BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU
Nnali Mukambwe era Wa Fujjo
-
NNAZAALIBWA: 1974
-
ENSI: MEXICO
-
EBYAFAAYO: NNALI MUVUBUKA WA FFUJJO
OBULAMU BWANGE BWE BWALI:
Nnazaalibwa mu kibuga Ciudad Mante, mu ssaza ly’e Tamaulipas mu Mexico. Okutwalira awamu, abantu b’omu kibuga ekyo bagabi era ba kisa. Naye eky’ennaku, ekibuga ekyo kyalimu obumenyi bw’amateeka bungi.
Twazaalibwa abalenzi bana, era nze ow’okubiri. Nze ne bazadde bange twali Bakatuluki, era oluvannyuma nnafuuka muyimbi mu kwaya ya kkereziya. NnaIi njagala nnyo okusanyusa Katonda olw’okuba nnatyanga nnyo okwokebwa mu muliro ogutazikira.
Bwe nnali wa myaka etaano, taata yatulekawo. Nnawulira ennaku etalojjeka. Saategeera nsonga Iwaki yatulekawo ate nga twali tumwagala nnyo. Maama yakolanga nnyo asobole okutulabirira.
Olw’embeera eyo, ennaku ezimu nnayosanga okugenda ku ssomero ne nkwatagana n’abaana abaali bansingako obukulu. Abaana abo banjigiriza okuvuma, okunywa sigala, okubba, era n’okulwana. Ate era nnayiga n’okukuba ebikonde, okumeggana, okukuba kalati, n’okukozesa ebissi. Nnali muvubuka wa ffujjo. Twalwanyisanga emmundu, era emirundi mingi nnafunanga ebisago bingi ne mbulako katono okufa. Nnaleetera maama wange ennaku nnyingi. Bwe yansanganga mu mbeera eyo, yanzirusanga mu ddwaliro!
Bwe nnali wa myaka 16, Jorge eyali mukwano gwange nga tukyali bato yajja awaka okundabako. Yatugamba nti Mujulirwa wa Yakuwa era nti yalina obubaka obukulu ennyo bwe yali atuleetedde. Yatubuulira ebintu bingi ebiri mu Bayibuli. Nnali sisomangako Bayibuli, era nnakwatibwako nnyo bwe nnategeera erinnya lya Katonda n’ebigendererwa bye. Jorge yatubuuza obanga twandyagadde okweyongera okuyiga Bayibuli, era naffe ne tukkiriza.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:
Bwe nnakitegeera nti Bayibuli teyigiriza nti Katonda ayokya abantu mu muliro ogutazikira, nnafuna obuweerero. (Zabbuli 146:4; Omubuulizi 9:5) Saddamu kutya nti Katonda ajja kunjokya mu muliro, wabula nnatandika okumutwala nga taata omusaasizi, ayagala ennyo abaana be.
Bwe nneeyongera okuyiga Bayibuli, nnakiraba nti kyetaagisa okukyusa empisa zange. Nnali nneetaaga okuyiga okuba omukkakkamu n’okulekera awo okukola effujjo. Amagezi agali mu 1 Abakkolinso 15:33 gannyamba nnyo. Olunyiriri olwo lugamba nti: “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” Nnakitegeera nti okusobola okukyusa empisa zange, nnalina okulekera awo okukolagana n’abantu ab’empisa embi. Nnalekayo emikwano emibi gye nnalina, ne nfuna emikwano emirala mu Bajulirwa ba Yakuwa. Abantu abali mu kibiina kya Yakuwa bwe bafuna obutategeeregana, tebabugonjoola na bikonde, wabula bafuba okussa mu nkola bye bayiga mu Bayibuli.
Ekyawandiikibwa ekirala ekyannyamba ennyo kiri mu Abaruumi 12:17-19. Kigamba nti: “Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi. . . . Mukolenga kyonna kye musobola okuba mu mirembe n’abantu bonna. . . . temuwooleranga ggwanga, . . . kubanga kyawandiikibwa nti: ‘“Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula,” bw’ayogera Yakuwa.’” Ekyawandiikibwa ekyo kyannyamba okukitegeera nti ekiseera kijja kutuuka Yakuwa amalewo obutali bwenkanya. Mpolampola, nnalekera awo okukola effujjo.
Waliwo ekyantuukako lumu akawungeezi nga nzirayo eka kye siryerabira. Abavubuka ab’omu kibinja ekyali kiwalagana n’ekibinja kye nnalimu bannumba, era eyali abakulira yankuba mu mugongo nga bw’aleekaana nti, “Weerwaneko!” Mu kaseera ako nnasaba Yakuwa annyambe okwefuga. Nnawulira nga njagala okubaako kye mbakola, naye nnasobola okubaviira. Olunaku olwaddirira nnasanga omuvubuka eyali abakulira ng’ali yekka. Nnawulira obusungu ne njagala okwesasuza, naye era nnasaba Yakuwa mu kasirise annyambe nsobole okwefuga. Ekyanneewuunyisa, omuvubuka oyo yajja we nnali, n’aŋŋamba nti: “Nsonyiwa olw’ekyo ekyabaddewo eggulo. Nange nnandyagadde okuyiga Bayibuli mbeere nga ggwe.” Kyansanyusa nnyo okulaba nti nnasobola okwefuga ne seesasuza! Nneebaza Yakuwa olw’ekyo, era nnatandika okuyigiriza omuvubuka oyo Bayibuli.
Eky’ennaku, ab’awaka tebeeyongera kuyiga Bayibuli mu kiseera ekyo. Wadde kyali kityo, nze nneeyongera okuyiga, era sakkiriza muntu yenna oba kintu kyonna kunnemesa. Nnali nkimanyi nti okukuŋaana awamu ne baganda bange mu by’omwoyo kyandindeetedde essanyu. Nneeyongera okuyiga Bayibuli ne mbatizibwa mu 1991, era kati ndi Mujulirwa wa Yakuwa.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:
Nnali mukambwe era nga ndi wa ffujjo, naye ekigambo kya Katonda kyannyamba ne ndeka empisa embi. Kati mbuulira abantu amawulire ag’emirembe agali mu Bayibuli, era mmaze emyaka 23 nga ndi mubuulizi ow’ekiseera kyonna.
Nnakolako nga nnakyewa ku offisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa mu Mexico. Eyo gye twasisinkana ne Claudia, era twafumbiriganwa mu 1999. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okumpa omukyala omwesigwa!
Twaweerezaako mu kibiina ekikozesa olulimi lwa bakiggala mu Mexico, ne tuyamba bakiggala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Oluvannyuma, twasindikibwa e Belize okubuulira abantu b’omu nsi eyo amawulire amalungi agali mu Bayibuli. Wadde ng’eno gye tuli tetulina bintu bingi, tulina bye twetaaga era tuli basanyufu nnyo.
Nga wayiseewo ekiseera, maama yaddamu okuyiga Bayibuli era oluvannyuma n’abatizibwa. Ne mukulu wange, mukyala we, n’abaana baabwe kati Bajulirwa ba Yakuwa. Abamu ku baali mikwano gyange be nnabuulirako ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda nabo kati baweereza Yakuwa.
Eky’ennaku, abamu ku b’eŋŋanda zange baafa olw’okuba tebaalekayo bikolwa bya bukambwe. Singa nange saakyusa mpisa zange, oboolyawo nange nnandibadde nnafa dda. Nneebaza Yakuwa olw’okunsembeza gy’ali n’okukozesa abaweereza be okunjigiriza Bayibuli.