulisa ng’amalanga.”—Isaaya 35:1.
-
Okuyigiriza abantu bye balina okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”—Yokaana 17:3.
Katonda ayagala obeere mu bulamu obwo. (Isaaya 48:18) Mu kitundu ekiddako, ogenda kulaba by’osaanidde okukola kati okusobola okuba mu bulamu obwo mu biseera eby’omu maaso.